Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So, with so great a cloud of witnesses surrounding us, let's strip off every weight and the sin that clings so tightly, and run with endurance the race laid out before us. Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,
2 Looking to Jesus, the founder and perfecter of our faith, who for the joy set before him endured the cross, despising its shame, and is seated at the right hand of our Father's throne. nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.
3 Weigh how he endured such hostility from sinners against himself, so you don't grow weary or lose heart. Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
4 In your struggle against sin you have not yet resisted to the point of shedding your blood. Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi!
5 Have you forgotten the encouragement addressing you as sons? "My son, don't dismiss our Father's discipline, or lose heart when he corrects you. Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti, “Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama, so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.
6 For our Father disciplines the one he loves, and chastises every son whom he receives." Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula, Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”
7 It is for discipline that you endure. Our Father is treating you as sons; for what son is there whom his father does not discipline? Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?
8 If you lack the discipline all children share, you're illegitimate, not sons. Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.
9 Then too, we had physical fathers who disciplined us, and we respected them. Shouldn't we submit far more to the Father of spirits, and live? Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu?
10 They disciplined us briefly as they saw fit; he disciplines us for our good, so we may share his holiness. Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.
11 For the moment all discipline seems painful rather than pleasant, but later it yields the peaceful fruit of righteousness to those who have been trained by it. Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.
12 Therefore lift your drooping hands and strengthen your weak knees, Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira,
13 and make straight paths for your feet, so the lame limb won't be dislocated but instead healed. era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.
14 Pursue peace with everyone, and the holiness without which no one will see our Father. Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.
15 Watch that no one falls short of our Father's grace, that no root of bitterness grows up to cause trouble and make many unclean, Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala.
16 that no one is sexually immoral or unholy like Esau, who sold his birthright for one meal. Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu.
17 You know that afterward, wanting to inherit the blessing, he was rejected, for he found no opportunity to reverse the decision, though he sought the blessing with tears. Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.
18 For you have not come to what can be touched, and blazing fire, and darkness, and gloom, and storm, Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga,
19 and a trumpet blast, and a voice of words, whose hearers begged no more be said to them. n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira.
20 For they could not bear the command: "If even an animal touches the mountain, it must be stoned." Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.”
21 Indeed, so terrifying was the sight that Moses said, "I am trembling with fear." Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”
22 But you have come to Mount Zion, city of the living Father, heavenly Jerusalem, and to countless angels in joyful assembly, Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye,
23 and to the assembly of the firstborn enrolled in heaven, and to our Father, judge of all, and to the spirits of the righteous made perfect, n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa,
24 and to Jesus, mediator of a new covenant, and to sprinkled blood speaking a better word than Abel's blood. n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.
25 See that you don't refuse the One speaking. If those who refused the One warning them on earth didn't escape, how much less will we, if we turn from the One warning from heaven. Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula?
26 Then his voice shook the earth; now he has promised: "Yet once more I will shake not only the earth but also the heavens." Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.”
27 The phrase "Yet once more" signals removal of shaken things—that is, created things—so the unshaken may remain. Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.
28 So, receiving an unshakable kingdom, let's hold on to thankfulness and offer our Father acceptable worship, with reverence and awe, Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.
29 for our Father is a consuming fire. Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]