Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Job 5 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1“Koowoola kaakano, waliwo anaakuyitaba?Era ani ku batukuvu gw’onoolaajaanira?

2Obukyayi butta atalina magezi,n’obuggya butta omusirusiru.

3Ndabye abasirusiru nga banywevu,naye mangu ddala ne nkolimira ekifo kye batuulamu.

4Abaana baabwe tebalina bukuumi,babetenterwa mu luggya nga tewali abawolereza.

5Omuyala alya amakungula gaabweera atwala n’ag’omu maggwaera awankirawankira eby’obugagga byabwe.

6Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nsi,wadde obuzibu okuva mu ttaka,

7wabula abantu bazaalibwa kulaba nnaku,ng’ensasi bwe zibuuka waggulu.

8Naye nze, nzija kunoonya Katondaera mmulekere ensonga zange.

9Akola ebikulu, ebitanoonyezeka,ebyewuunyisa ebitabalika.

10Atonnyesa enkuba ku nsi,n’aweereza amazzi mu byalo.

11Ayimusa abo abanyigirizibwan’abo abakaaba ne basitulibwa mu mirembe.

12Aziyiza enkwe z’ababi,emikono gyabwe gireme okutuukiriza bye bateesa.

13Agwikiririza abagezigezi mu bukujjukujju bwabwe,n’enkwe zaabwe n’aziziyiriza ddala.

14Ekizikiza kibabuutikira emisana,ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.

15Naye aggya abali mu bwetaavu mu mukono gw’abo ab’amaanyi,n’abawonya ekitala kyabwe.

16Abaavu ne balyoka baba n’essuubi,n’akamwa k’abatali benkanya ne kazibibwa.

17“Alina omukisa omuntu Katonda gw’abuulirira;noolwekyo tonyooma kukangavvula kw’oyo Ayinzabyonna.

18Kubanga ye y’afumita ate era y’anyiga,y’alumya era y’awonya.

19Alikuwonya mu buzibu bwa ngeri mukaaga.Weewaawo ne mu ngeri musanvu tootuukibwengako kulumizibwa.

20Mu njala alikuwonya okufa,era anaakuwonyanga mu lutalo olw’ekitala.

21Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.

22Oliseka ng’okuzikirira n’enjala bizze,era tootyenga nsolo nkambwe ez’oku nsi.

23Onoobanga n’enkolagana n’amayinja ag’omu nnimiro,era onoobanga n’emirembe awali ensolo enkambwe.

24Olimanya nti, ensiisira yo eri mirembe;era eby’obugagga byo olibibala n’olaba nga tewali kibuzeeko.

25Olimanya ng’ezzadde lyo liriba ddene,ne bazzukulu bo baliba bangi ng’omuddo ogw’oku nsi.

26Olituusibwa ku ntaana yo nga wakaddiyira ddala,ng’eŋŋaano bwe tuukira mu kiseera kyayo.

27“Ekyo twakyekenneenya, kituufu.Kimanye nga kikwata ku ggwe.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]