Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 While Apollos was in Corinth, Paul crossed the inland region and reached Ephesus, where he found some disciples. Awo Apolo ng’ali mu Kkolinso, Pawulo n’atambula ng’ayita ku lukalu n’alaga mu Efeso. N’asangayo abayigirizwa bangiko,
2 He asked them, "Did you receive the Holy Spirit when you believed?" They replied, "No, we haven't even heard there is a Holy Spirit." n’ababuuza nti, “Bwe mwakkiriza mwafuna Mwoyo Mutukuvu?” Ne bamuddamu nti, “Nedda tetuwuliranga nti waliwo Mwoyo Mutukuvu.”
3 So he asked, "Into what then were you baptized?" "Into John's baptism," they said. N’ababuuza nti, “Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki?” Ne bamuddamu nti, “Twakkiriza ebyo Yokaana Omubatiza bye yatuyigiriza.”
4 Paul said, "John baptized with a baptism of repentance, telling people to believe in the one coming after him—Jesus." Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.”
5 On hearing this, they were baptized in the name of the Lord Jesus. Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6 When Paul laid hands on them, the Holy Spirit came on them; they spoke in tongues and prophesied. Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi.
7 There were about twelve men in all. Bonna baali abantu nga kkumi na babiri.
8 Paul entered the synagogue, speaking boldly three months, reasoning and persuading about our Father's kingdom. Pawulo n’ayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ng’abuulira n’obuvumu bungi okumala emyezi esatu, n’abategeezanga ekyo ky’akkiriza era n’ensonga kyava akkiriza, n’asendasenda bangi okukkiriza ebintu by’obwakabaka bwa Katonda.
9 When some grew stubborn, refusing to believe and slandering the Way before the crowd, he withdrew from them, took the disciples, and reasoned daily in Tyrannus's lecture hall. Naye abamu ne bakakanyaza emitima gyabwe ne bagaana, ne batandika n’okwogera obubi ku Kkubo mu bibiina. Pawulo n’abaviira, n’atwala abakkiriza, ne bakuŋŋaaniranga mu kisenge ky’essomero lya Tulaano buli lunaku.
10 This continued two years, so all living in Asia, both Jews and Greeks, heard the word of the Lord Jesus. Ne bamala emyaka ebiri n’okusingawo nga bakola bwe batyo, era Abayudaaya bonna n’Abayonaani bonna abaabeeranga mu kitundu ekyo ekya Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama.
11 Our Father did extraordinary miracles through the hands of Paul, Katonda n’akozesanga Pawulo eby’amagero eby’ekitalo.
12 so even handkerchiefs and aprons that touched his skin were carried to the sick, and diseases left them and evil spirits went out of them. Obutambaala bwe n’ebiwero eby’engoye ze bwe byabikkibwanga ku balwadde nga bawona, era abaabangako baddayimooni nga babavaako.
13 Some traveling Jewish exorcists also tried invoking the name of the Lord Jesus over those with evil spirits, saying, "I command you by the Jesus Paul preaches." Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira, nkulagira omuveeko.”
14 Seven sons of a Jewish high priest named Sceva were doing this. Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo.
15 But the evil spirit answered them, "Jesus I know, and Paul I recognize, but who are you?" Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni n’abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe b’ani?”
16 And the man who had the evil spirit leaped on them, overpowered them all, and prevailed against them, so that they fled out of that house naked and wounded. N’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, n’abataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.
17 All Jews and Greeks living in Ephesus learned of this. Fear seized them all, and the name of the Lord Jesus was highly praised. Ebigambo ebyo ne bibuna mangu mu Bayudaaya ne mu Bayonaani abaali mu Efeso, era bonna ne bakwatibwa entiisa nnene, n’erinnya lya Mukama waffe Yesu ne liweebwa ekitiibwa kingi.
18 Many of those who had become believers also came, confessing and disclosing their practices. Bangi mu abo abakkiriza ne beenenya ebibi byabwe mu lwatu ne baatula n’ebikolwa byabwe.
