Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 29 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Hezekiah became king at twenty-five, reigning twenty-nine years in Jerusalem. His mother: Abijah, daughter of Zechariah. Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.
2 He did right in our Father's eyes, just as his father David had done. Keezeekiya n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
3 In his reign's first year, first month, he opened the doors of our Father's house and repaired them. Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza.
4 He brought in the priests and the Levites and gathered them in the eastern square. N’ayingiza bakabona n’Abaleevi, n’abakuŋŋaanyiza mu luggya olugazi ku luuyi olw’ebuvanjuba,
5 He told them, "Hear me, Levites! Dedicate yourselves now, and dedicate our Father's house, the God of your fathers, and remove the filth from the Holy Place. n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu.
6 Our ancestors were unfaithful, doing evil in our Father's eyes; they abandoned him, turned their faces from our Father's dwelling, and turned their backs. Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega.
7 They also shut the entrance hall doors, extinguished the lamps, and did not burn incense or offer burnt offerings in the sanctuary to our Father, the God of Israel. Baggalawo n’enzigi ez’ekisasi ne bazikiza n’ettabaaza, so tebootereza bubaane wadde okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa mu watukuvu eri Katonda wa Isirayiri.
8 So our Father's anger fell on Judah and Jerusalem, making them an object of terror, horror, and scorn, as you see with your own eyes. Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe.
9 For our fathers fell by the sword; our sons, daughters, and wives are captive for this. Bajjajjaffe kyebaava bagwa n’ekitala, ate batabani baffe, ne bawala baffe ne bakyala baffe bo ne batwalibwa mu busibe.
10 Now I intend to make a covenant with our Father, the God of Israel, so his fierce anger turns from us. Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko.
11 My sons, don't be negligent now—our Father chose you to stand before him, serve him, be his servants, and burn incense." Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.”
12 The Levites stood: Kohathites—Mahath, Amasai's son, and Joel, Azariah's son; Merarites—Kish, Abdi's son, and Azariah, Jehallelel's son; Gershonites—Joah, Zimmah's son, and Eden, Joah's son; Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali: Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi, ne Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali, ne Yowa mutabani wa Zimma, ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni,
13 of the sons of Elizaphan, Shimri and Jeiel; of the sons of Asaph, Zechariah and Mattaniah; ne Simuli ne Yeyeri bazzukulu ba Erizafani, ne Zekkaliya ne Mattaniya, bazzukulu ba Asafu,
14 of the sons of Heman, Jehiel and Shimei; and of the sons of Jeduthun, Shemaiah and Uzziel. ne Yekweri ne Simeeyi, bazzukulu ba Kemani, ne Semaaya ne Wuziyeeri bazzukulu ba Yedusuni.
15 They gathered their brothers, made themselves holy, and went to clean our Father's house, as the king commanded by our Father's words. Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama.
16 The priests entered our Father's inner house to cleanse it, bringing all the impurity they found in our Father's temple out to the courtyard. The Levites carried it out to the Kidron brook. Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni.
17 They began dedicating the first day of month one; by the eighth day of that month, they reached our Father's entrance hall. They dedicated the house of our Father eight days, finishing the sixteenth day of month one. Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza.
18 Then they came in to King Hezekiah and said, "We have cleaned all of our Father's house—the altar of burnt offering with all its utensils, and the table of the Bread of the Presence with all its utensils. Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna.
19 All the utensils King Ahaz discarded during his unfaithful reign we have prepared and dedicated—they stand before our Father's altar." N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.”
20 King Hezekiah rose early, gathered the city's officials, and went up to our Father's house. Awo bwe bwakya, enkeera kabaka Keezeekiya n’akuŋŋaanya abakungu ab’omu kibuga, ne balaga mu yeekaalu ya Mukama.
21 They brought seven bulls, seven rams, seven lambs, seven male goats as a sin offering for the kingdom, sanctuary, and Judah, and he commanded Aaron's sons, the priests, to offer them on our Father's altar. Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
22 They killed the bulls; the priests took the blood and splashed it on the altar. They killed the rams and splashed the blood on the altar, then killed the lambs and splashed the blood on the altar. Awo ne batta ente ennume, bakabona ne baddira omusaayi ne bagumansira ku kyoto, oluvannyuma ne batta endiga ennume ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto, n’oluvannyuma ne batta n’endiga ento ne bamansira omusaayi gwazo ku kyoto.
23 They brought the sin-offering goats before the king and assembly, and laid their hands on them. Embuzi ennume ezaali ez’ekiweebwayo ku lw’ekibi ne zireetebwa mu maaso ga kabaka n’ekibiina, ne bazisaako emikono gyabwe,
24 The priests slaughtered them and made a sin offering with their blood on the altar to atone for all Israel, because the king had ordered the burnt offering and sin offering for all Israel. n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna.
25 He stationed the Levites in our Father's house with cymbals, harps, and lyres, as David, Gad the king's seer, and Nathan the prophet commanded—for the command came from our Father through his prophets. N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ng’ayita mu bannabbi be.
26 The Levites stood with the instruments of David, and the priests with the trumpets. Awo Abaleevi ne bayimirira nga bakutte ebivuga bya Dawudi, ne bakabona nga bakutte amakondeere.
27 Hezekiah ordered the burnt offering on the altar; when it began, the song of our Father began too, with the trumpets and the instruments of David, king of Israel. Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga.
28 The whole assembly bowed, the singers sang, the trumpeters sounded, until the burnt offering was finished. Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa.
29 When the offering ended, the king and all present with him bowed and worshiped. Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza.
30 King Hezekiah and the officials had the Levites praise our Father with words from David and Asaph the seer. They sang for joy, bowed low, and worshiped. Kabaka Keezeekiya n’abakungu ne balagira Abaleevi okuyimba nga batendereza Mukama mu bigambo bya Dawudi n’ebya Asafu omulabi. Ne bayimba nga batendereza n’essanyu, ne bavuunama ne basinza.
31 Then Hezekiah said, "You have now dedicated yourselves to our Father. Come near, bring sacrifices and thank offerings to our Father's house." So the assembly brought sacrifices and thank offerings; all willing hearts brought burnt offerings. Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32 The assembly brought seventy bulls, one hundred rams, 200 lambs—all as a burnt offering to our Father. Omuwendo gw’ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina gwe kyaleeta gwali ente ennume nsanvu, n’endiga ennume kikumi, n’endiga ento nga nnume ebikumi bibiri, ng’ebyo byonna bye byali ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
33 And the consecrated offerings were 600 bulls and 3,000 sheep. N’ensolo ezatukuzibwa okuba ssaddaaka zaali ente ennume lukaaga, n’endiga enkumi ssatu.
34 The priests were too few to skin all the burnt offerings, so their Levite brothers helped them until the work was done and until the priests made themselves holy; the Levites were more honest in heart to make themselves holy than the priests. Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona.
35 Besides the many burnt offerings, there was fat from peace offerings and drink offerings for them. So the service of our Father's house was restored. Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa. Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo.
36 Hezekiah and all the people rejoiced over what our Father prepared for them, since it happened suddenly. Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]