Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 28 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Ahaz became king at twenty; he reigned sixteen years in Jerusalem. He did not do right in our Father's eyes, as his ancestor David had. Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
2 Instead, he walked in the ways of Israel's kings and cast metal idols for the Baals. N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali.
3 He burned incense in Ben-Hinnom Valley and burned his sons in fire, copying detestable practices of the nations our Father drove out before Israel. N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
4 He sacrificed and burned incense on the high places, the hills, and under every leafy tree. N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
5 So our Father gave him to Aram's king, who struck him, took many captives to Damascus; he was also given to Israel's king, who struck him a heavy blow. Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko. Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene.
6 Pekah son of Remaliah killed 120,000 brave men of Judah in one day, because they abandoned our Father, the God of their ancestors. Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7 Zichri, an Ephraim warrior, killed Maaseiah the king's son, Azrikam the palace commander, and Elkanah, the king's second. Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka.
8 Israel captured 200,000 relatives—women, sons, daughters—and much plunder, carrying it off to Samaria. Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.
9 Oded, a prophet of our Father, was there. He met the army returning to Samaria: "See, our Father, the God of your ancestors, was angry with Judah, so he handed them to you. But you killed them with rage reaching heaven. Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu.
10 Now you intend to enslave Judah and Jerusalem's people, male and female. Aren't you yourselves guilty of sins against your Father? Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe?
11 Now listen: send back the relatives you captured, for our Father's fierce anger is on you." Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”
12 Some Ephraimite chiefs—Azariah son of Johanan, Berechiah son of Meshillemoth, Jehizkiah son of Shallum, Amasa son of Hadlai—opposed those coming from battle. Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo.
13 "Don't bring the captives here," they said. "You plan to add to our sins and guilt against our Father. Our guilt is already great, and fierce anger hangs over Israel." Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”
14 So the soldiers handed the captives and plunder in front of the officials, before the whole assembly. Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna.
15 The named men took the captives and clothed all the naked from the plunder. They gave them clothes and sandals, food and drink, and anointed them with oil. They set the feeble on donkeys, brought them to their fellow Israelites at Jericho, city of palms, then returned to Samaria. Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
16 At that time King Ahaz sent to the king of Assyria for help. Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe,
17 The Edomites had invaded Judah once again and carried off captives, kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe.
18 while Philistines raided Judah's lowland and Negev towns, seizing Beth-shemesh, Aijalon, Gederoth, Soco, Timnah, and Gimzo with their villages, and settled there. Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera.
19 Our Father humbled Judah because of Ahaz king of Israel, who spread wrongdoing in Judah and betrayed our Father completely. Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.
20 Tiglath-pileser king of Assyria came to Ahaz, but Tiglath-pileser brought him trouble instead of help. Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba.
21 Ahaz stripped our Father's house, the royal palace, and the officials of their treasures, giving them to Assyria's king—yet it brought him no help. Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
22 In his time of distress, this same King Ahaz became even more unfaithful to our Father. Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama.
23 He sacrificed to Damascus's gods, his defeaters, thinking, "Aram's kings' gods helped them; I'll sacrifice to them so they'll help me." But they ruined him and all Israel. N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.
24 Ahaz gathered the articles of our Father's house and cut them to pieces, shut the doors of our Father's house, and set up altars for himself at every corner in Jerusalem. Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi.
25 In every Judah town he built high places to burn offerings to other gods, angering our Father, the God of his ancestors. Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26 The rest of his deeds and all his ways, first to last, are written in the Book of the Kings of Judah and Israel. Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
27 Ahaz rested with his ancestors, buried in Jerusalem, but not in Israel's kings' tombs. His son Hezekiah reigned instead. Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]