Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now faith is the assurance of things hoped for, the conviction of things not seen. Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika.
2 For by it the people of old received their commendation. Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.
3 By faith we understand our Father's word formed the universe, so what is seen came not from the visible. Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.
4 By faith Abel brought our Father a better offering than Cain's, through which he was proven righteous, our Father commending him by accepting his gifts. Though he died, through his faith he still speaks. Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.
5 By faith Enoch was taken up, not seeing death, and was not found, because our Father had taken him. Before his taking, he was commended as pleasing to our Father. Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa.
6 Without faith it's impossible to please him: whoever approaches our Father must believe he exists and rewards those who sincerely seek him. Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
7 By faith Noah, warned about what wasn't yet visible, built an ark in reverence to save his household. By this he condemned the world and became heir of the righteousness that comes through faith. Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
8 By faith Abraham obeyed the call to go to a place he'd receive as inheritance, leaving without knowing his destination. Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yayitibwa, n’agonda, n’alaga mu kifo kye yali agenda okuweebwa ng’omugabo, bw’atyo n’agenda nga ne gy’alaga tamanyiiyo.
9 By faith he settled in the land of promise as in a foreign land, living in tents with Isaac and Jacob, co-heirs of the same promise. Era ne bwe yatuuka mu nsi Katonda gye yamusuubiza, mu nsi gye yali tamanyangako, olw’okukkiriza yasulanga mu weema era lsaaka ne Yakobo nabo bwe baakola, Katonda ng’abasuubizza nga bwe yasuubiza Ibulayimu.
10 For he was watching for the city with foundations, whose designer and builder is our Father. Ibulayimu yali alindirira ekibuga kiri ekirina omusingi, Katonda kye yategeka era n’azimba.
11 By faith Sarah herself received power to conceive, though past age, since she trusted the one who promised was faithful. Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa.
12 So from one man—as good as dead—were born as many descendants as the stars of the sky, as countless as sand on the seashore. Bwe kityo bangi ne bava mu muntu omu eyali omukadde ennyo ne baba bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era ng’omusenyu oguli ku nnyanja ogutabalika.
13 All these died in faith, without receiving what was promised—yet seeing it from afar and welcoming it, admitting they were foreigners and exiles on earth. Abo bonna baafiira mu kukkiriza. Baafa nga Katonda bye yabasuubiza tebannabifuna, naye nga basanyufu nga bamanyi nti bibalindiridde, kubanga baategeera nti ku nsi kuno baali bagenyi bugenyi abatambuze.
14 For those who say this show they are seeking a homeland of their own. Aboogera bwe batyo balaga nti bayolekedde obutaka bwabwe obw’omu nsi endala.
15 If they had remembered the land they'd left, they'd have had a chance to return. Abantu abo singa baalowooza ku birungi eby’ensi eno bandisobodde okudda emabega.
16 But as it is, they desire a better country—a heavenly one. So our Father is not ashamed to be called their Father: he has prepared them a city. Naye kaakano beegomba ensi esingako, ye y’omu ggulu. Katonda kyava aba Katonda waabwe, nga tekimuswaza kuyitibwa bw’atyo, kubanga abateekeddeteekedde ekibuga.
17 By faith Abraham, being tested, offered Isaac; he who had received the promises was offering his only son, Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa,
18 of whom it was said, "Through Isaac will your offspring be named." gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,”
19 He reasoned our Father could raise him even from the dead—and, figuratively, he got him back from there. gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.
20 By faith Isaac called down future blessings on Jacob and Esau. Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.
21 By faith Jacob, dying, blessed each of Joseph's sons and worshiped, leaning on the top of his staff. Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.
22 By faith, dying, Joseph mentioned the exodus of Israel's sons and gave orders about his bones. Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.
23 By faith Moses' parents hid him three months after his birth, seeing he was a beautiful child, unafraid of the king's edict. Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
24 By faith Moses, when he was grown up, refused to be called the son of Pharaoh's daughter, Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo
25 choosing mistreatment with our Father's people over sin's fleeting pleasures. n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu.
26 He considered the disgrace of Christ greater wealth than Egypt's treasures, since he looked toward the reward. Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera.
27 By faith he left Egypt, not fearing the king's anger, enduring as if seeing our Father, who is invisible. Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri.
28 By faith he kept the Passover and blood-sprinkling, so the destroyer of the firstborn wouldn't touch them. Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.
29 By faith they crossed the Red Sea as on dry land; the Egyptians, trying the same, were swallowed up. Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
30 By faith the walls of Jericho fell down after they had been encircled for seven days. Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 By faith Rahab the prostitute did not die with those who disobeyed, since she welcomed the spies in peace. Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.
32 What more can I say? Time fails me to tell of Gideon, Barak, Samson, Jephthah, David and Samuel and the prophets, Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala,
33 who through faith conquered kingdoms, enforced justice, obtained promises, shut the mouths of lions, abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma,
34 put out fire's power, escaped the edge of the sword, grew strong from weakness, became mighty in war, and turned back foreign armies. be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga.
35 Women received their dead back by resurrection; others were tortured, refusing release, to gain a better resurrection. Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde.
36 Still others suffered mocking and flogging, and even chains and imprisonment. N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera.
37 They were stoned, sawn in two, killed by the sword. They wandered in sheepskins and goatskins—destitute, tormented, mistreated. Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi,
38 The world wasn't worthy of them—they wandered deserts, mountains, caves, and holes in the ground. n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi.
39 And all these, though they were commended for their faith, did not receive what was promised, Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa.
40 since our Father provided something better for us, so they would not be perfected without us. Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]