Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Israel was a lush vine that yielded its fruit. The more his fruit, the more altars he built; the richer his land, the finer he made his sacred pillars. Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
2 Their hearts are divided; now they must bear their guilt. He will break down their altars and shatter their sacred pillars. Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.
3 For now they will say, "We have no king, because we did not fear our Father—and a king, what could he do for us?" Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka kubanga tetwatya Mukama. Naye ne bwe twandibadde ne kabaka, yanditukoleddeyo ki?”
4 They speak mere words, swearing empty oaths and making covenants; so judgment springs up like poisonous weeds in the furrows of a field. Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
5 The people of Samaria tremble for the calf of Beth-aven. Its people mourn over it, and its idol-priests wail over it, over its glory that has departed from it. Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
6 The idol itself will be carried off to Assyria as tribute to the great king. Ephraim will be seized with shame, and Israel will be ashamed of his own plans. Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
7 Samaria's king will perish like a twig tossed on the water. Samaliya ne kabaka we balitwalibwa ng’ekibajjo eky’omuti ku mazzi n’azikirizibwa.
8 The high places of Aven, the sin of Israel, will be destroyed. Thorns and thistles will grow up over their altars, and they will say to the mountains, "Cover us," and to the hills, "Fall on us." Ebifo ebigulumivu eby’obutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa n’amatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” n’obusozi nti, “Mutugweko.”
9 Since the days of Gibeah you have sinned, Israel; there they have taken their stand. Will not war overtake them in Gibeah? Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 When I please, I will discipline them, and nations will be gathered against them, binding them tight for their double guilt. Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza; amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo, ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Ephraim was a trained heifer that loved to thresh, and I spared her beautiful neck; but now I will harness Ephraim, Judah must plow, and Jacob must break up the ground for himself. Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 Sow for yourselves righteousness; reap the fruit of covenant love; break up your unplowed ground. For it is time to seek our Father, until he comes and rains righteousness down upon you. Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alidda n’abafukako obutuukirivu.
13 You have plowed wickedness; you have reaped injustice; you have eaten the fruit of lies. Because you trusted in your own way, in the multitude of your warriors, Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala eby’obulimba. Olw’okwesiga amaanyi go, n’abalwanyi bo abangi,
14 the roar of battle will rise against your people, and all your fortresses will be devastated, as Shalman devastated Beth-arbel on the day of war, when mothers were dashed to pieces with their children. olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 So it will be done to you, Bethel, because of your great evil. At dawn the king of Israel will be utterly cut off. Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]