Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Five days later the high priest Ananias came down with some elders and a lawyer, Tertullus, and they brought charges against Paul before the governor. Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo.
2 When Paul was summoned, Tertullus began his accusation: "Through you we enjoy great peace, and reforms have come to this nation through your foresight, Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go.
3 we acknowledge this in every way and everywhere, most excellent Felix, with all gratitude. Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde.
4 But so as not to detain you any further, I ask you to hear us kindly, in a few words. Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.
5 We found this man a plague, stirring up riots among all the Jews worldwide, and a ringleader of the Nazarene sect. “Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo.
6 He even tried to desecrate the temple, so we seized him. N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira,
7 Not in this edition naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi,
8 By examining him yourself, you can learn all we accuse him of." n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”
9 The Jews also joined in the attack, insisting that these things were so. Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.
10 The governor motioned him to speak. Paul answered: "Knowing you've judged this nation for many years, I gladly defend myself. Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go.
11 You can confirm it's no more than twelve days since I went up to worship in Jerusalem. Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu.
12 They found me arguing with no one, stirring up no crowd—not in the temple, the synagogues, or anywhere in the city. Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga.
13 Nor can they prove to you the charges they are now bringing against me. Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola.
14 But I confess to you: following the Way—they call it a sect—I worship the God of our ancestors, believing all that agrees with the Law and is written in the Prophets. Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi.
15 I have hope in our Father—one these men also hold—that the righteous and unrighteous alike will rise. Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi.
16 So I always strive to keep my conscience clear before our Father and before people. Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.
17 After several years I came to bring charitable gifts for my nation's poor, and offerings. “Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu.
18 Amid this, they found me purified in the temple—no crowd, no uproar. Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo.
19 Some Jews from Asia should be here before you to accuse, if they have anything against me. Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana.
20 Or let these men themselves say what wrongdoing they found when I stood before the council, Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo.
21 except this one thing I shouted standing among them: 'It's over the resurrection of the dead that I'm on trial before you today.'" Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”
22 Felix, who knew the Way fairly well, adjourned the hearing: "When Lysias the commander arrives, I will decide your case." Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.”
23 He ordered the centurion to guard Paul but allow him some freedom, not stopping any of his friends from serving him. N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.
24 Some days later, Felix came with his wife Drusilla, a Jew, sent for Paul, and heard him about faith in Christ Jesus. Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu.
25 As Paul discussed righteousness, self-control, and the coming judgment, Felix grew frightened and said, "That's enough for now; go. When I find time, I'll call for you." Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.”
26 He also hoped Paul would give him money, so he sent for him often and talked with him. Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.
27 After two years, Porcius Festus succeeded Felix. Wanting to please the Jews, Felix left Paul in prison. Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]