Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Acts 26 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Agrippa told Paul, "You may speak for yourself." Then Paul stretched out his hand and began his defense. Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n’agolola omukono gwe, n’awoza nti,
2 King Agrippa, I count myself fortunate to defend myself before you today against all the Jews' accusations, “Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana,
3 especially since you know all Jewish customs and disputes well, so I ask you to hear me out patiently. kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.
4 All Jews know my life from youth, spent from the start among my own nation and in Jerusalem. “Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi.
5 They've long known me, and if willing to testify, that according to our religion's strictest sect I lived as a Pharisee. Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina eky’Abafalisaayo, eky’omu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga ey’Ekiyudaaya.
6 And now I stand on trial for hope in the promise our Father made to our fathers. Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe,
7 Our twelve tribes hope to reach this promise, worshiping him fervently night and day. For this hope, king, I am accused by the Jews. ebika byaffe ekkumi n’ebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana n’ekiro; era olw’essuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana.
8 Why is it judged incredible by any of you that our Father raises the dead? Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?
9 I myself thought I must do many things against the name of Jesus of Nazareth. “Nze ku lwange nalowooza nti kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, n’obukambwe bungi.
10 That's what I did in Jerusalem: with authority from the chief priests, I locked many of the holy ones in prison, and voted against them when they were being put to death. Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira.
11 In every synagogue I often punished them, trying to force them to speak against God; enraged against them, I hunted them even to foreign cities. Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.
12 On one such journey I went to Damascus with authority and commission from the chief priests. “Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu,
13 At midday, O king, I saw on the road a light from heaven, brighter than the sun, blazing around me and my fellow travelers. nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga eky’enjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo.
14 We all fell to the ground, and I heard a voice speaking to me in Hebrew: 'Saul, Saul, why are you persecuting me? It's hard for you to kick against the goads.' Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’
15 I asked, 'Who are you, Lord?' The Lord said, 'I am Jesus, whom you are persecuting.' Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’addamu nti, ‘Nze Yesu, gw’oyigganya.
16 But get up, stand on your feet—I appeared to you for this reason: to appoint you a servant and witness both of what you have seen of me and of what I will yet appear to you, Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga.
17 rescuing you from your people and from the Gentiles—to whom I am sending you, Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma
18 to open their eyes, so they turn from darkness to light and from Satan's power to our Father, and receive forgiveness of sins and a place among those made holy by faith in me.' okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’
19 Therefore, King Agrippa, I was not disobedient to the heavenly vision, “Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu,
20 but I declared first to those in Damascus, then in Jerusalem and all the region of Judea, and to the Gentiles too, to repent and turn to our Father, doing deeds that match their repentance. naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira.
21 For this reason the Jews seized me in the temple and tried to kill me. Eyo y’ensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako n’okunzita.
22 With help from our Father, I stand to this day testifying to both small and great, saying nothing beyond what the prophets and Moses said would happen: Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja
23 that the Christ must suffer, and, first to rise from the dead, proclaim light to both our people and the Gentiles. nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”
24 As Paul defended himself, Festus shouted, "Paul, you're insane! Your vast learning is driving you mad." Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”
25 But Paul said, "I'm not insane, most excellent Festus; I speak words of truth and sound judgment. Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima.
26 The king knows these things—I speak to him freely. I'm sure none of this escaped him, since it wasn't done in a corner. Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso!
27 King Agrippa, do you believe the prophets? I know that you believe." Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”
28 Agrippa said, "So quickly you'd persuade me to be a Christian?" Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?”
29 Paul said, "Whether short or long, I pray to our Father that not only you but all who hear me today might become as I am—except these chains." Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
30 Then the king rose, and the governor and Bernice and those seated with them. Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma.
31 As they left, they told each other, "This man deserves neither death nor imprisonment." Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”
32 Agrippa told Festus, "This man could have been freed if he hadn't appealed to Caesar." Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]