19 Many who had practiced sorcery brought their scrolls together and burned them before everyone. They added up the price and found it worth 50,000 days' wages. Abamu abaali abalogo ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokya ng’abantu bonna balaba. Bwe baabalirira omuwendo gw’ensimbi mu bitabo ebyayokebwa, nga guwera nga siringi emitwalo kkumi.
20 So the word of the Lord Jesus continued to grow mightily and prevail. Awo ekigambo kya Mukama ne kyeyongera okubuna mu maanyi n’okunywera.
21 When this was done, Paul decided in his spirit to go through Macedonia and Achaia to Jerusalem, saying, "After I've been there, I must see Rome too." Oluvannyuma lw’ebyo okutuukirira Pawulo n’alowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ng’ayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. N’agamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.”
22 He sent two of his assistants, Timothy and Erastus, to Macedonia, while staying in Asia himself a while longer. N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.
23 About that time there arose a serious disturbance concerning the Way. Mu kiseera ekyo ne wabaawo akasasamalo ak’amaanyi ku bigambo by’ekkubo.
24 For a man named Demetrius, a silversmith who made silver shrines of Artemis, kept many craftsmen busy. Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga y’akola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi.
25 He gathered them and workers in similar trades and said, "Men, you know our wealth comes from this trade. Awo Demeteriyo n’ayita abakozi be bonna wamu n’abo abakola emirimu egikwatagana n’egigye, ne bakuba olukuŋŋaana. N’alyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga.
26 You see and hear that this Paul has persuaded and turned away a great many people—not only in Ephesus but nearly all of Asia—telling them gods made by hands aren't gods at all. Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda.
27 The risk isn't just that our trade loses its good name, but that the temple of the great goddess Artemis will count for nothing, and she, worshiped by all Asia and the world, will be stripped of her greatness." Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”
28 Hearing this, they were enraged and shouted, "Great is Artemis of the Ephesians!" Awo bwe baawulira ebyo, ne basunguwala, ne batandika okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!”
29 The city filled with confusion; together they rushed into the theater, dragging along Gaius and Aristarchus, Macedonians, Paul's traveling companions. Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese.
30 When Paul wanted to go in among the crowd, the disciples would not let him. Pawulo n’ayagala naye okuyingira mu kibiina, kyokka abayigirizwa ne batamukkiriza.
31 Even some officials of the province, his friends, sent word urging him not to risk entering the theater. N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.
32 Meanwhile some shouted one thing, others another—the assembly was in confusion, and most didn't know why they'd gathered. Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza.
33 Some in the crowd coached Alexander, whom the Jews pushed forward; motioning with his hand, he wanted to defend himself before the people. Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba.
34 Realizing he was a Jew, they shouted as one for about two hours, "Great is Artemis of the Ephesians!" Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.
35 When the town clerk had quieted the crowd, he said, "Men of Ephesus, who doesn't know the Ephesians' city is temple keeper of the great Artemis and of the image that fell from heaven? Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu.
36 Since these things cannot be denied, you ought to keep calm and do nothing rash. Olw’okubanga ebyo tewali abiwakanya, temusaana kwecanga olw’ebyo ebyogerwa, era temusaana kwanguyiriza kukola kya bulabe.
37 For you have brought these men here who are neither temple robbers nor blasphemers of our goddess. Kale muleese wano abasajja bano abatabbye kintu kya Atemi n’ekimu, wadde okumunyoomoola.
38 So if Demetrius and his fellow craftsmen have a charge against anyone, courts are in session and proconsuls are available—let them accuse each other there. Obanga Demeteriyo n’abakozi be balina ensonga ze bavunaana abasajja bano, embuga z’amateeka weeziri era abalamuzi bajja kuyingira mangu mu nsonga zaabwe. Kirungi bakwate amakubo amatongole.
39 But if you are seeking anything further, it will be settled in the regular assembly. Obanga waliwo abeemulugunya ku nsonga endala, ebyo biyinza okutereezebwa mu Lukiiko lw’Ekibuga olwa bulijjo.
40 We risk being charged with today's riot, since we have no reason to justify this uproar." Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.”
41 And when he had said this, he dismissed the assembly. Awo n’abasiibula, ne basaasaana.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]