Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In Iconium they entered the Jewish synagogue together and spoke so that a great number of both Jews and Greeks believed. Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza.
2 But the Jews who refused to believe stirred up and poisoned Gentile minds against the brothers. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda.
3 They stayed a long time, speaking boldly for the Lord, who confirmed his message of grace, doing signs and wonders through their hands. Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero.
4 But the city split: some sided with the Jews, some with the apostles. Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume.
5 When both the Gentiles and the Jews, together with their rulers, moved to mistreat and stone them, Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja.
6 realizing this, they fled to the Lycaonian cities of Lystra and Derbe, and the surrounding region, Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo,
7 and there they kept preaching the gospel. era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.
8 A man sat in Lystra, feet disabled, lame from birth, who had never walked. Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako.
9 He was listening to Paul speak. Paul stared at him and saw he had faith to be healed, N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa.
10 said in a loud voice, "Stand upright on your feet." The man leaped up and began walking. Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula!
11 When the crowds saw what Paul did, they shouted in Lycaonian, "The gods have come down to us in human form!" Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!”
12 Barnabas they called Zeus, and Paul they called Hermes, because he was the chief speaker. Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu.
13 The priest of Zeus, whose temple stood before the city, brought bulls and garlands to the gates, wanting to sacrifice with the crowds. Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.
14 But hearing this, the apostles Barnabas and Paul tore their clothes and ran into the crowd, shouting, Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti,
15 and saying, "Men, why are you doing this? We are humans too, with the same nature as you. We bring you good news: turn from these worthless things to the living Father, who made the heaven, the earth, the sea, and everything in them. “Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu.
16 In past generations he let all the nations go their own way, Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga.
17 yet he did not leave himself without witness: doing good, giving you rains from heaven and fruitful seasons, filling your hearts with food and joy." Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.”
18 Even with these words they barely restrained the crowds from sacrificing to them. Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.
19 But Jews from Antioch and Iconium came, won over the crowds, stoned Paul, and dragged him out of the city, thinking him dead. Awo Abayudaaya ne batuuka nga bava mu Antiyokiya ne mu Ikoniya, ne basasamaza ebibiina, ne bakuba Pawulo amayinja ne bamukulula ne bamutwala ebweru w’ekibuga nga balowooza nti afudde.
20 When the disciples surrounded him, he got up and went into the city. The next day he left for Derbe with Barnabas. Naye abayigirizwa ne bajja ne bayimirira okumwetooloola, n’asituka n’addayo mu kibuga! Enkeera ne basitula ne Balunabba ne balaga mu Derube.
21 After preaching the good news in that city and making many disciples, they returned to Lystra, Iconium, and Antioch, Ne babuulira Enjiri mu kibuga ekyo, era abantu bangi ne bakkiriza. Ne baddayo mu Lusitula, ne mu Ikoniya, ne mu Antiyokiya,
22 strengthening the disciples' souls, urging them to remain in the faith: we must enter our Father's kingdom through many troubles. ne babuulirira abakkiriza, nga babakubiriza banywerere mu kukkiriza, era ne babagamba nti, “Kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda nga tuyita mu bibonoobono ebingi.”
23 After appointing elders for them in each church, praying with fasting, they entrusted them to the Lord they had believed in. Pawulo ne Balunabba buli kkanisa baagironderamu abakadde. Ne basaba ne basiiba, ne babakwasa Mukama, oyo gwe bakkiriza.
24 Then they passed through Pisidia and came to Pamphylia. Awo ne batambula ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya,
25 And when they had spoken the word in Perga, they went down to Attalia, bwe baamala okubuulira ebigambo mu Peruga, ne beeyongerayo mu Ataliya.
26 from there they sailed to Antioch, where they'd been entrusted to our Father's grace for the work they had finished. Oluvannyuma ne basaabala ku nnyanja okuddayo mu Antiyokiya, gye baali baasigirwa ekisa kya Katonda olw’omulimu gwe baakola.
27 When they arrived, they gathered the church and reported all our Father had done with them, and how he opened a door of faith to the Gentiles. Bwe baatuuka, ne bakuŋŋaanya ekkanisa ne babategeeza ebyafa mu lugendo lwabwe, ne byonna Katonda bye yabakozesa, n’Abamawanga nga bwe yabaggulirawo oluggi olw’okukkiriza.
28 And they stayed there with the disciples for a long time. Ne babeera eyo ne bamalayo ebbanga ggwanvu nga bali n’abayigirizwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]