Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now three days after Festus had arrived in the province, he went up to Jerusalem from Caesarea. Fesuto yamala ennaku ssatu mu Kayisaliya ng’azze okutandika emirimu gye emiggya, n’asitula okugenda e Yerusaalemi.
2 There the chief priests and Jewish leaders presented their case against Paul and kept urging him, Bwe yali ali eyo, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bamutegeeza bye baali bavunaana Pawulo.
3 requesting a favor against him—that he summon Paul to Jerusalem. They were setting an ambush to kill him on the road. Ne bamwegayirira abayambe atumye Pawulo aleetebwe mu Yerusaalemi, kubanga baali bategeka bamuttire mu kkubo.
4 Festus replied that Paul was held at Caesarea, and he himself would leave shortly. Naye Fesuto n’abaddamu nti, “Nga Pawulo bw’ali mu Kayisaliya, ate nga nange nzija kuddayo mu nnaku ntono,
5 "So," he said, "let those among you who are able go down with me and accuse the man, if there is anything wrong with him." abakulembeze mu nsonga ezo tugende nabo nga nzirayo.” Obanga waliwo omusango Pawulo gw’azizza baguleete mu mbuga z’amateeka awozesebwe.
6 Festus stayed with them no more than eight or ten days, then went down to Caesarea. The next day he took the judge's seat and ordered Paul brought in. Oluvannyuma lw’ennaku nga munaana oba kkumi, Fesuto n’aserengeta mu Kayisaliya, era bwe yatuuka, enkeera n’alagira Pawulo aleetebwe mu mbuga z’amateeka.
7 When Paul arrived, the Jews from Jerusalem surrounded him, bringing many serious charges they couldn't prove. Awo Pawulo bwe yaleetebwa, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy’amaanyi bamuvunaane kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu bwagyo.
8 Paul answered in his defense: "I have done no wrong against the Jewish law, the temple, or Caesar." Pawulo n’awoza ng’agamba nti, “Simenyanga mateeka ga Kiyudaaya n’akamu, era siyonoonanga Yeekaalu, so sijeemeranga Kayisaali.”
9 But Festus, wanting to please the Jews, asked Paul, "Will you go up to Jerusalem and be tried there before me on these charges?" Fesuto, olw’okwagala okusanyusa Abayudaaya, n’abuuza Pawulo nti, “Oyagala okugenda e Yerusaalemi gy’oba owoleza emisango gino mu maaso gange?”
10 Paul said, "I stand before Caesar's tribunal, where I must be judged. I've done the Jews no wrong, as you yourself know very well. Awo Pawulo n’addamu nti, “Kaakano nyimiridde mu maaso g’embuga ya Kayisaali era we nteekwa okuwozesebwa. Naawe omanyidde ddala bulungi nga bwe sirina musango gwonna gwe nazza ku Bayudaaya.
11 If I've done wrong, done something deserving death, I won't refuse to die. But if these men's charges against me are groundless, no one can hand me over to them. I appeal to Caesar." Naye obanga waliwo omusango gwe nazza, ne gunsaanyiza okufa, nange sigaana kufa! Naye obanga siriiko musango, ng’emisango gyonna Abayudaaya bano gye bankakaatikako gya bulimba bwereere, ggwe tolina kw’osinziira wadde omuntu omulala yenna, okumpaayo gye bali okunzita. Njulidde eri Kayisaali.”
12 After consulting his council, Festus answered, "You appealed to Caesar; to Caesar you will go." Fesuto, bwe yamala okuteesaamu n’abamuwa amagezi, n’addamu nti, “Nga bw’ojulidde ewa Kayisaali, kale, onootwalibwa ewa Kayisaali.”
13 Some days later, King Agrippa and Bernice came to Caesarea and greeted Festus. Awo bwe waayitawo ennaku Kabaka Agulipa ne Berenike ne batuuka mu Kayisaliya okukyalira Fesuto.
14 As they spent many days there, Festus presented Paul's case to the king: "Felix left a man here as a prisoner. Ku bugenyi baamalako ennaku nnyingi, era mu bbanga eryo Fesuto n’ategeeza kabaka eby’omusango gwa Pawulo. N’amugamba nti, “Waliwo omusajja wano Ferikisi gwe yaleka mu kkomera nga musibe.
