Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul stared at the council: "Brothers, I have lived my life before our Father in all good conscience until today." Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.”
2 The high priest Ananias ordered those standing near him to strike Paul on the mouth. Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa.
3 Paul said to him, "Our Father will strike you, you whitewashed wall! You sit there to judge me by the law, yet you break the law by ordering me struck?" Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
4 Those standing nearby said, "Do you dare to insult our Father's high priest?" Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”
5 Paul said, "Brothers, I didn't know he was high priest; for Scripture says, 'Don't speak evil of your people's ruler.'" Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
6 Paul, knowing some were Sadducees, others Pharisees, cried out in the council, "Brothers, I am a Pharisee, son of Pharisees. I am on trial over the hope and resurrection of the dead!" Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!”
7 When he said this, a dispute arose between the Pharisees and Sadducees, and the assembly was split. Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo,
8 For the Sadducees say there is no resurrection, and neither angel nor spirit, but the Pharisees acknowledge them all. kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
9 A loud uproar broke out. Some scribes from the Pharisees' side stood and argued sharply: "We find nothing wrong in this man. What if a spirit or an angel spoke to him?" Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?”
10 As the dispute grew violent, the commander, fearing Paul would be torn apart by them, ordered the soldiers to go down, seize him from among them, and bring him into the barracks. Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
11 The next night our Lord Jesus stood beside him and said, "Take courage! As you testified about me in Jerusalem, so you must testify in Rome too." Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
12 At daybreak the Jews conspired and swore not to eat or drink until they killed Paul. Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!
13 There were more than forty who had joined in this plot. Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana.
14 They went to the chief priests and elders and said, "We have bound ourselves under a solemn oath to taste nothing until we kill Paul. Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo.
15 So now, you and the council, ask the commander to bring him down to you, as if to examine his case more closely. We're ready to kill him before he arrives." Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”
16 But Paul's sister's son, hearing of the ambush, went and entered the barracks and told Paul. Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.
17 Paul called a centurion and said, "Take this young man to the commander—he has something to report." Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.”
18 So he took him to the commander and said, "The prisoner Paul called me and asked me to bring this young man to you; he has something to tell you." Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”
19 The commander took his hand, led him aside privately, and asked, "What do you have to tell me?" Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”
20 He said, "The Jews have agreed to ask you to bring Paul down to the council tomorrow, pretending to inquire more precisely about him. Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako.
21 Don't listen to them—more than forty of their men are waiting in ambush for him. They've bound themselves by oath not to eat or drink until they kill him, and now they're ready, waiting for your agreement." Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
22 The commander sent the young man off, ordering him, "Tell no one you reported this to me." Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
23 Then he called two centurions: "Ready 200 soldiers for Caesarea, and seventy horsemen, and 200 spearmen, by nine tonight." Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu.
24 He told them to provide mounts for Paul, to bring him safely to Governor Felix. Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”
25 And he wrote a letter that read as follows:" Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:
26 "Claudius Lysias, to his Excellency Governor Felix: Greetings. Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.
27 The Jews seized this man and were about to kill him when I came with my troops and rescued him, having learned he was a Roman citizen. Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.
28 Wanting to know the charge they were bringing against him, I brought him down to their council. Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze.
29 I found him accused over questions of their law, with no charge deserving death or imprisonment. Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera.
30 Told of a plot against the man, I sent him to you at once, also ordering his accusers to state their case against him before you." Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
31 So the soldiers, following their orders, took Paul and brought him by night to Antipatris. Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli.
32 The next day they let the horsemen go on with him while they returned to the barracks. Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe.
33 The horsemen reached Caesarea, delivered the letter to the governor, and presented Paul to him. Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo.
34 After reading it, the governor asked what province he was from, and learned he was from Cilicia, Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.”
35 "I'll hear you," he said, "once your accusers arrive." He ordered him held under guard in Herod's headquarters. Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]