Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Let love for one another as family continue. Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda.
2 Don't forget hospitality to strangers; through it some have hosted angels unaware. Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.
3 Remember prisoners as though chained with them, and the mistreated, since you too are in the body. Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.
4 Marriage should be honored among all, the marriage bed kept pure—our Father will judge the sexually immoral and adulterous. Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.
5 Keep your life free from the love of money; be content with what you have, for our Father himself has said, "I will never leave you, never abandon you." Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira n’akatono.”
6 So we say with confidence: Our Father is my helper; I will not fear. What can anyone do to me? Kyetuva twogera n’obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza kunkola ki?”
7 Remember your leaders who spoke our Father's word to you. Consider the outcome of their way of life, and imitate their faith. Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza.
8 Jesus Christ is the same yesterday and today and forever. Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe.
9 Don't be swept away by strange, varied teachings. It's good for the heart to be strengthened by grace, not by foods—those who live by them gain nothing. Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya.
10 We have an altar from which those who serve the tent have no right to eat. Tulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.
11 For the bodies of animals whose blood the high priest brings into the sanctuary for sin are burned outside the camp. Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira.
12 So Jesus also suffered outside the gate to make the people holy through his own blood. Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye.
13 Therefore let us go out to him outside the camp, bearing the shame he endured. Kale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye.
14 For here we have no lasting city, but we are seeking the city that is to come. Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.
15 Through him, then, let us always offer our Father a sacrifice of praise—the fruit of lips confessing his name. Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.
16 Don't forget to do good and share what you have—such sacrifices please our Father. Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa.
17 Obey your leaders and submit to them—they watch over your souls, since they'll answer for you. Let them do this joyfully, not with groaning, for that profits you nothing. Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
18 Pray for us, since we're sure our conscience is clear, wanting to act honorably in everything. Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu.
19 I urge you even more to do this, so I may be restored to you sooner. Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.
20 May our Father of peace, who raised our Lord Jesus—the great Shepherd of the sheep—from the dead by the blood of the eternal covenant, Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe,
21 complete you in every good thing to do his will, working in us what pleases him through Jesus Christ, to whom be glory forever and ever. Amen. abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
22 Brothers and sisters, I urge you to bear with this word of encouragement—I've written only briefly. Kaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.
23 Know that our brother Timothy has been released; if he comes soon, I will see you with him. Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.
24 Greet all your leaders and all the saints. Those from Italy send you greetings. Mulamuse abakulembeze bammwe era n’abakkiriza bonna. Ab’omu Italiya babalamusizza.
25 Grace be with you all. Amen. Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]