Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But there will be no gloom for her that was in anguish. Earlier he humbled the land of Zebulun and Naphtali, but later he honored the way of the sea, beyond the Jordan, Galilee of the nations. Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.
2 The people walking in darkness have seen a great light; on those who lived in a land of deep darkness, a light has shone. Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
3 You have multiplied the nation; you have increased its joy. They rejoice before you as with joy at the harvest, as men are glad when they divide the plunder. Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
4 For the yoke of his burden, and the bar across his shoulder, the rod of his oppressor, you have shattered as on the day of Midian. Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, n’ekiti eky’oku kibegabega kye, n’oluga lw’oyo amunyigiriza.
5 For every boot of the trampling warrior in the din of battle, and every garment soaked in blood, will be burned as fuel for the fire. Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo na buli kyambalo ekibunye omusaayi, biriba bya kwokebwa, bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.
6 For to us a child is born, to us a son is given; and the government will be upon his shoulder. And his name will be called Wonderful Counselor, Mighty God, Everlasting Father, Prince of Peace. Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
7 There will be no end to the increase of his government and peace, on the throne of David and over his kingdom, to establish it and to uphold it with justice and with righteousness from now on and forevermore. The zeal of the Father of heaven's armies will accomplish this. Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye bulikituukiriza ekyo.
8 The Sovereign Father has sent a word against Jacob, and it has fallen on Israel. Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo, ku birituuka ku Isirayiri.
9 And all the people will know it—Ephraim and the inhabitants of Samaria—who say with proud and arrogant hearts: Era abantu bonna balibumanya, Efulayimu n’abantu b’omu Samaliya aboogera n’amalala n’omutima omukakanyavu,
10 "The bricks have fallen, but we will rebuild with cut stones; the sycamores have been cut down, but we will put cedars in their place." nti, “Amatoffaali gagudde wansi naye tulizimbya amayinja amateme, emisukamooli gitemeddwawo naye tulizzaawo emivule.”
11 So our Father raises against them the adversaries of Rezin, and stirs up their enemies. Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; alibakumaakuma bamulumbe.
12 Aram from the east and the Philistines from the west have devoured Israel with open mouth. For all this his anger has not turned away, and his hand is still outstretched. Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba, balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
13 Yet the people did not turn to the one who struck them, nor did they seek the Father of heaven's armies. Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.
14 So our Father cut off from Israel both head and tail, palm branch and reed, in a single day, Bw’atyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira, ettabi n’olukindu mu lunaku lumu.
15 the elder and the honored man are the head, and the prophet who teaches lies is the tail. Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa, n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba.
16 For those who guide this people lead them astray, and those who are guided by them are swallowed up. Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.
17 Therefore the Sovereign Father does not rejoice over their young men, and has no compassion on their orphans and their widows; for everyone is godless and an evildoer, and every mouth speaks foolishness. For all this his anger has not turned away, and his hand is still outstretched. Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako, era omukono gwe gukyagoloddwa.
18 For wickedness burns like a fire; it consumes briers and thorns; it kindles the thickets of the forest, and they roll upward in a column of smoke. Ddala ekibi kyokya ng’omuliro; gumalawo emyeramannyo n’obusaana. Era gukoleeza eby’omu kibira, omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 Through the wrath of the Father of heaven's armies, the land is scorched, and the people have become like fuel for the fire; no one spares his brother. Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye ensi eggiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro, tewali muntu alekawo muganda we.
20 They carve on the right, but are still hungry; they devour on the left, but are not satisfied; each devours the flesh of his own arm. Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala; balirya n’eby’oku kkono, naye tebalikkuta. Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye.
21 Manasseh devours Ephraim, and Ephraim Manasseh, and together they are against Judah. For all this his anger has not turned away, and his hand is still outstretched. Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manase ate bombi ne balya Yuda. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]