Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Joash became king at seven, and reigned forty years in Jerusalem. His mother Zibiah was from Beersheba. Yowaasi yalina emyaka musanvu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi n’erinnya lya nnyina ye yali Zebbiya ow’e Beeruseba.
2 Joash did what was right in our Father's eyes all the days of Jehoiada the priest. Yowaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama mu biro byonna ebya Yekoyaada kabona.
3 Jehoiada chose two wives for him, and Joash had sons and daughters. Yekoyaada n’amulondera abakyala babiri, era ne bamuzaalira abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
4 Some time later, Joash set his heart on restoring the house of our Father. Bwe waayitawo ebbanga, Yowaasi n’ayagala okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
5 He gathered the priests and Levites, told them, "Go to Judah's cities, collect money from all Israel yearly to repair your Father's house—hurry." But the Levites didn't hurry. N’ayita bakabona n’Abaleevi, n’abagamba nti, “Mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ensimbi eza buli mwaka okuva mu Isirayiri yenna, olw’okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, era mutandikirewo.” Naye Abaleevi ne batakikolerawo.
6 The king summoned Jehoiada the chief priest: "Why haven't you required the Levites to bring the tax from Judah and Jerusalem that Moses, our Father's servant, and the assembly set on Israel for the tent of testimony?" Awo kabaka n’atumya Yekoyaada kabona asinga obukulu, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugamba Abaleevi, n’ekibiina kya Isirayiri ku lw’eweema ey’Obujulirwa, okuva eri Yuda ne Yerusaalemi okuleetanga omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira?”
7 Athaliah's sons, that wicked woman, broke into our Father's house and even used all the holy things of our Father's house in worship of the Baals. Mu biro eby’emabegako, batabani ba Asaliya, omukazi oli omubi, baali baamenya ne bayingira mu yeekaalu ya Mukama, ne bakozesa ebintu byonna ebyawongebwa mu yeekaalu ya Mukama, emirimu gya Baali.
8 At the king's order, they made a chest and set it outside our Father's house gate. Awo kabaka n’alagira ne bakola essanduuko, ne bagissa ebweru wa wankaaki wa yeekaalu ya Mukama.
9 They announced in Judah and Jerusalem: bring our Father the tax Moses, our Father's servant, set on Israel in the wilderness. Ekiragiro ne kiyita mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi yonna, okuleeteranga Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yalagira Isirayiri nga bali mu ddungu.
10 All the officials and all the people rejoiced, bringing and dropping their gifts into the chest until full. Abakungu bonna n’abantu bonna ne baleetanga omusolo ogwo nga basanyufu, ne baguteekanga mu ssanduuko, okutuusa lwe yajjulanga.
11 Whenever the Levites brought the chest to the king's officials and saw it full of money, the royal secretary and chief priest's officer emptied it and returned it to its place. Daily they collected much money. Buli essanduuko bwe yaleetebwanga Abaleevi eri abakungu ba kabaka ne balaba ng’erimu sente nnyingi, omuwandiisi wa kabaka n’omukungu wa kabona asinga obukulu, baagitwalanga ne baziggyamu, ne bagikomyawo mu kifo kyayo. Kino baakikolanga buli lunaku, era ne bakuŋŋaanya ensimbi nnyingi.
12 The king and Jehoiada gave it to workers on our Father's house, who hired masons and carpenters to restore it, and iron and bronze workers to repair our Father's house. Kabaka ne Yekoyaada ne bazikwasa abo abaavunaanyizibwanga omulimu gwa yeekaalu ya Mukama, bo ne bapangisa abaagula amayinja n’ababazzi okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama, n’abalala baali baweesi ba byuma n’ebikomo era nabo nga baakuddaabiriza yeekaalu ya Mukama.
13 Workers labored; repair progressed by their hands. They restored our Father's house to its form and strengthened it. Abasajja abaavunaanyizibwanga omulimu ogwo baali banyiikivu, era n’omulimu ogwo gwali mu mikono gyabwe, era ne baddaabiriza yeekaalu ya Katonda okutuuka ku mutindo gwayo ogugisaanira, ne baginyweza.
