Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father said to me, "Take a large tablet and write on it plainly: 'Belonging to Maher-shalal-hash-baz.'" Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.”
2 So I called reliable witnesses to attest for me—Uriah the priest and Zechariah son of Jeberechiah. Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3 Then I went to the prophetess; she conceived and bore a son, and our Father said to me, "Name him Maher-shalal-hash-baz. Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi.
4 Before the boy knows how to cry 'My father' or 'My mother,' Damascus's wealth and Samaria's plunder will be carried off before Assyria's king." Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
5 Our Father spoke to me yet again: Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
6 "Because this people has refused the gently flowing waters of Shiloah and rejoices over Rezin and the son of Remaliah, “Kubanga abantu bano bagaanye amazzi g’e Sirowa agakulukuta empolampola, ne bajaguza olwa Lezini ne mutabani wa Lemaliya,
7 therefore the Sovereign Father is about to bring up against them the mighty floodwaters of the River—the king of Assyria and all his glory. It will rise over all its channels and overflow all its banks, kale nno Mukama anaatera okubaleetako amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu, ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna; galisukka ensalosalo zonna, ne ganjaala ku ttale lyonna.
8 and it will sweep on into Judah, flooding and passing through, reaching up to the neck; and its outstretched wings will fill the breadth of your land, Immanuel." Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda, galyanjaala ne gamuyitamu gakome ne mu bulago, n’emikutu gyago gyegolole okujjuza ensi yo, ggwe Emmanweri.”
9 Be shattered, you peoples, and be broken! Listen, all you distant lands! Strap on your armor and be broken; strap on your armor and be broken! Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire. Mutege amatu mmwe mwenna ab’ensi ezeewala; mwenyweze naye mwekaabire; mwenyweze naye mwekaabire.
10 Devise your plan, but it will come to nothing; speak your word, but it will not stand—for our Father is with us. Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka, mwogere ekigambo naye tekirituukirira.
11 For this is what our Father told me, his strong hand on me, warning me not to walk this people's way: Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12 "Do not call conspiracy everything this people calls conspiracy; do not fear what they fear, and do not be terrified. “Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe, temubiyita nkwe, era temutya bye batya, wadde okutekemuka omutima.
13 The Father of heaven's armies—he is the one you should regard as holy. Let him be your fear; let him be your dread. Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu, nze gwe muba mutya, era gwe muba mwekengera.
14 He will become a sanctuary; but to both houses of Israel he will be a stone that makes them stumble and a rock that makes them fall, and to the inhabitants of Jerusalem a trap and a snare. Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa, era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 Many among them will stumble; they will fall and be broken, they will be snared and captured." Era bangi abaliryesittalako, bagwe, bamenyeke, bategebwe bakwatibwe.”
16 Preserve the testimony; seal the teaching among my disciples. Nyweza obujulirwa okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 I will wait for our Father, who is hiding his face from the house of Jacob; I will hope in him. Nange nnaalindirira Mukama Katonda akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo, mmunoonye n’essuubi.
18 Here am I, and the children our Father gave me—signs and wonders in Israel from the Father of heaven's armies, who lives on Mount Zion. Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 When they tell you, "Ask the mediums and those who consult spirits, who whisper and mutter," should a people not ask their Father? Should they consult the dead for the living? Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
20 To the teaching and the testimony! If they don't speak according to this word, they have no light of dawn. Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21 Distressed and hungry, they will roam the land; when famished, they will rage and curse their king and their Father, and look up. Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
22 They will look to the earth and see only distress and darkness, the gloom of anguish; and they will be driven into thick darkness. Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]