Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Brothers and fathers, listen now to my defense before you." “Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.”
2 When they heard him speaking to them in Hebrew, they grew even more quiet. And he said: Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala.
3 "I am a Jew, born in Tarsus of Cilicia, raised in this city, trained at Gamaliel's feet in the strict law of our ancestors, as eager for God as all of you are today. Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero.
4 I persecuted this Way to the death, binding and delivering to prison both men and women, Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera.
5 as the high priest and the whole council of elders can testify. From them I received letters to the brothers in Damascus, and went to bring those there as prisoners to Jerusalem for punishment." Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
6 "Traveling and nearing Damascus about noon, a great light from heaven suddenly flashed around me." “Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola.
7 I fell to the ground and heard a voice say to me, "Saul, Saul, why are you persecuting me?" Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
8 I answered, "Who are you, Lord?" He replied, "I am Jesus of Nazareth, whom you're persecuting." “Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’ “N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’
9 "Those with me saw the light but didn't understand the voice of the one speaking to me." Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.
10 I said, "What should I do, Lord?" The Lord replied, "Get up and go into Damascus. There you'll be told all you've been appointed to do." “Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’ “Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’
11 "Since that light's brightness blinded me, my companions led me by the hand into Damascus." Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.
12 "A man named Ananias, devout by the law, well spoken of by all the Jews living there, “Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa,
13 came and stood by me and said, 'Brother Saul, receive your sight.' At that very hour I looked up and saw him." n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!
14 "He said, 'The God of our fathers appointed you to know his will, to see the Righteous One, and to hear a voice from his mouth; “Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke.
15 for you will be his witness to everyone of what you have seen and heard. Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde.
16 And now, why wait? Get up, be baptized, wash away your sins, calling on his name." Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
17 "When I had returned to Jerusalem and was praying in the temple, I fell into a trance," “Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase,
18 and saw him saying to me, "Hurry and leave Jerusalem quickly, because they won't accept your testimony about me." ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’
19 I said, "Lord, they themselves know that I went from synagogue to synagogue imprisoning and beating those who believed in you. “Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera.
20 When the blood of your witness Stephen was being shed, I stood by, approving and guarding the cloaks of those killing him.'" Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’
21 "And he said to me, 'Go, for I will send you far away to the Gentiles.'" “Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ”
22 Up to that point they listened, then they raised their voices and shouted, "Erase such a man from the earth! He shouldn't be allowed to live!" Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!”
23 And as they were shouting and throwing off their cloaks and flinging dust into the air, Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga.
24 the commander ordered him taken into the barracks and whipped, to learn why they were shouting against him like this. Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana.
25 As they stretched him out for the straps, Paul said to the centurion standing there, "Is it legal for you to whip a Roman citizen who hasn't been condemned?" Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
26 Hearing this, the centurion went to the commander and reported it: "What are you about to do? This man is a Roman citizen." Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
27 So the commander came and asked, "Tell me, are you a Roman citizen?" "Yes," he said. Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?” Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
28 The commander said, "I paid a large sum for this citizenship." But Paul said, "I was born a citizen." Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.” Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
29 So those about to question him withdrew at once; the commander was afraid, realizing he had bound a Roman citizen. Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
30 The next day, wanting to know exactly why the Jews accused him, the commander freed Paul, ordered the chief priests and the whole council to assemble, brought Paul down, and set him before them. Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]