Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 45 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 This is what our Father says to his anointed, to Cyrus, whose right hand I have grasped to subdue nations before him and to strip kings of their armor, to open doors before him so that gates will not be shut: “Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta, oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo okujeemulula amawanga mu maaso ge era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe, okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso, emiryango eminene gireme kuggalwawo.
2 I will go before you and level the mountains; I will shatter the doors of bronze and cut through the bars of iron. Ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebigulumivu. Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.
3 I will give you the treasures of darkness and hoards stored in secret places, so that you may know that I am the Father of Israel, who calls you by your name. Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama olyoke omanye nga nze Mukama, Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.
4 For the sake of my servant Jacob, and Israel my chosen, I have called you by your name; I give you a title of honor, though you do not know me. Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange kyenvudde nkuyita erinnya, ne nkuwa ekitiibwa wadde nga tonzisaako mwoyo.
5 I am the Father, and there is no other; besides me there is none. I equip you for battle, though you do not know me, Nze Mukama, tewali mulala. Tewali katonda mulala wabula nze. Ndikuwa amaanyi wadde nga tonzisaako mwoyo,
6 so that people may know, from the rising of the sun to the place of its setting, that there is none besides me. I am the Father, and there is no other. balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama, tewali mulala.
7 I form light and create darkness, I make well-being and create calamity; I am the Father, who does all these things. Nze nteekawo ekitangaala ne ntonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.
8 Rain down, O heavens, from above, and let the skies pour down righteousness; let the earth open wide, that salvation may bear fruit and righteousness spring up together. I, the Father, have created it. “Mmwe eggulu eriri waggulu, mutonnyese obutuukirivu. Ebire bitonnyese obutuukirivu. Ensi egguke n’obulokozi bumeruke, ereete obutuukirivu. Nze Mukama nze nagitonda.
9 Woe to the one who quarrels with his Maker—a pottery shard among the shards of the earth! Does the clay say to the one who forms it, "What are you making?" or, "Your work has no handles"? “Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we! Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi. Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’ Oba omulimu gwo okukubuuza nti, ‘Aliko emikono?’
10 Woe to the one who says to a father, "What are you fathering?" or to a woman, "What are you bringing to birth?" Zimusanze oyo agamba kitaawe nti, ‘Wazaala ki?’ Oba nnyina nti, ‘Kiki ky’ozadde?’
11 This is what the Holy One of Israel—our Father—and the one who formed him—says: Will you question me about my children, and give me orders about the work of my hands? “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri era Omutonzi we nti, ‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’
12 I made the earth and created humanity upon it. It was my hands that stretched out the heavens, and I commanded all their host. Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.
13 I have stirred him up in righteousness, and I will make all his ways straight. He will rebuild my city and set my exiles free, not for price or reward, says the Father of heaven's armies. Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba ekirabo,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
14 Our Father says: The wealth of Egypt and the merchandise of Cush, and the Sabeans, men of stature, will come over to you and be yours; they will follow behind you, coming over in chains. They will bow down to you and plead with you, saying, "Surely God is with you, and there is no other; there is none besides him." Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa, n’abo Abasabeya abawanvu balijja babeere abaddu bo, bajje nga bakugoberera nga basibiddwa mu njegere. Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti, ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 Truly you are a Father who has hidden yourself, the Father of Israel, the Savior. Ddala oli Katonda eyeekweka, ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 All of them are ashamed and disgraced; the makers of idols go off together in confusion. Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa, balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 But Israel is saved by our Father with an everlasting salvation; you will not be ashamed or disgraced for all eternity. Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama n’obulokozi obutaliggwaawo. Temuukwatibwenga nsonyi, temuuswalenga emirembe gyonna.
18 For this is what the Father says, who created the heavens—he is the Father!—who formed the earth and made it; he established it. He did not create it empty; he formed it to be inhabited: I am the Father, and there is no other. Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu, ye Katonda eyabumba ensi n’agikola. Ye yassaawo emisingi gyayo. Teyagitonda kubeera nkalu naye yagikola etuulwemu. Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 I did not speak in secret, in a land of darkness; I did not say to the descendants of Jacob, "Seek me in vain." I, your Father, speak what is right; I declare what is true. Soogereranga mu kyama, oba mu nsi eyeekizikiza. Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, ‘Munoonyeze bwereere.’ Nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo eby’ensonga.
20 Gather together and come; draw near, you survivors of the nations! They have no knowledge—those who carry around their wooden idols and keep praying to a god that cannot save. “Mwekuŋŋaanye mujje, mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga. Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, abasaba eri katonda atasobola kubalokola.
21 Declare and present your case; let them consult together! Who foretold this long ago and declared it from ancient times? Was it not I, the Father? There is no other besides me—a righteous Father and a Savior; there is none besides me. Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe. Muteese muyambagane. Ani eyayogera nti kino kiribaawo? Ani eyakyogerako edda? Si nze Mukama? Tewali Katonda mulala wabula nze, Katonda omutuukirivu era Omulokozi, tewali mulala wabula nze.
22 Turn to me and be saved, all the ends of the earth! For I am the Father, and there is no other. “Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.
23 By myself I have sworn; a word has gone out from my mouth in righteousness that will not return: To me every knee will bow, every tongue will swear allegiance. Neerayiridde, ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima so tekiriggibwawo mu maaso gange. Buli vviivi lirifukamira, na buli lulimi lulirayira!
24 They will say of me, "Only in God are righteousness and strength." To him all who raged against him will come, and they will be ashamed. Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ” Bonna abaamusunguwalira balijja gy’ali nga baswadde.
25 In our Father all the children of Israel will be justified, and in him they will glory. Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu era mwe liryenyumiririza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]