Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After the uproar ended, Paul sent for the disciples, encouraged them, said goodbye, and left for Macedonia. Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya.
2 When he had passed through those regions and given the believers much encouragement, he came to Greece. N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani,
3 He stayed three months; when the Jews plotted against him as he was about to sail for Syria, he decided to return through Macedonia. n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita.
4 Sopater son of Pyrrhus of Berea, Aristarchus and Secundus of Thessalonica, Gaius of Derbe, Timothy, and Tychicus and Trophimus of Asia accompanied him. Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo.
5 These went on ahead and were waiting for us at Troas. Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa.
6 We sailed from Philippi after the days of Unleavened Bread, reaching them at Troas in five days and staying there seven days. Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
7 On the first day of the week, when we gathered to break bread, Paul talked with them; planning to leave the next day, he kept talking until midnight. Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera!
8 There were many lamps in the upper room where we were gathered. Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka.
9 A young man named Eutychus sat in the window, sinking into deep sleep as Paul kept talking. Overcome by sleep, he fell from the third story and was picked up dead. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo.
10 Paul went down, bent over him, and embracing him said, "Don't be alarmed; his life is in him." Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!”
11 He went back up, broke bread, ate, and talked with them a long time, until daybreak, then left. Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda.
12 And they brought the young man home alive, and were greatly comforted. Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.
13 We went ahead by ship to Assos, planning to take Paul aboard; he had chosen to go by land. Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu.
14 And when he met us at Assos, we took him on board and came to Mitylene. Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene.
15 Sailing from there, we came opposite Chios the next day, put in at Samos the day after, and reached Miletus the following day. Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto.
16 Paul had decided to sail past Ephesus, avoiding time in Asia; he was hurrying to reach Jerusalem, if possible, by Pentecost. Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
17 From Miletus he sent to Ephesus and called the elders of the church to come to him. Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe.
18 When they came, he said, "You know how I lived among you the whole time, from the first day I set foot in Asia, Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero,
19 serving our Lord Jesus with complete humility, tears, and trials brought on by the Jews' plots against me, nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya.
20 how I held nothing back that would help you, but declared it and taught you publicly and house to house, Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe,
21 testifying to both Jews and Greeks: repentance toward our Father and faith in our Lord Jesus. nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.
22 Now bound by the Spirit, I'm heading to Jerusalem, not knowing what awaits me there, “Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo.
23 except the Holy Spirit tells me in every city that chains and sufferings await me. Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga.
24 But I place no value on my life, nor treasure it for myself, only that I finish my course and the ministry I received from our Lord Jesus, testifying to the gospel of our Father's grace. Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.
25 And now I know none of you among whom I went preaching the kingdom of our Father will see my face again. “Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka.
26 Therefore I testify to you this day that I am innocent of the blood of all, Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna,
27 for I did not shrink from declaring to you the whole purpose of our Father. kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda.
28 Watch yourselves and all the flock the Holy Spirit made you overseers of, to shepherd our Father's church, which he purchased with the blood of his own Son. Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe.
29 I know that after my departure fierce wolves will come in among you, not sparing the flock. Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo.
30 Men from among you will rise, speaking distorted things, to draw the disciples away after them. Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga.
31 So watch, remembering that for three years, night and day, I never stopped warning each one of you with tears. Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
32 Now I entrust you to our Father and to the word of his grace, able to build you up and give you the inheritance among all who are made holy. “Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa.
33 I coveted no one's silver or gold or clothing. Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu.
34 You yourselves know that these hands provided for my needs and for those who were with me. Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo.
35 In everything I showed you that, working hard this way, we must help the weak, remembering the words of our Lord Jesus, that he himself said, It is more blessed to give than to receive." Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
36 And when he had said these things, he knelt down with them all and prayed. Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna.
37 They all wept; they embraced Paul and kissed him, Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula,
38 grieving most over his words—that they'd never see his face again—they walked him to the ship. nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]