Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the Antioch church were prophets and teachers: Barnabas, Simeon called Niger, Lucius of Cyrene, Manaen (a lifelong companion of Herod the tetrarch), and Saul. Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo.
2 While they worshiped our Lord Jesus and fasted, the Holy Spirit said, "Set apart for me Barnabas and Saul, for the work I've called them to." Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.”
3 Then, after fasting and praying, they laid their hands on them and sent them off. Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4 Sent by the Holy Spirit, they went down to Seleucia, then sailed to Cyprus. Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo.
5 Arriving at Salamis, they proclaimed our Father's word in the Jewish synagogues. They had John as their helper. Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6 Having crossed the whole island to Paphos, they found a Jewish sorcerer and false prophet named Bar-Jesus, Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa.
7 who was with the proconsul, Sergius Paulus, an intelligent man. He summoned Barnabas and Saul, wanting to hear our Father's word. Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8 Elymas the magician—that's his name's meaning—opposed them, trying to turn the proconsul from the faith. Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza.
9 But Saul, who was also called Paul, filled with the Holy Spirit, looked intently at him, Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza,
10 and said, "You son of the devil, enemy of all righteousness, full of every deceit and trickery—will you never stop twisting our Father's straight paths? n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu?
11 Now look: the hand of our Father is on you. You will be blind, unable to see the sun, for a time." Immediately mist and darkness fell on him; he felt his way around, seeking someone to lead him by the hand. Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.” Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono.
12 Seeing what happened, the proconsul believed, amazed at the teaching of our Lord Jesus. Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
13 Paul and his companions sailed from Paphos to Perga in Pamphylia, but John left them and returned to Jerusalem. Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi.
14 From Perga they went on to Antioch in Pisidia. On the Sabbath they entered the synagogue and sat down. Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro.
15 After the reading of the Law and the Prophets, the synagogue leaders sent word: "Brothers, if you have a word of encouragement for the people, speak." Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”
16 Paul stood, waved his hand, and said, "Men of Israel, and you who fear our Father, listen. Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize!
17 Our Father, the Father of this people Israel, chose our ancestors, made them great during their stay in the land of Egypt, and led them out with a raised arm. Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi,
18 And for about forty years he put up with them in the wilderness. n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu.
19 After destroying seven nations in Canaan, he gave them their land as an inheritance. N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe,
20 This took about 450 years. Then he gave them judges until Samuel the prophet. okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano. “Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri.
21 Then they asked for a king, and our Father gave them Saul son of Kish, a man from Benjamin's tribe, for forty years. Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana.
22 After removing him, he raised up David as their king, testifying: 'I have found David son of Jesse, a man after my heart, who will do everything I want.' Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’
23 From this man's offspring our Father has brought to Israel a Savior, Jesus, just as he promised. “Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri.
24 Before his coming, John had proclaimed a baptism of repentance to all the people of Israel. Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya.
25 As John was completing his course, he said, 'What do you think I am? I am not he. But look, one is coming after me—I'm not worthy to untie the sandals on his feet.' Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’
26 "Brothers, sons of Abraham's family, and those among you who fear our Father: this salvation message was sent to us. “Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu.
27 Jerusalem's people and their leaders didn't recognize him or grasp the prophets' words read each Sabbath—condemning him, they fulfilled those very words. Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino.
28 Though they found no cause for his death, they asked Pilate to have him executed. Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte.
29 After they finished everything written about him, they took him down from the tree and laid him in a tomb. Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana.
30 But our Father raised him from the dead, Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu.
31 for many days he appeared to those who came up with him from Galilee to Jerusalem, now his witnesses to the people. Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 And we bring you the good news that what our Father promised to our ancestors. “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe
33 He has fulfilled this for us, their children, by raising Jesus, as is also written in Psalm 2: 'You are my Son; today I have fathered you.' yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti, “ ‘Mwana wange, leero nfuuse Kitaawo.’
34 And as for the fact that he raised him from the dead, never to decay again, he said, 'I will give you the holy and sure blessings promised to David.' Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti: “ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 Therefore he also says in another psalm: 'You will not let your Holy One see decay.' Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti, “ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 For David, after serving our Father's purpose in his own generation, fell asleep, was laid with his ancestors, and saw decay, “Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda.
37 but he whom our Father raised up did not see decay. Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 So know this, brothers—through this man forgiveness of sins is proclaimed to you, “Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa.
39 through him, everyone who believes is freed from everything the law of Moses could not free you from. Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu.
40 Be careful, then, that what is said in the Prophets does not happen to you: Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 'Look, you scoffers, be astonished and perish; for I am doing a work in your days, a work that you will never believe, even if someone tells it to you.'" “ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi, musamaalirire era muzikirire! Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera, gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 As Paul and Barnabas left, the people urged them to speak again about these things next Sabbath. Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo.
43 When the synagogue meeting ended, many Jews and devout converts to Judaism followed Paul and Barnabas, who spoke with them and urged them to continue in the grace of our Father. Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
44 The next Sabbath almost the whole city gathered to hear the word of our Lord Jesus. Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda.
45 When the Jews saw the crowds, jealousy filled them, and they contradicted Paul's words, insulting him. Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga.
46 Paul and Barnabas spoke boldly: "The word of our Father had to be spoken to you first. Since you reject it, judging yourselves unworthy of eternal life, look—we turn to the Gentiles." Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga.
47 For our Father has commanded us: "I have made you a light to the nations, to bring salvation to the ends of the earth." Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti, “ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga, olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”
48 Hearing this, the Gentiles rejoiced and glorified the word of our Lord Jesus; all appointed to eternal life believed. Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.
49 And the word of our Lord Jesus spread throughout the whole region. Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna.
50 But the Jews stirred up the devout, prominent women and the city's leading men, roused persecution against Paul and Barnabas, and expelled them from their region. Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe.
51 So they shook the dust off their feet against them and went to Iconium. Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya.
52 And the disciples were filled with joy and with the Holy Spirit. Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]