Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 43 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But now, this is what our Father says—he who created you, Jacob, he who formed you, Israel: Do not be afraid, for I have redeemed you; I have called you by name, you are mine. Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2 When you pass through the waters, I will be with you; and through the rivers, they will not overwhelm you. When you walk through fire, you will not be burned, and the flame will not consume you. Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bw’onooyitanga mu migga tegirikusaanyaawo; bw’onooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3 For I am your Father, the Holy One of Israel, your Savior. I gave Egypt as your ransom, Cush and Seba in your place. Kubanga nze Mukama Katonda wo, Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo. Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa, era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 Because you are precious in my eyes, and honored, and I love you, I give people in exchange for you, and nations in exchange for your life. Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 Do not be afraid, for I am with you. From the east I will bring your children, and from the west I will gather you. Totya, kubanga nze ndi nawe, ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 To the north I will say, Release them, and to the south, Keep them no longer; bring back my sons from distant lands and my daughters from earth's farthest reaches, Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’ n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ Leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 everyone who is called by my name, whom I created for my glory, whom I formed and made. Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw’ekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”
8 Bring out the people who have eyes but are blind, and who have ears but are deaf. Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.
9 All the nations gather together, and the peoples assemble. Who among them can declare this and tell us the former things? Let the nations bring their witnesses to prove they are right, so that others may hear and say, It is true. Amawanga gonna ka gakuŋŋaane n’abantu bajje. Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 You are my witnesses, declares our Father, and my chosen servant, so that you can know and trust me and grasp that I am he. No god was formed before me, and none will come after me. “Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.
11 I, I am your Father, and besides me there is no savior. Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 I declared and saved and proclaimed, when there was no foreign god among you; and you are my witnesses, declares our Father, and I am your Father. Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13 From this day on I am he; there is no one who can deliver from my hand. I act, and who can turn it back? “Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 This is what our Father says—your Redeemer, the Holy One of Israel: For your sake I send to Babylon and bring them all down as fugitives, the Babylonians, in the ships they are so proud of. Bw’ati bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe mu byombo ebyabeewanya.
15 I am your Father, your Holy One, the Creator of Israel, your King. Nze Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
16 This is what our Father says—he who makes a way in the sea, a path through the mighty waters, Bw’ati bw’ayogera Mukama, oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 who brings out chariot and horse, army and warrior together—they lie down and cannot rise, snuffed out, quenched like a wick: eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba, byonna awamu okugwa omwo, ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde, nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 Do not remember the former things, nor consider the things of the past. “Mwerabire eby’emabega, so temulowooza ku by’ayita.
19 Look, I am doing a new thing; now it springs up—do you not see it? I will make a way in the wilderness and rivers in the desert. Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 The wild animals will honor me, the jackals and the ostriches, because I provide water in the wilderness and rivers in the desert, to give drink to my chosen people, Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, ebibe n’ebiwuugulu; kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, n’emigga mu lukoola, okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 the people I formed for myself, that they might declare my praise. abantu be nnekolera balangirire ettendo lyange.
22 "Yet you did not call on me, Jacob; you have grown weary of me, Israel. “So tonkowodde ggwe, Yakobo, era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 You have not brought me sheep for your burnt offerings, nor honored me with your sacrifices. I did not burden you with grain offerings or weary you with frankincense. Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke wadde okukukooya n’obubaane.
24 You have not bought me fragrant cane with money, nor satisfied me with the fat of your sacrifices. Instead, you have burdened me with your sins; you have wearied me with your wrongdoing. Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo, naye onkoyesezza n’ebibi byo, era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
25 "I, I am he who blots out your rebellions for my own sake, and I will not remember your sins. “Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.
26 Remind me; let us argue it out together; state your case, that you may be proved right. Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.
27 Your first father sinned, and your spokesmen rebelled against me. Kitaawo eyasooka yasobya, abakulembeze bo baanjemera.
28 So I profaned the officials of the sanctuary; I handed Jacob over to destruction and Israel to scorn." Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe ne Isirayiri aswazibwe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]