Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After traveling through Amphipolis and Apollonia, they came to Thessalonica, where there was a Jewish synagogue. Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya.
2 Paul, as usual, went in to them and reasoned with them from the Scriptures on three Sabbaths. Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu.
3 Opening and explaining the Scriptures that the Christ must suffer and rise from the dead, he said, "This Jesus I proclaim to you is the Christ." N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.”
4 Some of them were persuaded and joined Paul and Silas, along with a great many devout Greeks and quite a few leading women. Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 But the Jews grew jealous, gathered evil men from the marketplace, formed a mob, and threw the city into chaos. They stormed Jason's house, seeking to bring them out to the crowd. Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu.
6 Not finding them, they dragged Jason and some brothers before the city officials, shouting, "These men who have turned the world upside down have come here too, Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe,
7 Jason welcomed them. They all defy Caesar's decrees, claiming there is another king—Jesus. era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.”
8 And they stirred up the crowd and the city authorities who heard these things." Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala.
9 And when they had taken bail from Jason and the rest, they let them go. Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
10 The brothers at once sent Paul and Silas off by night to Berea; on arrival they went to the Jewish synagogue. Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.
11 These Jews were more open-minded than those in Thessalonica, receiving the word eagerly and examining Scripture daily to see if these things were true. Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.
12 So many of them believed, along with many prominent Greek women and men. Era Abayudaaya bangi ne bakkiriza, n’abakazi ab’ekitiibwa Abayonaani bangi n’abasajja, nabo ne bakkiriza.
13 When Jews from Thessalonica learned Paul proclaimed the word of our Father in Berea too, they went there also, agitating and stirring up the crowds. Naye Abayudaaya ab’omu Sessaloniika bwe baategeera nga Pawulo abuulira ekigambo kya Katonda mu Beroya, ne bamuwondera ne batabangula ekibiina.
14 The brothers immediately sent Paul off to the sea, but Silas and Timothy stayed there. Amangwago abooluganda bwe bakitegeera ne baweereza Pawulo ku nnyanja, Siira ne Timoseewo bo ne basigala e Beroya.
15 Paul's escorts brought him to Athens, then left with orders for Silas and Timothy to join him as soon as possible. Abaawerekera ku Pawulo ne bagenda naye okutuukira ddala mu Asene, eyo gye baamuleka ne bakomawo e Beroya ng’abatumye bagambe Siira ne Timoseewo bagende mangu gy’ali.
16 While Paul waited for them in Athens, his spirit was provoked within him, seeing the city full of idols. Ebbanga Pawulo lye yamala ng’alinda Siira ne Timoseewo mu Asene, n’alumwa nnyo mu mutima bwe yalaba ng’ekibuga kijjudde bakatonda abalala.
17 So he debated in the synagogue with Jews and worshipers of God, and daily in the marketplace with whoever was there. N’abeeranga mu kkuŋŋaaniro buli lunaku ng’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya n’Abamawanga abatya Katonda, era n’ayogeranga eri abantu bonna abajjanga okumuwuliriza mu kibuga wakati okumpi n’akatale.
18 Some of the Epicurean and Stoic philosophers also debated with him. Some asked, "What's this babbler trying to say?" Others said, "He seems to promote foreign gods"—since he preached the good news of Jesus and the resurrection. Abamu ku bayigiriza bakagezimunnyu Aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko ne batandika okuwakana naye. Bwe yabuulira ku Yesu n’okuzuukira kw’abafu ne bagamba nti, “Aloota buloosi,” n’abalala nti, “Waliwo eddiini empya etali ya wano gy’ayimbirira.”
19 They took him and brought him to the Areopagus, asking, "Can we know what this new teaching you're presenting is? Naye ne bamuyita ajje mu kukuŋŋaana kwabwe okwa Aleyopaago nga bagamba nti, “Twagala okwongera okumanya ebikwata ku kuyigiriza kuno okuggya,
20 For you bring strange things to our ears, so we want to know what they mean." kubanga oyogedde ebintu bingi ebyewuunyisa, noolwekyo twagala okwongera okumanya kye bitegeeza.”
21 Now all the Athenians and foreigners living there spent their time on nothing but telling or hearing something new. Abaasene bonna n’abagenyi abajjanga mu Asene, baayagalanga nnyo okumala ebiseera byabwe mu kukubaganya ebirowoozo ku bintu ebiggya bye baakawulira.
22 Paul stood in the middle of the Areopagus and said, "Athenians, I see that you are extremely religious in every way. Awo Pawulo n’ayimirira mu maaso gaabwe mu Aleyopaago, n’abagamba nti, “Abasajja b’omu Asene! Ntegedde nga bwe muli abannaddiini ennyo;
23 For as I passed through and examined your sacred objects, I found an altar inscribed: 'To an unknown god.' What you worship without knowing it, I now proclaim to you. kubanga bwe mbadde ntambulatambula ne ndaba ebyoto bya ssaddaaka bingi, ne ku kimu nga kuliko ebigambo bino nti: Kya Katonda Atamanyiddwa. Mubadde mumusinza nga temumumanyi, nange kaakano njagala mbamutegeeze.
24 Our Father, who made the world and everything in it, being Sovereign of heaven and earth, doesn't live in temples made by hands, “Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu,
25 nor served by human hands, as if he needed anything—he himself gives everyone life, breath, and everything. era abantu tebayinza kumuyamba mu byetaago bye, kubanga talina byetaago! Ye yennyini y’awa buli muntu obulamu n’omukka gw’assa n’ebintu byonna.
26 From one man he made every nation of mankind live across the whole earth, fixing their set times and the boundaries of their homelands, Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago.
27 so they might seek our Father, perhaps reach for him and find him—though he is not far from each of us, Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala.
28 for 'In him we live and move and have our being'; as even some of your own poets have said, 'We too are his descendants.' Kubanga mu ye mwe tubeera, era mwe tutambulira, era mwe muli obulamu bwaffe. Ng’omu ku bawandiisi bammwe bw’agamba nti, ‘Tuli baana ba Katonda.’
29 So as our Father's children, we shouldn't think the divine is like gold, silver, or stone—an image shaped by human skill and imagination. “Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.
30 The times of ignorance our Father overlooked, but now he commands all people everywhere to repent. Edda mu biseera ebyayita Katonda yagumiikiriza obutamanya bw’omuntu ku bintu ng’ebyo, naye kaakano alagira abantu bonna buli wantu okwenenya.
31 He set a day to judge the world justly, through a man he appointed—proving it to all by raising him from the dead." Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
32 Hearing of the resurrection of the dead, some mocked; others said, "We'll hear you on this again." Awo bwe baawulira Pawulo ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamusekerera, abalala ne bamugamba nti, “Twandiyagadde okwongera okukuwuliriza ku nsonga eyo olulala.”
33 So Paul left them. Bw’atyo Pawulo n’afuluma mu lukuŋŋaana lwabwe.
34 But some men joined him and believed, including Dionysius the Areopagite, a woman named Damaris, and others. Naye abamu ku bo ne bamugoberera ne bakkiriza Mukama waffe. Omwo mwe mwali Diyonusiyo Omwaleyopaago, n’omukazi erinnya lye Damali n’abalala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]