Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 25 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Amaziah became king at twenty-five and reigned twenty-nine years in Jerusalem. His mother was Jehoaddan of Jerusalem. Amaziya yalina emyaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi.
2 He did what was right in the eyes of our Father, but not wholeheartedly. N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, naye si na mutima ogutuukiridde.
3 Once the kingdom was firmly his, he executed the servants who had killed his father the king. Obwakabaka bwe bwanywezebwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abatta kabaka kitaawe.
4 But he did not put their children to death, as written in the Law, the book of Moses, where our Father commanded, "Parents must not die for their children, nor children for their parents; each dies for his own sin." Naye n’atatta baana baabwe, wabula n’akola ng’etteeka mu kitabo kya Musa, Mukama we yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga olw’ekibi ky’abaana baabwe, so n’abaana tebattibwenga olw’ekibi ky’abazadde baabwe, naye buli muntu anaafanga olw’ekibi kye ye.”
5 Amaziah gathered Judah, organized them by ancestral houses under commanders of thousands and hundreds, for all Judah and Benjamin. He counted those twenty and up: 300,000 chosen men fit for war, handling spear and shield. Amaziya n’akuŋŋaanya abasajja ba Yuda, n’abategeka mu nnyiriri z’ennyumba zaabwe, nga baduumirwa ab’enkumi n’ab’ebikumi mu Yuda yonna ne mu Benyamini. N’oluvannyuma n’abala abo abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo, ne baba abasajja emitwalo amakumi asatu, abaali basobola okugenda mu lutalo, era nga bayinza n’okukwata effumu n’ekitala.
6 He also hired 100,000 strong warriors from Israel for about 7,500 pounds of silver. Ate era n’agulayo n’abasajja abalala ab’amaanyi nga bazira emitwalo kkumi okuva mu Isirayiri, olwa ttani ssatu ne bisatu byakuna ebya ffeeza.
7 A man of our Father came to him: "King, don't let Israel's army go with you, for our Father is not with Israel—all these Ephraimites. Naye ne wabaawo omusajja wa Katonda eyagenda gy’ali n’amugamba nti, “Ayi kabaka, tokkiriza eggye lya Isirayiri okugenda naawe, kubanga Mukama tali wamu ne Isirayiri, talina n’omu gwali naye ku bantu ba Efulayimu.
8 Even if you fight bravely, our Father will overthrow you before the enemy, for our Father has power to help or overthrow." Ate ne bw’onoogenda ng’olowooza nti oli muzira nnyo mu ntalo, Katonda alikuwaayo mu maaso g’omulabe, kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba, n’okulekerera.”
9 Amaziah asked the man of our Father, "But what about the roughly 7,500 pounds of silver I gave Israel's troops?" He replied, "Our Father can give you far more than this." Awo Amaziya n’abuuza omusajja wa Katonda nti, “Naye tunaakola tutya ku bya ttani esatu n’ebisatu byakuna ebya ffeeza ze nasasula eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda n’addamu nti, “Mukama ayinziza ddala okukuwa n’ebisinga ku ebyo.”
10 So Amaziah sent home the troops that came to him from Ephraim. They burned with anger against Judah and returned home enraged. Awo Amaziya n’alagira eggye eryali lizze gy’ali okuva mu Efulayimu okuddayo ewaabwe waalyo. Ne banyiigira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga banyiize nnyo.
11 But Amaziah took courage, led out his people to the Valley of Salt, and struck down 10,000 men of Seir. Amaziya ne yeefungiza, n’akulembera abantu be, n’agenda mu kiwonvu eky’omunnyo n’atta abasajja omutwalo gumu ab’e Seyiri.
12 Judah's men also captured 10,000 alive, took them to the cliff top, and threw them down, smashing them all to pieces. Eggye lya Yuda ne liwamba n’abasajja abalala omutwalo gumu nga balamu, ne babatwala waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbangabanga, ne basesebbuka ebifiififi.
13 Meanwhile the troops Amaziah sent back, not letting them join the battle, raided Judah's cities from Samaria to Beth-horon, struck down 3,000 people, and carried off much plunder. Naye eggye liri Amaziya lye yasindika okuddayo, n’ataliganya kugenda naye mu lutalo; lyalumba ebibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne litta abantu enkumi ssatu ku bo, era ne litwala n’omunyago mungi.
14 After Amaziah defeated the Edomites, he brought back the gods of Seir's people, set them up as his own gods, bowed to them, and burned offerings to them. Awo Amaziya bwe yakomawo ng’amaze okutta Abayedomu, n’aleeta bakatonda b’abantu ab’e Seyiri, n’abassaawo nga bakatonda be, n’abasinzanga, era n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa.
