Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Woe to those who enact unjust decrees, to the writers who issue oppressive laws, Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
2 to deprive the poor of justice and rob the needy among my people of their rights, making widows their plunder and orphans their prey. okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde; era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe, ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe, n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
3 What will you do on the day of reckoning, when devastation comes from afar? To whom will you flee for help? Where will you leave your wealth? Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango ne mu kuzikirira okuliva ewala? Muliddukira w’ani alibayamba? Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4 Nothing remains but to crouch among the captives or fall among the slain. Yet for all this his anger has not turned away; his hand is still stretched out. Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe oba okuba mu abo abattiddwa. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo, era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
5 "Woe to Assyria, the rod of my anger, in whose hand is the club of my fury! “Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange, era omuggo gw’ekiruyi kyange.
6 I send him against a godless nation; against the people of my wrath I command him, to seize spoil and carry off plunder, to trample them down like mud in the streets." Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama, era mmusindika eri abantu abansunguwazizza, abanyage, ababbire ddala, n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
7 But this is not what he intends; this is not what his heart plans. His purpose is to destroy, to cut off nation after nation. Naye kino si kye kigendererwa kye, kino si ky’alowooza. Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza, okumalirawo ddala amawanga mangi.
8 For he says, "Are not all my commanders kings? ‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
9 Is Calno not like Carchemish? Is Hamath not like Arpad? Is Samaria not like Damascus? ‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi, ne Kamasi nga Alupaadi, ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 As my hand seized the kingdoms of the idols, whose carved images surpassed those of Jerusalem and Samaria, Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje, abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 will I not deal with Jerusalem and her images as I dealt with Samaria and her idols?" nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”
12 When the Sovereign Father has finished all his work against Mount Zion and Jerusalem, I will punish the fruit of the king of Assyria's arrogant heart and the haughty pride of his eyes. Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
13 For he says: "By the strength of my hand I have done this, and by my wisdom, for I have understanding. I removed the boundaries of peoples and plundered their treasures; I brought down those enthroned like a mighty one. Kubanga yayogera nti, “ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, era n’olw’amagezi gange, kubanga ndi mukalabakalaba: Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe, ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 My hand reached into the wealth of the peoples as into a nest; as one gathers abandoned eggs, I gathered all the earth. Not one flapped a wing or opened its beak to chirp. Ng’omuntu bw’akwata mu kisu, omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga; ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo, bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna, tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro, newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”
15 Does the axe exalt itself over the one who swings it? Does the saw boast against the one who wields it? As if a rod could brandish the one who lifts it, as if a staff could lift what is not wood!" Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa, oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 Therefore the Sovereign Father, the Father of heaven's armies, will send a wasting disease among his sturdy warriors, and beneath his glory a fire will blaze like a burning flame. Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna, kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja, era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro ogwokya ng’oluyiira.
17 The Light of Israel will become a fire, our Holy One a flame; in a single day it will burn and consume his thorns and briers. Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro, n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro, mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 The glory of his forest and his fertile field our Father will destroy, both soul and body; it will be as when a sick man wastes away. Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye, n’ennimiro ze, engimu, ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 The remaining trees of his forest will be so few that a child could count them. N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo nga n’omwana ayinza okugibala.
20 In that day the remnant of Israel and the survivors of the house of Jacob will no longer lean on the one who struck them, but will truly lean on our Father, the Holy One of Israel. Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri, n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo nga tebakyeyinulira ku oyo eyabakuba naye nga beesigama ku Mukama Katonda, omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 A remnant will return—a remnant of Jacob—to the Mighty God. Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 Though your people Israel be like the sand of the sea, only a remnant will return. Destruction is decreed, overflowing with righteousness. Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja, abalikomawo nga balamu baliba batono. Okuzikirira kwo kwa kubaawo kubanga kusaanidde.
23 For the Sovereign Father, the Father of heaven's armies, will carry out the decreed destruction throughout the land. Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.
24 Therefore the Sovereign Father, the Father of heaven's armies, says: "My people who live in Zion, do not be afraid of Assyria, who strikes you with the rod and lifts the staff against you as Egypt did. Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti, “Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni, temutyanga Abasuli, newaakubadde nga babakuba n’oluga era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 For in a very little while my fury will end, and my anger will turn to their destruction." Kubanga mu kaseera katono nnyo obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
26 The Father of heaven's armies will brandish a whip against them, as when he struck Midian at the rock of Oreb; he will raise his staff over the sea as he did in Egypt. Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu. Era aligololera oluga lwe ku nnyanja nga bwe yakola e Misiri.
27 In that day their burden will be lifted from your shoulder, their yoke from your neck; the yoke will be broken. Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo, n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo; ekikoligo kirimenyebwa olw’obugevvu bwo.
28 He comes against Aiath, passes through Migron, stores his supplies at Michmash. Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi, liyise mu Migulooni, era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 They cross the pass: "We will camp at Geba." Ramah trembles; Gibeah of Saul flees. Bayise awavvuunukirwa, e Geba ne basulayo ekiro kimu, Laama akankana, Gibea wa Sawulo adduse.
30 Cry out, daughter of Gallim! Listen, Laishah! Poor Anathoth! Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu! Ggwe Layisa wuliriza! Ng’olabye Anasosi!
31 Madmenah is fleeing; the people of Gebim are taking cover. Madumena adduse, abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 This very day he stops at Nob, shaking his fist at the mount of the daughter of Zion, the hill of Jerusalem. Olwa leero bajja kusibira Nobu, balyolekeza ekikonde kyabwe eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni, akasozi ka Yerusaalemi.
33 Look, the Sovereign Father, the Father of heaven's armies, will lop off the branches with terrifying force; the tallest trees will be felled, the lofty ones brought low. Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alitema amatabi n’entiisa n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala, n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 He will cut down the forest thickets with an axe, and Lebanon will fall before the Majestic One. Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira; Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]