Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Having torn ourselves away from them, we set sail and went straight to Cos, then the next day to Rhodes, then from there to Patara. Awo bwe twamala okusiibulagana ne tuseeyeeya butereevu okutuuka e Koosi. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Rodise, we twava okulaga e Patala.
2 Finding a ship crossing over to Phoenicia, we went aboard and set sail. Okuva awo twagendera mu kyombo ekyali kigenda mu Foyiniikiya.
3 Sighting Cyprus and leaving it on our left, we sailed to Syria and landed at Tyre, where the ship was to unload its cargo. Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu.
4 We found the disciples there and stayed seven days. Through the Holy Spirit they kept telling Paul not to set foot in Jerusalem. Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.
5 When our time there was up, we left and went on, all of them with wives and children walking with us out of the city. We knelt on the beach and prayed, Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba.
6 and said farewell to one another. Then we went aboard the ship, and they returned home. Bwe twamala okusaba ne tusiibulagana. Ffe ne tuyingira ekyombo kyaffe, ne bannaffe ne baddayo ewaabwe.
7 Finishing our voyage from Tyre, we arrived at Ptolemais, greeted the brothers, and stayed one day with them. Bwe twava e Ttuulo ne tugoba e Potolemaayi, ne tulamusaganya n’abakkiriza, ne tumala nabo olunaku lumu.
8 The next day we left for Caesarea and entered the house of Philip the evangelist, one of the seven, and stayed with him. Enkeera ne tweyongerayo okutuuka e Kayisaliya, ne tubeera mu maka ga Firipo Omubuulizi w’Enjiri, eyali omu ku badiikoni omusanvu abaasooka.
9 He had four unmarried daughters who prophesied. Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.
10 While we were staying there for many days, a prophet named Agabus came down from Judea. Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya.
11 He came to us, took Paul's belt, tied his own feet and hands, and said, "The Holy Spirit says this: the Jews in Jerusalem will tie up this belt's owner the same way, then hand him over into Gentile hands." Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”
12 When we heard this, we and the local people begged Paul not to go up to Jerusalem. Bwe twawulira ebigambo ebyo ffenna awamu n’abatuuze b’omu kitundu ekyo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.
13 Paul answered, "Why weep and break my heart? I'm ready not only to be bound but to die in Jerusalem for the name of the Lord Jesus." Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
14 And since he would not be persuaded, we fell silent and said, "The Lord's will be done." Bwe twalaba nga tekisoboka kumukkirizisa butagenda, ne tubivaako, ne tugamba nti, “Mukama ky’ayagala kye kiba kikolebwa.”
15 After these days we got ready and went up to Jerusalem. Bwe waayitawo ennaku ntono ne tusiba ebintu byaffe, ne tusitula okulaga mu Yerusaalemi.
16 Some disciples from Caesarea also went with us, bringing us to stay with Mnason, a Cypriot and early disciple. Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza.
17 When we arrived in Jerusalem, the brothers welcomed us gladly. Bwe twatuuka mu Yerusaalemi abooluganda ne batwaniriza n’essanyu lingi nnyo.
18 On the following day Paul went with us to see James, and all the elders were present. Awo enkeera ffenna ne tugenda ne Pawulo ng’agenda okulaba Yakobo, n’abakadde b’Ekkanisa y’omu Yerusaalemi bonna baaliwo.
19 He greeted them, then related one by one what our Father had done among the Gentiles through his ministry. Okulamusaganya bwe kwaggwa, Pawulo n’abategeeza kinnakimu byonna Katonda bye yamukozesa ng’aweereza mu baamawanga.
20 Hearing this, they praised our Father, then told him, "You see, brother, how many thousands of Jews have believed, and all are passionate for the law. Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya.
21 They were told you teach all Jews among the nations to abandon Moses, telling them not to circumcise their children or follow our customs. Baategeezebwa nti oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu Bamawanga okuleka amateeka ga Musa baleme okukomola abaana baabwe wadde okugoberera empisa z’Ekiyudaaya.
22 So what should we do? They will certainly hear that you have come. Kale kaakano kiki ekinaakolebwa? Kubanga awatali kubuusabuusa bajja kutegeera nti ozze.
23 So do what we tell you. We have four men who are under a vow. Kale waliwo wano abasajja bana abali ku kirayiro, abateekateeka okumwa emitwe gyabwe nga beerongoosa.
24 Take these men, purify yourself with them, and pay their expenses so they may shave their heads. Then everyone will know the reports about you are false, and that you yourself keep the law. Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa.
25 As for the Gentiles who have believed, we already wrote our decision: avoid food offered to idols, blood, strangled animals, and sexual immorality." Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”
26 So Paul took the men, and the next day, having purified himself with them, entered the temple, announcing when the purification days would end and the offering would be made for each of them. Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.
27 As the seven days were ending, Jews from Asia saw him in the temple, stirred up the whole crowd, and grabbed him, Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo
28 shouting, "Men of Israel, help! This is the man teaching everyone everywhere against our people, the law, and this place. He's even brought Greeks into the temple, making this holy place unclean." nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.”
29 They had earlier seen Trophimus the Ephesian with Paul in the city and assumed Paul had brought Trophimus into the temple. Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.
30 The whole city was stirred; people ran together, seized Paul, dragged him out of the temple, and at once the gates were shut. Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.
31 As they tried to kill him, word reached the cohort commander that all Jerusalem was in turmoil. Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo.
32 He immediately took soldiers and centurions and ran down to them. Seeing the commander and soldiers, the crowd stopped beating Paul. Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.
33 The commander came, seized him, ordered him bound with two chains, then asked who he was and what he'd done. Awo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?”
34 In the crowd some shouted one thing, some another. Unable to learn what was true because of the uproar, he ordered Paul brought into the barracks. Ne bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale.
35 When Paul reached the steps, soldiers had to carry him because of the crowd's violence, Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo.
36 for the mob kept following, shouting, "Away with him!" Ekibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”
37 As Paul was about to be led into the barracks, he asked the commander, "May I say something to you?" He replied, "Do you know Greek?" Awo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, n’asaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?” N’amuddamu nti, “Omanyi n’Oluyonaani?
38 Aren't you the Egyptian who stirred up a revolt earlier and led 4,000 Assassins into the wilderness? Ye si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, n’okulembera abatemu enkumi nnya n’obalaza mu ddungu?”
39 Paul answered, "I am a Jew, from Tarsus in Cilicia, a citizen of no insignificant city. I beg you, let me speak to the people." Pawulo n’addamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere n’abantu bano.”
40 With permission granted, Paul stood on the steps and motioned to the people with his hand. When deep silence fell, he spoke to them in Hebrew: Awo omuduumizi w’abaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’akoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, n’alyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ng’abagamba nti:
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]