Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hebrews 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The law is only a shadow of the good things to come, not the true form of those realities, and so, by the same sacrifices offered year after year without end, can never perfect those who draw near. Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo.
2 Otherwise, wouldn't they have stopped being offered, since worshipers, cleansed once, would no longer be conscious of sins? Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe.
3 But in these sacrifices there is a yearly reminder of sins. Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe.
4 For it is impossible for the blood of bulls and goats to take away sins. Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 Therefore, when Christ came into the world, he said: "Sacrifice and offering you did not desire, but a body you prepared for me; Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti, “Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Naye wanteekerateekera omubiri.
6 "in burnt offerings and sin offerings you took no pleasure. Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi, tewabisiima.
7 Then I said, 'Look, I have come—in the scroll of the book it is written of me—to do your will, my Father.'" Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa: Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
8 Above he said, "Sacrifices, offerings, burnt offerings, and sin offerings you did not desire or delight in"—though the law requires them, Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira,
9 then he said, "Look, I have come to do your will." He removes the first to establish the second. n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri.
10 By this will, we have been made holy through the offering of Jesus Christ's body, once for all. Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 Every priest stands daily, serving and repeatedly offering the same sacrifices that can never remove sins. Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi,
12 But he offered one sacrifice for sins forever, then sat down at the right hand of our Father, naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
13 waiting from that time until his enemies are made a footstool for his feet. Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye.
14 For by one offering he has perfected for all time those who are being made holy. Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 And the Holy Spirit also testifies to us; for after saying, Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 "This is the covenant that I will make with them after those days, says our Father: I will put my laws on their hearts, and write them on their minds." “Eno y’endagaano gye ndikola nabo, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe, era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 He then adds, "And their sins and their lawless deeds I will remember no more." Ayongerako kino nti, “Sirijjukira nate bibi byabwe newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Now where these are forgiven, there is no longer any offering for sin. Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
19 So, brothers and sisters, since we have confidence to enter the holy places by Jesus' blood, Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu,
20 a new, living way he opened for us through the curtain—his flesh, eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe,
21 and since we have a great priest over the house of our Father, kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda,
22 let us draw near with a genuine heart, fully assured by faith, hearts sprinkled clean from a guilty conscience, and bodies washed with pure water. tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu.
23 Let us hold tightly to the hope we declare, unshaken, for he who promised is faithful. Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,
24 And let us consider how to spur one another on to love and good works, era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi.
25 not giving up meeting together, as some habitually do, but encouraging each other—even more as you see the Day approaching. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
26 For if we go on sinning deliberately after receiving the knowledge of the truth, no sacrifice for sins remains, Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi.
27 but only a terrible expectation of judgment and a raging fire that will consume the adversaries. Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda.
28 Anyone who rejects Moses' law dies without mercy on two or three witnesses' testimony. Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza.
29 How much worse punishment, do you think, does the one deserve who trampled the Son of our Father underfoot, treated as unholy the blood of the covenant that made him holy, and insulted the Spirit of grace? Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo?
30 For we know the one who said, "Justice is mine; I will repay," and again, "Our Father will judge his people." Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.”
31 It is a terrible thing to fall into the hands of the living Father. Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!
32 Remember the earlier days, when after being enlightened you endured a hard struggle with suffering, Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi.
33 at times publicly shamed by insults and suffering, at times standing with those treated that way. Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe.
34 For you suffered with prisoners and joyfully accepted your possessions being seized, knowing you yourselves had a better, lasting possession. Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 So do not throw away your confidence; it holds a great reward. Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.
36 You need endurance, so that having done our Father's will, you may receive the promise. Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 For yet "in a very little while, the coming one will come and will not delay; Wasigadde akaseera katono nnyo, oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 but my righteous one will live by faith, and if he shrinks back, my soul takes no pleasure in him." Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza, kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 But we don't belong to those who shrink back into destruction, but to those who have faith and preserve their souls. Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]