14 When finished, they brought the rest of the money to the king and Jehoiada, making from it articles for our Father's house: vessels for service and burnt offerings, dishes, gold and silver vessels. They offered burnt offerings in our Father's house continually, all Jehoiada's lifetime. Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.
15 Jehoiada grew old and full of years, then died; at his death he was 130 years old. Yekoyaada n’akaddiwa, n’awangaala nnyo, n’afa ng’aweza emyaka kikumi mu asatu egy’obukulu.
16 They buried him in the City of David among the kings, for doing good in Israel toward our Father and his house. N’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi ne bassekabaka, kubanga yakola ebirungi mu Isirayiri, ku lwa Katonda ne ku lwa yeekaalu ye.
17 After Jehoiada died, Judah's officials came and bowed to the king, and he listened to them. Awo Yekoyaada ng’amaze okufa, abakungu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka, n’abawuliriza.
18 They abandoned our Father's house, God of their ancestors, served Asherah poles and idols—so anger came on Judah and Jerusalem for this guilt. Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.
19 Yet our Father sent them prophets to bring them back to himself; they warned them, but they wouldn't listen. Newaakubadde nga Mukama yabatumira bannabbi okubakomyawo gy’ali, ne babalumiriza, tebassaayo mwoyo.
20 Then the Spirit of our Father came on Zechariah son of Jehoiada the priest. He stood before the people and said, "This is what our Father says: Why break his commands? You won't succeed—you abandoned him, so he abandons you." Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Zekkaliya muzzukulu wa Yekoyaada, n’ayimirira mu maaso g’abantu n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Katonda nti, ‘Lwaki mujeemera amateeka ga Mukama? Temujja kufuna mukisa kukulaakulana. Kubanga muvudde ku Mukama naye kyavudde abaleka.’ ”
21 They conspired against him, stoning him in our Father's house courtyard at the king's command. Naye ne basala olukwe okutta Zekkaliya, kabaka n’alagira n’akubibwa amayinja, n’afiira mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama.
22 King Joash forgot the kindness Zechariah's father Jehoiada had shown him and killed his son. As Zechariah was dying he said, "May our Father see and require it." Kabaka Yowaasi n’atajjukira kisa Yekoyaada kitaawe wa Zekkaliya kye yamulaga, n’atta mutabani we. Zekkaliya bwe yali ng’afa n’ayogera nti, “Mukama kino akirabe, era akuvunaane.”
23 At the turn of the year Aram's army attacked Joash, invaded Judah and Jerusalem, killed all the people's officials, sent all their plunder to Damascus's king. Ku nkomerero ey’omwaka, eggye ery’Abasuuli ne lirumba Yowaasi. Ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi ne bazikiriza abakungu bonna, ne baweereza omunyago gwonna eri kabaka waabwe e Ddamasiko.
24 Though Aram's army came with few men, our Father gave a much larger army into their hand, since Judah abandoned our Father, the God of their ancestors. So judgment fell on Joash. Newaakubadde ng’eggye ery’Abasuuli ly’ajja n’abasajja batono, Mukama yawaayo eggye eddene ennyo erya Yuda mu mukono gw’Abasuuli kubanga Yuda baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe. Abasuuli ne babonereza Yowaasi.
25 When the Arameans left, leaving him badly wounded, his servants conspired against him for the blood of Jehoiada the priest's son, killing him on his bed. He died and was buried in the City of David, not in the kings' tombs. Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.
26 Conspirators against him: Zabad son of Shimeath, Ammonite woman, and Jehozabad son of Shimrith, Moabite woman. Abaamusalira olukwe baali Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.
27 His sons, the many prophecies against him, and rebuilding our Father's house are written in the Book of the Kings' commentary; his son Amaziah reigned in his place. Ebyafaayo ebikwata ku batabani be, n’ebyamulagulwako, n’eby’okuddaabiriza kwa yeekaalu ya Katonda, byawandiikibwa mu ngero ez’ekitabo ekya bassekabaka. Amaziya mutabani we n’amusikira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]