15 While I was in Jerusalem, the chief priests and elders of the Jews accused him, asking me for his conviction. Bwe nnali mu Yerusaalemi, bakabona ne bantegeeza emisango gye baali bamuvunaana, ne bansaba musalire omusango gumusinge era abonerezebwe.
16 I told them it's not Roman custom to hand over anyone before the accused faces his accusers in person and gets a chance to defend himself against the charge. “Ne mbannyonnyola nti mu mateeka g’Ekiruumi, omuntu tasalirwa musango kumusinga nga tamaze kuwozesebwa n’aweebwa omukisa okuwoza n’abamuwawaabira.
17 So when they gathered here, I delayed nothing—next day I sat on the judgment seat and ordered the man brought in. Bwe bajja wano okuwoza omusango ogwo, enkeera ne mpita Pawulo n’ajja mu mbuga z’amateeka.
18 When his accusers stood up, they raised none of the criminal charges I had expected. Naye emisango gye baamuwawaabira si gye gyo gye nnali nsuubira.
19 Instead, they had some disputes with him about their own religion and a dead man named Jesus, whom Paul kept claiming was alive. Gyali gikwata ku bya ddiini yaabwe, ne ku muntu ayitibwa Yesu eyafa, naye Pawulo gw’ategeeza abantu nti mulamu!
20 Unsure how to investigate this, I asked if he was willing to go to Jerusalem and be tried there on these charges. Ebyo ne binnemesa. Kwe ku mubuuza obanga yandyagadde emisango egyo okugiwoleza mu Yerusaalemi.
21 But since Paul appealed to be held for the Emperor's decision, I ordered him held until I could send him to Caesar." Naye Pawulo n’ajulira eri Kayisaali! Bwe ntyo ne mmuzzaayo mu kkomera, nteeketeeke okumuweereza eri Kayisaali.”
22 Agrippa told Festus, "I'd like to hear the man myself." "Tomorrow," Festus said, "you will hear him." Agulipa n’agamba nti, “Nange nandiyagadde okuwulira ku musajja ono by’agamba.” Fesuto n’addamu nti, “Enkya onoomuwulira.”
23 The next day Agrippa and Bernice arrived with great show and entered the hall with the military commanders and the city's prominent men. On Festus's order, Paul was brought in. Awo ku lunaku olwaddirira Agulipa ne Berenike ne bayingira n’ekitiibwa kinene nnyo mu kisenge ekinene we batuukira, nga bawerekerwako abaserikale n’abantu abatutumufu mu kibuga. Fesuto n’alagira ne baleeta Pawulo.
24 Festus said, "King Agrippa, and all here with us—you see this man. The whole Jewish community petitioned me about him, both in Jerusalem and here, shouting he must not live any longer. Fesuto n’alyoka agamba nti, “Kabaka Agulipa, nammwe mwenna abali wano ono ye musajja, Abayudaaya aba kuno n’abo ab’omu Yerusaalemi, gwe bansabye attibwe!
25 But finding nothing deserving death, and since he himself appealed to the Emperor, I decided to send him. Nze nga bwe ndaba, talina ky’akoze kimusaanyiza kufa. Naye bwe yajulira eri Kayisaali, nange kwe kusalawo okumuweereza e Ruumi.
26 I have nothing definite to write my lord about him, so I brought him before you all, especially before you, King Agrippa, so that after this examination I may have something to write. Naye bye nnassa mu bbaluwa emutwala eri Kayisaali nange bimbuze, kubanga taliiko musango gwennyini gwe yazza! Kyenvudde muleeta mu maaso gammwe mwenna, n’okusingira ddala gy’oli, Kabaka Agulipa, nga neesiga ng’okuva mu ebyo bye munaamubuuza, naye by’anaddamu, nzija kufunamu bye nnassa mu bbaluwa ya Kayisaali.
27 For it seems unreasonable to me to send a prisoner without indicating the charges against him." Kubanga sirowooza nti kirungi okuweereza omusibe eri Kayisaali ng’omusango gw’azizza tegunnyonnyose.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]