Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, Paul left Athens and went to Corinth. Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso.
2 There he found a Jew named Aquila, native of Pontus, newly arrived from Italy with his wife Priscilla since Claudius had ordered all Jews out of Rome. Paul visited them, Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi.
3 since they shared a trade, he stayed and worked with them—tentmakers by trade. Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo.
4 Every Sabbath he reasoned in the synagogue, trying to persuade Jews and Greeks. Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
5 When Silas and Timothy came from Macedonia, Paul was consumed by the word, testifying to the Jews that the Christ was Jesus. Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
6 When they resisted and insulted him, he shook out his clothes and said, "Your blood is on your own heads! I'm clean of it. From now on I'll go to the Gentiles." Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
7 He left the synagogue and went to the house of Titius Justus, a worshiper of our Father, next door to the synagogue. Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro.
8 Crispus, the synagogue leader, believed in the Lord with his whole household; many Corinthians who heard Paul believed and were baptized. Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
9 One night the Lord told Paul in a vision, "Don't be afraid; keep speaking, don't stay silent, Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika!
10 for I am with you, and no one will attack you to harm you, for I have many people in this city." Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.”
11 So Paul stayed for a year and six months, teaching the word of our Father among them. Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 While Gallio was proconsul of Achaia, the Jews united against Paul and brought him before the tribunal, Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango.
13 saying, "This man is persuading people to worship God in ways contrary to the law." Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.”
14 As Paul was about to speak, Gallio told the Jews, "If this were some wrong or vicious crime, Jews, I'd have reason to put up with you. Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza.
15 Since this is a dispute about words, names, and your own law, settle it yourselves. I won't judge such matters. Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.”
16 And he drove them away from the tribunal." Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka.
17 So they all grabbed Sosthenes, the synagogue leader, and beat him before the judgment seat, but none of it concerned Gallio. Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
18 Paul stayed on in Corinth for many more days. Then he said farewell to the brothers and sisters and sailed for Syria, accompanied by Priscilla and Aquila. At Cenchreae he had his hair cut off, for he was keeping a vow. Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze.
19 They reached Ephesus, where Paul left Priscilla and Aquila, but he himself entered the synagogue and reasoned with the Jews. Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro.
20 When they asked him to stay longer, he declined. Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza.
21 But he left, saying, "I will come back to you if our Father is willing," and sailed from Ephesus. N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso.
22 Landing at Caesarea, he went up, greeted the church, then went down to Antioch. Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
23 After some time there, he set out through Galatia and Phrygia, strengthening all the disciples. Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
24 A Jew named Apollos, born in Alexandria, came to Ephesus—a learned man, well versed in the Scriptures. Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa.
25 He had been taught the way of the Lord, and, spirit boiling over, spoke and taught accurately about Jesus—though he knew only John's baptism. Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka.
26 He spoke boldly in the synagogue. Priscilla and Aquila heard him, took him aside, and explained the way of our Father more accurately. N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
27 When Apollos wanted to cross to Achaia, the brothers and sisters encouraged him and wrote to the disciples to welcome him; arriving, he greatly helped those who had believed by grace, Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa,
28 for he forcefully refuted the Jews in public, proving from the Scriptures that the Christ was Jesus. kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]