Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

James 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 James, a servant of our Father and the Lord Jesus Christ, to the twelve tribes scattered among the nations: greetings. Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa.
2 Consider it pure joy, my brothers and sisters, whenever you face trials of many kinds, Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu
3 because you know that the testing of your faith produces perseverance. nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.
4 Let perseverance finish its work so that you may be mature and complete, lacking nothing. Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako.
5 If any of you lacks wisdom, ask our Father, who gives freely to all without criticizing, and it will be given you. Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.
6 Ask in faith, without doubting, for the doubter is like a sea wave, driven and tossed by the wind. Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo.
7 That person should not expect to receive anything from our Father. Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna.
8 Such a person is double-minded and unstable in all their ways. Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo.
9 Let the believer in humble circumstances take pride in their high position, Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa.
10 but let the rich boast in their low state, since they'll pass like a wildflower. N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera.
11 The sun rises with scorching heat and withers the grass. Its flower falls; its beauty vanishes. So the rich fade away amid their pursuits. Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye.
12 Blessed is the one who endures trial, because once tested they'll receive the crown of life our Father promised to those who love him. Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.
13 When tempted, no one should say, "Our Father is tempting me." Evil can't tempt our Father, and he tempts no one. Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu.
14 But each person is tempted, dragged away and lured by their own evil desire. Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa.
15 Then desire conceives and gives birth to sin; sin, full-grown, gives birth to death. Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.
16 Don't be deceived, my dear brothers and sisters. Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.
17 Every good and perfect gift is from above, coming down from the Father of lights, who never changes or casts a shifting shadow. Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.
18 By his choice, he gave us birth through the word of truth, so we'd be a kind of firstfruits of his creation. Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya.
19 Know this, my dear brothers and sisters: everyone should be quick to listen, slow to speak, slow to anger, Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.
20 because human anger does not produce the righteousness of our Father. Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda.
21 So strip off all moral filth and excess evil; humbly receive the word planted in you, able to save your souls. Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe.
22 Do not merely listen to the word, and so deceive yourselves. Do what it says. Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.
23 Anyone who hears the word but doesn't act on it is like one who looks at his natural face in a mirror, Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu;
24 and, after looking at himself, goes away and immediately forgets what he looks like. bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye.
25 But whoever peers into the perfect law of freedom, continuing in it—not a forgetful hearer but a doer who acts—will be blessed in his doing. Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola.
26 If anyone thinks himself religious but doesn't control his tongue, he deceives his own heart—his religion is worthless. Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa.
27 Pure and spotless religion before our Father is this: caring for orphans and widows in their distress, and keeping oneself unstained from the world. Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]