Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jehoshaphat rested with his ancestors, buried with them in the City of David; his son Jehoram reigned instead. Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira.
2 Jehoram's brothers, sons of Jehoshaphat: Azariah, Jehiel, Zechariah, Azariah, Michael, Shephatiah. All these were sons of Jehoshaphat king of Israel. Yekolaamu yalina baganda be, batabani ba Yekosafaati, nga be ba Azaliya, ne Yekyeri, ne Zekkaliya, ne Azaliya, ne Mikayiri ne Sefatiya. Abo bonna bali baana ba Yekosafaati kabaka wa Yuda.
3 Their father gave them many gifts—silver, gold, precious things—and fortified cities in Judah, but gave the kingdom to Jehoram, because he was firstborn. Kitaabwe yabawa eby’obugagga bingi, ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu eby’omuwendo ebirala, wamu n’ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, naye obwakabaka n’abuwa Yekolaamu kubanga ye yali omuggulanda.
4 Once Jehoram rose over his father's kingdom, he grew strong and killed all his brothers with the sword, and also some of Israel's officials. Awo Yekolaamu bwe yamala okwenywereza ddala ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’atta baganda be bonna n’ekitala, era n’abakungu abamu aba Isirayiri.
5 Jehoram was thirty-two years old when he became king, and he reigned eight years in Jerusalem. Yekolaamu yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6 He walked in the way of Israel's kings, as Ahab's house had done, for Ahab's daughter was his wife, and he did evil in our Father's eyes. N’atambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakolanga, era n’okuwasa n’awasa muwala wa Akabu. N’akola eby’ebibi mu maaso ga Mukama.
7 Yet our Father would not destroy the house of David, because of the covenant he made with David, and his promise to give him and his sons a lamp forever. Newaakubadde ng’ebyo byonna byali bwe bityo, Mukama teyayagala kusaanyaawo nnyumba ya Dawudi, kubanga yali akoze endagaano ne Dawudi, ate ng’asuubizza okukuuma ettabaaza ye n’eya bazzukulu be ng’eyaka emirembe gyonna.
8 In Jehoram's days Edom rebelled against Judah's rule and set up their own king. Mu biro bya Yekolaamu Edomu n’ajeemera okufuga kwa Yuda ne beeteekerawo kabaka owaabwe.
9 Jehoram crossed with his commanders and all his chariots. He rose at night and struck the Edomites surrounding him and the chariot commanders. Awo Yekolaamu n’agendayo n’abakungu be n’amagaali ge gonna. Abayedomu ne bamutaayiza ye n’abaduumizi ab’amagaali ge mu kiro, naye n’abagolokokerako n’abakuba.
10 Edom rebelled against Judah's rule to this day; Libnah also rebelled then, because he had abandoned our Father, the God of his ancestors. Okuva ku olwo Edomu ne bajeemera Yuda n’okutuusa leero. Mu kiseera ekyo Libuna naye ne n’amujeemera, kubanga Yekolaamu yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
11 He built high places on Judah's hills, led Jerusalem's people to prostitute themselves, and drew Judah astray. Yali azimbye n’ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, era ng’aleetedde n’abatuuze ba Yerusaalemi obutaba beesigwa, nga ne Yuda bawabye.
12 A letter came to him from Elijah the prophet: Your Father, God of your ancestor David, says: Because you haven't walked in the ways of your father Jehoshaphat, or the ways of Asa king of Judah, Yekolaamu n’afuna ebbaluwa okuva eri Eriya nnabbi ng’egamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti, ‘Olw’obutatambulira mu makubo ga kitaawo Yekosafaati, wadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda,
13 but walked like Israel's kings, led Judah and Jerusalem's people to be unfaithful, as Ahab's house led Israel, and killed your brothers—your father's house—men better than you, naye n’otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri, n’oleetera Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi obutaba beesigwa, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, era n’otta ne baganda bo ab’ennyumba ya kitaawo, abaali bakusinga empisa,
14 now your Father will strike your people, children, wives, and all your goods with a great plague. Mukama kyaliva aleeta kawumpuli ow’amaanyi, ku bantu bo, n’abaana bo, n’abakyala bo, ne ku bintu byo byonna,
15 You will have a severe intestinal disease, until day by day your intestines come out. ate naawe olirwala obulwadde obw’amaanyi mu lubuto, erireetera ebyenda byo okuvaayo, buli lunaku.’ ”
16 Our Father stirred up against Jehoram the spirit of the Philistines and Arabs near the Cushites. Awo Mukama n’asitusa obusungu bw’Abafirisuuti n’Abawalabu abaabeeranga okumpi n’Abaesiyopiya eri Yekolaamu,
17 They attacked Judah, invaded it, and seized all the goods found in the king's palace, plus his sons and wives, leaving him no son except Jehoahaz, his youngest. ne balumba Yuda, ne bakiwangula, ne batwala ebintu byonna ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne batabani be, ne bakazi be, ne wataba mutabani we n’omu eyalekebwa okuggyako Yekoyakaazi, omuggalanda.
18 After all this, our Father struck him with an incurable disease in his intestines. Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Mukama n’aleetako Yekolaamu obulwadde obutawonyezeka obw’omu lubuto.
19 In time, after two years, his intestines came out because of his disease, and he died in agony. His people made no fire for him, as they had for his ancestors. Awo ebiro bwe byayitawo, nga wayiseewo emyaka ebiri, ebyenda bye ne bitanula okumuvaamu, olw’obulwadde, n’afa mu bulumi bungi. Abantu be ne batamukumira lumbe, nga bwe baali bakoledde bajjajjaabe.
20 He was thirty-two when crowned king; he reigned eight years in Jerusalem. He died unmourned, buried in the City of David, but not among the kings' tombs. Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]