Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul went on to Derbe and Lystra. A disciple was there named Timothy, son of a believing Jewish woman, but his father was a Greek. Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani,
2 He was well thought of by the brothers at Lystra and Iconium. abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere.
3 Paul wanted him to travel with him, so he took and circumcised him, because of the Jews in those places, for they all knew his father was Greek. Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani.
4 Traveling through the towns, they delivered the decisions the apostles and elders in Jerusalem had made, for them to keep. Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga.
5 So the churches were strengthened in the faith and grew in numbers daily. Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
6 They crossed the Phrygian and Galatian region, since the Holy Spirit had stopped them from speaking the word in Asia. Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo.
7 Reaching Mysia, they tried entering Bithynia, but the Spirit of Jesus wouldn't let them. Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza.
8 So passing by Mysia, they went down to Troas. Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa.
9 Paul saw a vision in the night: a Macedonian man stood pleading with him, "Cross over to Macedonia and help us." Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.”
10 When he had seen the vision, we tried at once to leave for Macedonia, concluding our Father had called us to tell them the good news. Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
11 So we set sail from Troas and sailed straight to Samothrace, and the next day to Neapolis, Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli,
12 and from there to Philippi, a leading city of that district of Macedonia, a Roman colony. We stayed there several days. n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 On the Sabbath we went outside the gate to a river, supposing there was a place of prayer. We sat and spoke with the women gathered there. Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo.
14 A woman named Lydia, from Thyatira, who sold purple cloth and worshiped our Father, was listening. The Lord opened her heart to Paul's words. Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza.
15 When she and her household were baptized, she urged us: "If you judge me faithful to the Lord, come to my house and stay." And she persuaded us. Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
16 As we went to the place of prayer, we met a slave girl possessed by a spirit of divination; she earned her owners great profit through fortune-telling. Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi.
17 She followed Paul and us, shouting, "These men are servants of the Most High God, announcing to you the way of salvation." N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.”
18 She did this for many days. Paul, deeply annoyed, turned and told the spirit, "I command you in the name of Jesus Christ to come out of her." It came out instantly. Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
19 When her owners saw their hope of profit was gone, they seized Paul and Silas, dragged them to the marketplace before the rulers. Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza.
20 Bringing them to the magistrates, they said, "These men are Jews, disturbing our city. Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe
21 They advocate customs that are not lawful for us as Romans to accept or practice." nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
22 The crowd joined the attack, and the magistrates ripped off Paul and Silas's clothes and ordered them beaten with rods. Ekibiina ky’abantu ne kibeeyiwako, abalamuzi ne balagira bambulwemu engoye era bakubwe emiggo.
23 After beating them severely, they threw them into prison, ordering the jailer to guard them securely. Bwe baamala okukubwa emiggo mingi, ne baggalirwa mu kkomera, era omukuumi w’ekkomera n’akuutirwa abakuume butiribiri.
24 Given that order, he locked them in the inner cell and clamped their feet in stocks. Omukulu w’ekkomera bwe yafuna ebiragiro ebyo, n’abateekera ddala mu kkomera ery’omunda, n’amagulu gaabwe n’agassa mu nvuba.
25 About midnight Paul and Silas prayed and sang hymns to our Father while the prisoners listened to them. Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza,
26 Suddenly a violent earthquake shook the prison's foundations; instantly all doors opened and everyone's chains loosened. amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri!
27 The jailer woke, saw the prison doors open, drew his sword meaning to kill himself, thinking the prisoners had escaped. Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette!
28 But Paul shouted, "Don't harm yourself, for we are all here!" Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”
29 The jailer called for lights, rushed in, and fell trembling before Paul and Silas. Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana.
30 Then he brought them outside and said, "Sirs, what must I do to be saved?" Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”
31 And they said, "Believe in the Lord Jesus, and you will be saved, you and your household." Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.”
32 They spoke the Lord's word to him and everyone in his house. Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna.
33 In that hour of the night, he took them and washed their wounds; then he and his whole household were baptized at once. Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa.
34 He brought them up into his house, set food before them, and was overjoyed with his whole household at believing in our Father. Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.
35 But when morning came, the magistrates sent the police, saying, "Release those men." Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.”
36 The jailer told Paul, "The magistrates sent orders to release you. Come out now and go in peace." Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”
37 But Paul said to them, "They beat us publicly, without trial, Roman citizens that we are, and threw us into prison. Now they want to send us off secretly? No! Let them come themselves and lead us out." Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”
38 The officers reported these words to the magistrates, who were afraid to hear they were Roman citizens. Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo.
39 They came, apologized, led them out, and asked them to leave the city. Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe.
40 So they left the prison and went to Lydia's house. There they saw the brothers, encouraged them, and left. Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]