Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 44 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But now listen, Jacob my servant, Israel whom I have chosen. “Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza, ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2 This is what our Father says—he who made you, who formed you from the womb and will help you: Do not be afraid, Jacob my servant, Jeshurun whom I have chosen. Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo, eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, ajja kukuyamba. Totya ggwe Yakobo, omuweereza wange, ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3 For I will pour water on the thirsty land and streams on the dry ground; I will pour out my Spirit on your children and my blessing on your descendants. Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu. Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
4 They will spring up among the grass like willows by flowing streams. Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi, babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.
5 This one will say, 'I belong to the Father'; another will call himself by the name of Jacob; still another will write on his hand, 'The Father's,' and take the name of Israel. Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’ n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’ ne yeetuuma Isirayiri.
6 This is what our Father says—the King of Israel and his Redeemer, the Father of heaven's armies: I am the first and I am the last; besides me there is no god. “Bw’ati bw’ayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda ow’Eggye: Nze w’olubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.
7 Who is like me? Let him proclaim it. Let him declare and lay it out before me, since the day I established an ancient people. Let them foretell what is coming, and what is yet to be. Ani afaanana nga nze, akirangirire, eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawo okuviira ddala ku ntandikwa? Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8 Do not tremble, do not be afraid. Did I not tell you long ago and declare it? You are my witnesses. Is there any Father besides me? There is no Rock; I know of none. Temutya wadde okuggwaamu amaanyi. Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja? Mmwe bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. Tewali Lwazi lulala, sirina lwe mmanyi.”
9 All who make idols are nothing, and the things they treasure are worthless. Their own witnesses see nothing and know nothing, so they are put to shame. Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa, era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 Who makes a god or casts an idol that does its maker no good? Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 Look—all his companions will be put to shame, for the craftsmen are only human. Let them all assemble and take their stand; they will be terrified and put to shame together. Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. N’ababazzi nabo bantu buntu. Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa. Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
12 The blacksmith shapes an iron tool, working it over the coals; he forms it with hammers and forges it with his strong arm. Yet he grows hungry and his strength fails; he drinks no water and grows faint. Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro. Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge. Enjala emuluma, n’aggwaamu amaanyi, tanywa mazzi era akoowa.
13 The carpenter stretches out a measuring line and marks the wood with a stylus; he works it with chisels and marks it with a compass. He shapes it into the figure of a man, with human beauty, to dwell in a shrine. Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo era n’alamba n’ekkalaamu. Akinyiriza ne landa, n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera, n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana, kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 He cuts down cedars, or chooses a cypress or an oak and lets it grow strong among the trees of the forest. He plants a cedar, and the rain makes it grow. Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira, oba n’asimba enkanaga, enkuba n’egikuza.
15 He uses it for fuel. He takes some of it and warms himself; he lights a fire and bakes bread. But he also makes a god and worships it; he makes an idol and bows down to it. Abantu bagukozesa ng’enku, ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. Akuma omuliro n’afumba emigaati. Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza, akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 He burns half the wood in the fire; over it he roasts meat, eats his fill, and warms himself. He says, 'Ah, I am warm; I can feel the fire.' Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro, ekitundu ekirala akyokesa ennyama n’agirya n’akutta. Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti, “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 And from what is left he makes a god, his idol; he bows down to it and worships, he prays to it and says, 'Save me, for you are my god!' Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, ekifaananyi ekikole n’emikono, era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti, “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 They know nothing, they understand nothing; their eyes are plastered over so they cannot see, and their hearts too, so they cannot understand. Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba, n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 No one stops to think, no one has the knowledge or insight to say, 'Half of it I burned in the fire; I even baked bread over its coals, I roasted meat and ate. Will I make the rest into an abomination? Will I bow down to a block of wood?' Tewali n’omu ayimirira n’alowooza, tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti, “Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro, era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo, njokezzaako n’ennyama n’engirya. Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo? Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 He feeds on ashes; a deluded heart has led him astray. He cannot save himself or say, 'Am I not holding a lie in my right hand?' Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba, tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti, “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
21 Remember these things, Jacob, and you, Israel, for you are my servant. I formed you; you are my servant. Israel, I will not forget you. “Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo; oli muweereza wange ggwe Isirayiri. Nze nakubumba, oli muweereza wange, ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22 I have swept away your rebellions like a cloud, your sins like the morning mist. Return to me, for I have redeemed you. Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”
23 Sing, heavens, for our Father has done it! Shout aloud, depths of the earth. Break into singing, mountains, forest, and every tree in it! For our Father has redeemed Jacob, and he displays his glory in Israel. Yimba n’essanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.
24 This is what our Father says—your Redeemer, who formed you from the womb: I am your Father, the Maker of all things, who alone stretched out the heavens, who spread out the earth by myself, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto. “Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
25 who frustrates the signs of false prophets and makes fools of diviners, who overturns the learning of the wise and turns their knowledge into foolishness, asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abasirusiru. Asaabulula eby’abagezi n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.
26 who confirms the word of his servant and fulfills the counsel of his messengers, who says of Jerusalem, 'She will be inhabited,' and of the cities of Judah, 'They will be rebuilt, and I will restore their ruins,' Anyweza ekigambo ky’omuweereza we n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. “Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27 who says to the deep, 'Be dry; I will dry up your rivers,' Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira, era ndikaliza emigga gyo.’
28 who says of Cyrus, 'He is my shepherd, and he will accomplish all that I please'; who says of Jerusalem, 'She will be rebuilt,' and of the temple, 'Your foundation will be laid.' Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna.’ Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]