Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 26 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then all the people of Judah made Uzziah, sixteen years old, king in place of his father Amaziah. Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya.
2 He rebuilt Eloth and restored it to Judah after the king rested with his ancestors. N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.
3 Uzziah became king at sixteen and reigned fifty-two years in Jerusalem. His mother was Jecoliah of Jerusalem. Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi.
4 He did what was right in our Father's eyes, just as his father Amaziah had done. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola.
5 He devoted himself to seeking our Father in Zechariah's days, who taught him to fear our Father; and while he sought our Father, he prospered. N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.
6 He went out and fought the Philistines, tearing down the walls of Gath, Jabneh, and Ashdod. He built cities near Ashdod and among the Philistines. N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti.
7 Our Father helped him against the Philistines, the Arabs of Gur-baal, and the Meunites. Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu.
8 The Ammonites paid tribute to Uzziah, and his fame reached the border of Egypt, for he had grown very strong. Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.
9 Uzziah built towers in Jerusalem at the Corner Gate, the Valley Gate, and the Angle, and fortified them. Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe.
10 He built desert towers and dug many cisterns, for he had large herds in the lowlands and plain. He kept farmers and vinedressers in the hills and fertile fields, for he loved the soil. Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
11 Uzziah had an army of trained soldiers going out to war by divisions, numbered by Jeiel the secretary and Maaseiah the officer, under Hananiah, one of the king's commanders. Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka.
12 The total number of clan leaders commanding the mighty warriors was 2,600. Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600).
13 Under their command was an army of 307,500, trained to make war with great power, to help the king against his enemies. Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano (307,500), abaakuumanga kabaka.
14 Uzziah equipped the whole army with shields, spears, helmets, coats of armor, bows, and slingstones. Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo.
15 In Jerusalem he made devices invented by skilled men, set on the towers and corners to shoot arrows and hurl large stones. His fame spread far and wide, for he was helped wonderfully until he grew strong. N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
16 When Uzziah grew strong, his heart grew proud, leading to his ruin. He was unfaithful to our Father, entering the temple of our Father to burn incense on the incense altar. Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane.
17 Azariah the priest went in after him, with eighty courageous priests of our Father. Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali,
18 They confronted King Uzziah, saying, "It is not for you, Uzziah, to burn incense to our Father, but for the priests, Aaron's descendants, dedicated to burn incense. Leave the sanctuary; you have been unfaithful, and this brings you no honor from our Father." ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”
19 Uzziah became furious. With a censer in his hand to burn incense, as he raged at the priests, a defiling skin disease broke out on his forehead—there before the priests in the house of our Father, beside the altar of incense. Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna.
20 When Azariah the chief priest and all the priests turned to him and saw the disease on his forehead, they rushed him out, and he hurried to leave, because our Father had struck him. Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.
21 King Uzziah had the disease until his death. He lived in a separate house, still diseased, cut off from the house of our Father. His son Jotham ran the palace, governing the people of the land. Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga.
22 The rest of Uzziah's acts, from first to last, the prophet Isaiah son of Amoz recorded. Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi.
23 Uzziah rested with his ancestors, buried near them in a burial field belonging to the kings, for they said, "He had a skin disease." His son Jotham reigned in his place. Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]