Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A shoot will come up from the stump of Jesse; from his roots a Branch will bear fruit. Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese, ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 The Spirit of our Father will rest on him—the Spirit of wisdom and understanding, the Spirit of counsel and might, the Spirit of knowledge and the fear of our Father, Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 and he will delight in the fear of our Father. He will not judge by what his eyes see, or decide by what his ears hear, Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda. Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba, oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 but with righteousness he will judge the poor, and decide with equity for the meek of the earth. He will strike the earth with the rod of his mouth, and with the breath of his lips he will slay the wicked. naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya, era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi; era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke, era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 Righteousness will be the belt around his waist, and faithfulness the sash around his hips. Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya, n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6 The wolf will live with the lamb, the leopard will lie down with the goat, the calf and the lion and the fattened beast together—and a little child will lead them. Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi; era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu; era omwana omuto yalizirabirira.
7 The cow and the bear will graze, their young will lie down together, and the lion will eat straw like the ox. Ente n’eddubu biririira wamu, abaana baazo banaagalamiranga wamu. Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8 The nursing child will play over the cobra's hole, and the weaned child will put his hand on the viper's den. N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera, n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 They will not hurt or destroy on all my holy mountain, for the earth will be full of the knowledge of our Father as the waters cover the sea. Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
10 In that day the root of Jesse will stand as a banner for the peoples; the nations will seek him, and his resting place will be glorious. Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
11 In that day the Sovereign Father will reach out his hand a second time to reclaim the remnant of his people who are left—from Assyria, from Egypt, from Pathros, from Cush, from Elam, from Shinar, from Hamath, and from the islands of the sea. Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.
12 He will raise a banner for the nations and gather the exiles of Israel; he will assemble the scattered people of Judah from the four corners of the earth. Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri; aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.
13 Ephraim's jealousy will vanish, and Judah's enemies will be cut off; Ephraim will not envy Judah, and Judah will not be hostile toward Ephraim. Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo, n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa. Efulayimu talikwatirwa Yuda buggya wadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.
14 They will swoop down on the slopes of the Philistines to the west; together they will plunder the people of the east. They will seize Edom and Moab, and the Ammonites will be subject to them. Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba; era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba. Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu; n’abaana ba Amoni balibagondera.
15 Our Father will utterly destroy the arm of the Sea of Egypt; with a scorching wind he will sweep his hand over the Euphrates River. He will break it into seven streams so that people can cross over in sandals. Era Mukama Katonda alikaliza omukutu gw’ennyanja y’Abamisiri; era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaati ne guleetawo omuyaga ogukaza, agwawulemu ebitundu musanvu abantu bye banaasomokanga ku bigere.
16 There will be a highway for the remnant of his people still left in Assyria, as there was for Israel on the day they came up from the land of Egypt. Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga eryasigala ku Bwasuli nga bwe kyali eri Isirayiri ku lunaku lwe baaviirako mu Misiri.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]