Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the days of Ahaz son of Jotham, son of Uzziah, king of Judah, Rezin king of Aram and Pekah son of Remaliah king of Israel marched on Jerusalem to fight it, but could not overpower it. Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.
2 When the house of David heard, "Aram has joined forces with Ephraim," the hearts of Ahaz and his people shook like forest trees before the wind. Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.
3 Then our Father told Isaiah, "Go meet Ahaz, you and your son Shear-jashub, at the end of the upper pool's channel, on the road to the Launderer's Field, Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye,
4 and tell him: Take care, stay calm, don't be afraid or lose heart over these two smoking stubs of firewood—over the fierce anger of Rezin, Aram, and Remaliah's son. omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’
5 Because Aram, along with Ephraim and the son of Remaliah, has plotted evil against you, saying, Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti,
6 'Let us march up against Judah, terrify it, split it open for ourselves, and set the son of Tabeel as king over it,' ‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’
7 this is what the Sovereign Father says: It will not stand, and it will not happen. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “ ‘Ekyo tekiibeewo era tekirituukirira.
8 For the head of Aram is Damascus, and the head of Damascus is Rezin. Within sixty-five years Ephraim will be shattered—no longer a people. Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko. Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga.
9 The head of Ephraim is Samaria, and the head of Samaria is the son of Remaliah. If you do not stand firm in faith, you will not stand at all." Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu, era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya. Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira n’akatono.’ ”
10 Our Father spoke to Ahaz again, saying, Mukama Katonda n’addamu n’agamba Akazi nti,
11 "Ask your Father for a sign; make it deep as the grave or high as the heavens." “Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”
12 But Ahaz said, "I will not ask, and I will not put our Father to the test." Naye Akazi n’agamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda.”
13 Isaiah said, "Listen, house of David! Isn't it enough that you weary people? Must you weary my Father too? Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa?
14 So the Sovereign Father himself will give you a sign: Look, the virgin will conceive, bear a son, and name him Immanuel. Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.
15 He will eat curds and honey by the time he knows to reject evil and choose good. Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki.
16 Before the boy knows to reject evil and choose good, the land whose two kings you dread will be abandoned. Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo.
17 Our Father will bring on you, your people, and your father's house days unlike any since Ephraim broke from Judah—the king of Assyria. Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.”
18 In that day our Father will whistle for the fly from Egypt's distant streams and for the bee in the land of Assyria, Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli.
19 and they will all come and settle in the steep ravines and in the clefts of the rocks, on all the thornbushes and at all the watering holes. Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna.
20 In that day the Sovereign Father will shave—with a razor hired from beyond the Euphrates, the king of Assyria—the head and leg hair, and sweep the beard away too. Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu.
21 In that day a man will keep alive a young cow and two sheep, Newaakubadde mu nnaku ezo, ng’omuntu alisigaza ente emu yokka n’endiga bbiri,
22 and because of the abundance of milk, he will eat curds; all left in the land will eat curds and honey. naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.
23 That day, every place with 1,000 vines worth 1,000 silver pieces will become thorns and thornbushes. Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa.
24 People come there with arrows and bow, for all the land will be thornbushes and thorns. Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa.
25 You will not go to the hills once worked with the hoe, for fear of the thornbushes and thorns; they become pasture for cattle and trampling ground for sheep." N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]