Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the seventh year Jehoiada took courage and made a covenant with the commanders of hundreds—Azariah son of Jeroham, Ishmael son of Jehohanan, Azariah son of Obed, Maaseiah son of Adaiah, and Elishaphat son of Zichri. Naye mu mwaka ogw’omusanvu Yekoyaada n’alaga obuyinza bwe. N’akola endagaano n’abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, era baali Azaliya mutabani wa Yekokamu, ne Isimayiri mutabani wa Yekokanani, ne Azaliya mutabani wa Obedi, ne Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
2 They traveled through Judah, gathered the Levites from all its cities and the family heads of Israel, and came to Jerusalem. Ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajja ba Isirayiri okuva mu bibuga byonna ebya Yuda ne bajja e Yerusaalemi.
3 The whole assembly made a covenant with the king in the house of our Father. Jehoiada told them, "Look, the king's son will reign, as our Father promised about David's sons. Ekibiina kyonna ne bakola endagaano ne kabaka mu yeekaalu ya Katonda. Awo Yekoyaada n’abagamba nti, “Mutabani wa kabaka y’alifuga, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
4 Do this: a third of you—priests and Levites entering on the Sabbath—will be gatekeepers at the thresholds. Era bwe muti bwe munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n’Abaleevi abanaaberanga ku luwalo ku ssabbiiti munaakuumanga wankaaki,
5 A third at the king's house, a third at the Gate of the Foundation, and all the people in the courts of the house of our Father. ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga olubiri lwa kabaka, n’ekimu kya kusatu ekirala munaakuumanga Omulyango ogw’Omusingi, n’abantu abalala bonna banaabeeranga mu luggya olwa yeekaalu ya Mukama.
6 Let no one enter the house of our Father except the priests and the serving Levites; they may enter, for they are holy. Everyone else is to keep guard for our Father. Tewabanga n’omu ayingira mu yeekaalu ya Mukama wabula bakabona, n’Abaleevi abanaabeeranga mu luwalo; abo banaayingiranga kubanga batukuvu, naye abantu abalala bonna banaagobereranga ekyo Mukama kye yalagira.
7 The Levites must surround the king, each with weapon in hand; whoever enters the house is to be put to death. Stay with the king wherever he comes and goes." Abaleevi banaayimiriranga okwetooloola kabaka, buli omu ku bo ng’akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe, na buli anaayingiranga mu yeekaalu wa kuttibwa. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy’anaalaganga.”
8 The Levites and all Judah did exactly as Jehoiada the priest commanded. Each took his men—those coming on duty the Sabbath with those going off—since Jehoiada the priest did not dismiss any of the divisions. Abaleevi n’abantu bonna aba Yuda ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yalagira. Buli omu ku bo n’atwala abasajja be, abo abaali mu luwalo ku Ssabbiiti, wamu n’abo abaali bamaliriza olwabwe, kubanga Yekoyaada kabona yali tannabagaba mu mpalo.
9 Jehoiada the priest gave the commanders of hundreds King David's spears and large and small shields, kept in our Father's house. N’awa abaduumizi ab’ekikumi amafumu, n’engabo ennene, n’engabo entono, ebyali ebya Kabaka Dawudi, ebyabeeranga mu yeekaalu ya Katonda.
10 He stationed all the people, each with weapon in hand, from the south side of the temple to the north side, surrounding the altar, the temple, and the king. Era n’ateekateeka buli musajja okuba omukuumi wa kabaka, nga buli omu ku bo akutte ekyokulwanyisa mu mukono gwe, nga beetoolodde kabaka, n’okwetooloola ekyoto ne yeekaalu, okuva mu bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono obwa yeekaalu.
11 They brought out the king's son, crowned him, gave him the covenant law, and made him king. Jehoiada and his sons anointed him and shouted, "Long live the king!" Awo Yekoyaada ne batabani be ne bafulumya mutabani wa kabaka ne bamutikkira engule ey’obwakabaka, ne bakola endagaano, era ne bamulangirira okuba kabaka. Ne bamufukako amafuta, ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Wangaala kabaka!”
12 Hearing the sound of people running and praising the king, Athaliah came to them at our Father's house. Naye Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga badduka era nga batendereza kabaka, n’agenda gye bali mu yeekaalu ya Mukama.
13 She looked—there was the king standing by his pillar at the entrance, officers and trumpeters beside him, all the people of the land rejoicing and blowing trumpets, singers with instruments leading the praise. Then Athaliah tore her clothes and shouted, "Treason! Treason!" N’atunula, laba, kabaka ng’ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n’abakungu n’abafuuwa amakondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n’abantu bonna ab’ensi nga basanyuka nga bafuuwa n’amakondeere, n’abayimbi nga bakutte ebivuga byabwe nga bakulembedde okujaguza. Awo Asaliya n’ayuza ebyambalo bye, n’aleekaanira waggulu nti, “Bujeemu! Bujeemu!”
14 Jehoiada the priest summoned the commanders of hundreds over the army and said, "March her out through the ranks; kill with the sword anyone who follows her." For the priest had said, "Do not kill her in the house of our Father." Yekoyaada kabona n’atuma abaduumizi ab’ebibinja eby’ekikumi, abaavunaanyizibwanga eggye, n’abagamba nti, “Mumufulumye mumuteeke wakati w’enyiriri, mutte n’ekitala omuntu yenna anaamugoberera.” Kabona yali ayogedde nti, “Temumuttira mu yeekaalu ya Mukama.”
15 They seized her; when she reached the Horse Gate's entrance by the king's house, they killed her there. Bwe yali ng’anaatera okutuuka ku mulyango ogw’embalaasi mu luggya olwokubiri, ne bamukwata ne bamuttira eyo.
16 Then Jehoiada made a covenant among himself, all the people, and the king to be our Father's people. Awo Yekoyaada n’akola endagaano wakati we n’abantu bonna era ne kabaka, nti baliba bantu ba Mukama.
17 All the people went to Baal's temple and tore it down, smashed its altars and idols, and killed Mattan, Baal's priest, before the altars. Abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali ne balimenyaamenya, ne bamenyaamenya n’ebyoto bye n’ebifaananyi bye, era ne battira ne Matani kabona wa Baali mu maaso g’ebyoto bya Baali.
18 Jehoiada put the Levite priests in charge of our Father's house, whom David had assigned there, to offer burnt offerings to our Father, as written in Moses' law, with joy and song as David had ordered. Awo Yekoyaada n’assaawo abanaalabiriranga yeekaalu ya Mukama, era n’alonda bakabona n’Abaleevi Dawudi be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bajaguza era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
19 He stationed gatekeepers at the gates of our Father's house so no one unclean in any way could enter. N’ateeka n’abaggazi ku wankaaki za yeekaalu ya Mukama, waleme okubaawo omuntu yenna atali mulongoofu ayingira.
20 He took the commanders of hundreds, the nobles, the rulers of the people, and all the people of the land, and brought the king down from the house of our Father, through the Upper Gate into the king's house, and seated him on the royal throne. N’agenda n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu, n’abafuzi b’abantu, n’abantu bonna ab’eggwanga, ne baggya kabaka mu yeekaalu ya Mukama, ne bayita mu wankaaki ow’ekyengulu ne balaga mu lubiri lwa kabaka. Ne batuuza kabaka ku ntebe ye ey’obwakabaka.
21 All the people of the land rejoiced, and the city grew calm, for Athaliah was killed with the sword. Abantu bonna ab’ensi ne bajaguza, n’ekibuga ne kitereera, kubanga Asaliya yali attiddwa n’ekitala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]