Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Some men came down from Judea and taught the brothers, "Unless you are circumcised by Moses' custom, you cannot be saved." Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.”
2 When Paul and Barnabas had fierce dispute and debate with them, the brothers appointed Paul, Barnabas, and some others of them to go up to the apostles and elders in Jerusalem about this question. Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi.
3 Sent on by the church, they traveled through Phoenicia and Samaria, recounting the Gentiles' conversion, bringing great joy to all the brothers. Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda.
4 Arriving in Jerusalem, the church, apostles, and elders welcomed them, and they reported all our Father had done with them. Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.
5 But some believers from the Pharisee party stood up and said, "They must be circumcised and ordered to keep the law of Moses." Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.
6 Then the apostles and the elders gathered together to look into this matter. Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo.
7 After much debate, Peter stood and said, "Brothers, you know that in the early days our Father chose among you that the Gentiles would hear the gospel message through me and believe. Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize.
8 And our Father, who knows the heart, testified by giving them the Holy Spirit, just as he did to us. Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa.
9 He drew no line between us and them, cleansing their hearts by faith. Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza.
10 So why test our Father by putting a yoke on the disciples' neck that neither our ancestors nor we could bear? Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka?
11 But we believe we will be saved through the grace of the Lord Jesus, just as they will." Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”
12 The whole crowd fell silent, listening to Barnabas and Paul describe the signs and wonders our Father did among the Gentiles through them. Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga.
13 After they finished speaking, James answered, "Brothers, listen to me. Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize.
14 Simeon told how our Father first visited the nations, taking from them a people for his name. Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa.
15 And the words of the prophets agree with this, just as it is written: Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,
16 "'After this I will return, and I will rebuild the tent of David that has fallen; I will rebuild its ruins, and I will restore it, “ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo, ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa. Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,
17 that the rest of mankind may seek our Father, even all the Gentiles who are called by my name, says our Father, who makes these things, n’abantu abalala basobole okunoonya Mukama, era n’abamawanga be nayita okuba abantu bange.
18 known from long ago.' Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’
19 So I judge we shouldn't trouble the Gentiles turning to our Father, “Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya.
20 but write telling them to avoid things polluted by idols, sexual immorality, meat from strangled animals, and blood. Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi.
21 For Moses has been proclaimed in every city for generations, read aloud in synagogues every Sabbath." Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”
22 The apostles, elders, and whole church decided to choose men from among them and send them to Antioch with Paul and Barnabas: Judas called Barsabbas, and Silas, leaders among the brothers. Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa n’abooluganda bonna mu Kkanisa ne bateesa okutuma ababaka bagende ne Pawulo ne Balunabba mu Antiyokiya okubategeeza kye basazeewo. Abasajja abaalondebwa nga bakulembeze mu Kkanisa baali: Yuda (era gwe bayita Balusaba) ne Siira.
23 They sent this letter with them: "The apostles and elders, brothers, to the Gentile brothers in Antioch, Syria, and Cilicia: greetings. Ne baweebwa ebbaluwa gye baatwala ng’esoma bw’eti: Ffe abatume, n’abakadde b’ekkanisa, Eri abooluganda, mu Antiyokiya yonna ne Siriya ne Kirukiya: Abooluganda tubalamusizza.
24 Since we have heard that some who went out from us troubled you with words, unsettling your hearts, though we gave them no such instructions, Tuwulidde nti abamu ku booluganda baava wano ne bajja eyo nga si ffe tubatumye, ne boogera nammwe ebigambo ebyabatabulatabula mu kukkiriza kwammwe ne bibakeŋŋentereza emitima.
25 we unanimously agreed to choose men and send them to you with our beloved Barnabas and Paul. Kyetuvudde tuteesa ffenna, era ne tukkiriziganya bumu, okubatumira ababaka baffe bajjire wamu n’abaagalwa baffe, Balunabba ne Pawulo,
26 Men who have devoted their lives for the name of our Lord Jesus Christ. abasajja abeewaddeyo okuweereza Mukama waffe Yesu Kristo nga tebabalirira bulamu bwabwe.
27 So we sent Judas and Silas, who will themselves tell you the same things by word of mouth. Tubatumidde Yuda ne Siira bongere okubannyonnyola n’akamwa ebyo ebiri mu bbaluwa eno.
28 The Holy Spirit and we agreed to place no greater burden on you than these necessities: Kubanga kwe kuteesa kwa Mwoyo Mutukuvu, era naffe, nga tekisaanira kubatikka migugu gya bwereere egiteetaagibwa, wabula musaana okugoberera bino:
29 Avoid food offered to idols, blood, meat from strangled animals, and sexual immorality. Keep yourselves from these and you will do well. Farewell." Mwewalenga ennyama ettiddwa olw’okuweebwayo eri bakatonda abalala, mwewalenga n’okulya omusaayi, era n’ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era mwewalenga obwenzi. Bwe muneegendereza ne mwewala ebintu ebyo, munaaba mukoze bulungi. Mweraba.
30 So, sent off, they went down to Antioch, gathered the congregation, and delivered the letter. Awo abaatumibwa ne basitula ne bagenda mu Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abakkiriza ne babakwasa ebbaluwa eyo.
31 And when they read it, they rejoiced at the encouragement. Bwe baagisoma, essanyu ne liba jjitirivu mu Kkanisa yonna olw’ebyo ebyagirimu.
32 And Judas and Silas, who were themselves prophets, encouraged and strengthened the brothers with many words. Awo Yuda ne Siira, olwokubanga baali bannabbi, ne boogerera ebbanga ggwanvu nga bakubiriza abooluganda okunyweza okukkiriza kwabwe.
33 After spending time there, the brothers sent them off in peace to those who sent them. Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza.
34 Not in this edition Naye Siira n’asalawo okusigalayo.
35 But Paul and Barnabas remained in Antioch, teaching and preaching our Lord's word, with many others too. Pawulo ne Balunabba ne babeera mu Antiyokiya okumala ebbanga nga bakolera wamu n’abalala nga babuuliira Enjiri era n’okuyigiriza.
36 After some days, Paul told Barnabas, "Let's return and visit the brothers in every city where we announced our Lord's message, and see how they're doing." Awo nga wayiseewo ennaku Pawulo n’agamba Balunabba baddeyo mu bibuga gye baabuulira Enjiri, bagende nga bakyalira abooluganda, balabe nga bwe bali.
37 Now Barnabas wanted to take with them John who was called Mark. Balunabba n’akkiriza, wabula n’ayagala ne Yokaana Makko agende nabo.
38 But Paul thought it best not to bring the one who deserted them in Pamphylia and didn't join them for the work. Naye Pawulo ekyo n’atakyagala, kubanga Makko yabaawukanako n’abaleka e Panfuliya ng’omulimu ogwabatwala tebannagumaliriza.
39 Their clash grew so sharp they separated from each other; Barnabas took Mark and sailed to Cyprus, Ne balemwa okukkiriziganya mu nsonga eyo, n’ekyavaamu kwe kwawukana. Balunabba n’atwala Makko ne basaabala ku nnyanja okulaga mu Kupulo.
40 but Paul chose Silas and set out, entrusted by the brothers to the grace of our Lord. Pawulo n’alonda Siira, abooluganda ne bamusabira ekisa kya Mukama mu lugendo lwe.
41 And he traveled through Syria and Cilicia, strengthening the churches. Ne bayita mu Siriya ne mu Kirukiya nga bagenda bagumya ekkanisa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]