Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 22 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The people of Jerusalem made his youngest son Ahaziah king in his place, since the raiders who came with the Arabs into the camp had killed all the older sons. So Ahaziah son of Jehoram king of Judah became king. Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda.
2 Ahaziah became king at twenty-two and reigned one year in Jerusalem. His mother was Athaliah, granddaughter of Omri. Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.
3 He too followed the ways of Ahab's house, for his mother counseled him to do evil. Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi.
4 He did evil in our Father's eyes, like Ahab's house, for after his father's death they were his counselors, to his ruin. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu.
5 He followed their advice too, joining Joram son of Ahab, Israel's king, to fight Hazael king of Aram at Ramoth-gilead, where the Arameans wounded Joram. Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu
6 So he returned to Jezreel to recover from the wounds he received at Ramah fighting Hazael king of Aram. Ahaziah son of Jehoram king of Judah went down to Jezreel to see Joram son of Ahab, because he was wounded. era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.
7 Ahaziah's downfall came from our Father when he visited Joram. On arriving, he went out with Jehoram against Jehu son of Nimshi, whom our Father had anointed to destroy the house of Ahab. Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
8 As Jehu carried out judgment on Ahab's house, he found Judah's officials and Ahaziah's nephews who served Ahaziah, and killed them. Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta.
9 He searched for Ahaziah, who was captured while hiding in Samaria. They brought him to Jehu and killed him, then buried him, saying, "He is Jehoshaphat's son, who sought our Father with all his heart." So Ahaziah's house had no one strong enough to hold the kingdom. N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.
10 When Athaliah, Ahaziah's mother, saw her son was dead, she set out to destroy all the royal offspring of Judah's house. Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda.
11 But Jehoshabeath the king's daughter took Joash son of Ahaziah, stealing him from among the royal sons about to be killed, and hid him with his nurse in a bedroom. So Jehoshabeath, King Jehoram's daughter, Jehoiada the priest's wife and Ahaziah's sister, hid him from Athaliah, so she did not kill him. Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya.
12 He stayed hidden with them in the house of our Father six years while Athaliah reigned over the land. Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]