15 So our Father's anger burned against Amaziah, and he sent a prophet, who asked, "Why seek this people's gods, which couldn't save their own from your hand?" Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku Amaziya, n’amuweereza nnabbi, eyamutegeeza nti, “Lwaki ogoberera bakatonda b’abantu, abataayinza kulokola bantu baabwe mu mukono gwo?”
16 As he spoke, the king said, "Did we make you the king's counselor? Stop! Why be killed?" The prophet stopped but said, "I know our Father has determined to destroy you, because you did this and ignored my counsel." Naye bwe yali ng’akyayogera, kabaka n’amubuuza nti, “Twali tukulonze okuba omuwi wa magezi owa kabaka? Sirika! Lwaki onoonya okuttibwa?” Awo nnabbi nga tannasirika, n’ayogera kino nti, “Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza, kubanga tossizaayo mwoyo ku kubuulirira kwange.”
17 Amaziah king of Judah consulted his advisers, then sent to Joash son of Jehoahaz, son of Jehu, king of Israel: "Come, let us face each other in battle." Awo Amaziya kabaka wa Yuda ne yeebuuza ku bawi b’amagezi be, n’aweereza obubaka eri Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Jjangu tusisinkane amaaso n’amaaso.”
18 Joash king of Israel answered Amaziah king of Judah: "A Lebanon thistle sent to a Lebanon cedar, saying, 'Give your daughter to my son as wife.' But a wild Lebanon beast passed and trampled the thistle. Naye Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda bw’ati nti, “Omwennyango ogwali mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule ogwali mu Lebanooni, nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo eri mutabani wange, amufumbirwe,’ naye ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni, ng’eyitawo, n’erinnyirira omwennyango.
19 You said, 'Look, I have struck down Edom,' and your heart grew proud, boasting. Stay home. Why court disaster and fall—you and Judah with you?" Weewaana nga bw’owangudde Edomu, era omutima gwo gujjudde okwegulumiza n’okwenyumiriza. Naye sigala ewuwo. Lwaki onoonya emitawaana, ne weeretera okugwa, ggwe ne Yuda?”
20 But Amaziah wouldn't listen—this was from our Father, to hand them over for seeking Edom's gods. Naye Amaziya n’atawuliriza, kubanga okuwangulwa abalabe baabwe kwava eri Katonda, kubanga bava ku Katonda waabwe ne banoonya bakatonda ba Edomu.
21 So Joash king of Israel marched up, and he and Amaziah king of Judah faced off at Beth-shemesh in Judah. Awo Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’alumba, ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne basisinkana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.
22 Judah was defeated by Israel, and everyone fled to his own home. Isirayiri n’awangula Yuda, buli muntu n’addukira ewuwe.
23 Joash king of Israel captured Amaziah king of Judah, son of Joash, son of Jehoahaz, at Beth-shemesh, took him to Jerusalem, and broke down its wall from the Ephraim Gate to the Corner Gate—about 600 feet. Yowaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi, muzzukulu wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n’amuleeta e Yerusaalemi. Yowaasi n’amenyaamenya n’ekitundu ekya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku Mulyango ogw’oku Nsonda, eyali mita kikumi mu kinaana obuwanvu.
24 He took all the gold, silver, and articles found in the house of our Father in Obed-edom's care, plus the palace treasures and hostages, and returned to Samaria. N’atwala ezaabu n’effeeza yonna, n’ebintu ebirala byonna ebyali mu yeekaalu ya Katonda ebyali bikuumibwa Obededomu, wamu n’eby’obugagga eby’omu lubiri, n’abawambe, n’addayo e Samaliya.
25 Amaziah son of Joash, king of Judah, lived fifteen years after Joash son of Jehoahaz, king of Israel, died. Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n’awangaala emyaka emirala kkumi n’ettaano, oluvannyuma olw’okufa kwa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi, kabaka wa Isirayiri.
26 The rest of Amaziah's acts, first to last, are they not written in the Book of the Kings of Judah and Israel? Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Amaziya, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri?
27 After Amaziah turned from following our Father, they conspired against him in Jerusalem, and he fled to Lachish. But they sent men after him there and killed him. Okuva mu kiseera, Amaziya lwe yakyuka okuva ku Mukama, baamusalira olukwe mu Yerusaalemi, n’addukira e Lakisi. Kyokka ne bamusindikira abasajja abaamugoberera okutuuka e Lakisi, era ne bamuttira eyo.
28 They brought him back on horseback and buried him with his ancestors in the City of Judah. Omulambo gwe ne baguleetera ku mbalaasi, n’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]