Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 46 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Bel bows down, Nebo stoops low; their idols are loaded on beasts and cattle. The things you carry are hoisted up, a burden for the weary animals. Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.
2 Together they stoop, they bow down; they cannot save themselves, and they go off into captivity. Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.
3 "Listen to me, house of Jacob, all the remnant of the house of Israel—you whom I have carried from before your birth, lifted up from the womb. “Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 Even to your old age I am he, and to your gray hairs I will carry you. I made you, and I will bear you; I will carry you and I will rescue you. Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
5 "To whom will you liken me or count me equal? To whom will you compare me, that we should be alike? “Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingerageranyaako tufaanane?
6 Some pour out gold from the purse and weigh silver on the scale; they hire a goldsmith, and he makes it into a god—then they bow down, yes, they worship it. Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.
7 They lift it on their shoulders and carry it; they set it in its place, and there it stands—from its spot it does not move. If anyone cries out to it, it cannot answer or save him from his trouble. Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga. N’ayimirira awo, n’atava mu kifo kye. Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.
8 "Remember this and stand firm; take it to heart, you rebels. “Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.
9 Remember the former things long past, for I am your Father, and there is no other; I am your Father, and there is none like me. Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze;
10 I declare the end from the beginning, and from ancient times what has not yet happened, saying, 'My purpose will stand, and I will accomplish everything I please.' alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’
11 I call a bird of prey from the east, the man who carries out my purpose from a far-off land. What I have spoken, I will bring about; what I have planned, I will do. Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.
12 "Listen to me, you stubborn-hearted, you who are far from righteousness: Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.
13 I am bringing my righteousness near—it is not far off—and my salvation will not delay. I will give salvation in Zion, my splendor to Israel." Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. N’obulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]