Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 27 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jotham was twenty-five when he became king; he reigned sixteen years in Jerusalem. His mother was Jerushah, daughter of Zadok. Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyaka kkumi na mukaaga. Nnyina ye yali Yerusa muwala wa Zadooki.
2 He did right in the eyes of our Father, as his father Uzziah had done—except he did not enter the temple of our Father. Yet the people still acted wrongfully. Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama.
3 He built the Upper Gate of our Father's house, and built much on Ophel's wall. N’addaabiriza Omulyango ogw’Ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate era n’akola omulimu munene ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Oferi.
4 He built cities in Judah's highlands, and in the forests he built forts and towers. N’azimba n’ebibuga mu nsozi za Yuda, ate mu bibira n’azimbamu ebigo n’asimbamu n’eminaala.
5 He fought the king of the Ammonites and defeated them. That year the Ammonites gave him 7,500 pounds of silver, 50,000 bushels of wheat, and 50,000 of barley—the same in the second and third years. Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.
6 So Jotham grew strong, because he kept his conduct right before his Father. Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.
7 The rest of Jotham's acts, all his wars and deeds, are written in the Book of the Kings of Israel and Judah. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.
8 He was twenty-five years old when he became king, and he reigned sixteen years in Jerusalem. Yosamu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi.
9 Jotham rested with his ancestors; they buried him in the city of David, and his son Ahaz reigned in his place. Ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi; Akazi mutabani we n’amusikira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]