Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 46 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Bakatonda b’e Babulooni

1Beri avunnama,Nebo akutamye!Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.

2Bikutamye byonna bivuunamye.Tebiyinza kuyamba ku mbeera,byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

3“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobon’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.

4Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.Nze nabakola era nze nnaabawekanga.Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

5“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanyaera gwe mulingerageranyaako tufaanane?

6Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwene bapima ne ffeeza ku minzaani.Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,ne bagwa wansi ne basinza.

7Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.N’ayimirira awo,n’atava mu kifo kye.Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

8“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.

9Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.Kubanga nze Katonda, teri mulala.Nze Katonda, teri ali nga nze;

10alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawoera ndituukiriza byonna bye nategeka.’

11Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.Omusajja ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.Nga bwe nategeka bwe nnaakola.

12Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.

13Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,tebuli wala.N’obulokozi bwange tebuulwewo.Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]