Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Later, Moabites and Ammonites, with some Meunites, came to make war on Jehoshaphat. Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.
2 Messengers came and reported to Jehoshaphat, "A vast army comes against you from beyond the Dead Sea, from Edom, already at Hazazon-tamar" (En-gedi). Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,”
3 Jehoshaphat was afraid, so he set himself to seek our Father, and proclaimed a fast throughout Judah. Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna.
4 Judah gathered to seek our Father; from every town of Judah they came to seek him. Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.
5 Then Jehoshaphat stood up in the assembly of Judah and Jerusalem, in our Father's house, before the new courtyard. Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya,
6 He said: "O our Father, God of our ancestors, are you not our Father in heaven? You rule all kingdoms of nations. Power and might are in your hand; none can stand against you. n’ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go.
7 Our Father, didn't you drive out this land's people before your people Israel, giving it forever to Abraham your friend's descendants? Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna?
8 They have lived in it and have built you a sanctuary in it for your name, saying, Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti,
9 if disaster comes on us—sword of judgment, plague, or famine—we'll stand before this house and before you, for your name is in this house, and cry out to you in our distress, and you'll hear and save. ‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’
10 Now: Ammon, Moab, and Mount Seir—you would not let Israel invade them when they came from Egypt; Israel turned away from them and did not destroy them. “Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza,
11 See how they repay us, coming to drive us from the possession you gave us to inherit. laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe.
12 Our Father, won't you judge them? We're powerless against this vast army coming against us; we don't know what to do, but our eyes are on you." Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”
13 All Judah stood there before our Father, with their little ones, their wives, and their children. Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
14 Then our Father's Spirit came on Jahaziel son of Zechariah, son of Benaiah, son of Jeiel, son of Mattaniah, a Levite of Asaph's line, amid the assembly. Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.
15 He said: "Listen, all Judah, Jerusalem's residents, and King Jehoshaphat. This is what our Father says to you: Do not fear or be terrified by this vast army—the battle isn't yours but our Father's. N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.
16 Tomorrow go down against them: they're climbing the Ziz ascent; you'll find them at the valley's end, facing the Jeruel wilderness. Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri.
17 You won't need to fight this battle. Take your places, stand firm, and watch our Father rescue you, Judah and Jerusalem. Don't fear or lose heart. March out against them tomorrow, for our Father is with you.'" Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”
18 Jehoshaphat bowed face-down, and all Judah and Jerusalem's people fell in worship before our Father. Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza.
19 Then the Levites from the Kohathites and Korahites stood to praise our Father, Israel's God, with a loud voice raised high. Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka.
20 At dawn they went out to Tekoa's wilderness. As they went out, Jehoshaphat stood and said, "Hear me, Judah and people of Jerusalem. Trust your Father and you'll stand firm; trust his prophets and you'll succeed." Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.”
21 After consulting the people, Jehoshaphat appointed singers to our Father to praise his holy splendor, marching ahead of the army: "Give thanks to our Father, for his faithful love endures forever." Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti, “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
22 As they began to sing and praise, our Father set ambushes against the Ammonites, Moabites, and the people of Mount Seir who were attacking Judah, and they were struck down. Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa.
23 Ammon and Moab turned against Mount Seir's people to destroy and annihilate them; once Seir's people were finished, Ammon and Moab turned and slaughtered each other. Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.
24 When Judah reached the wilderness lookout and looked toward the vast army, they saw only corpses fallen on the ground—no one had escaped. Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo.
25 Jehoshaphat and his people came to plunder the dead, finding abundant goods, clothing, and valuables—too much to carry, so gathering it took three days. Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo.
26 On day four, they gathered at the Valley of Beracah and praised our Father there—so it's named Valley of Beracah to this day. Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.
27 All the men of Judah and Jerusalem, Jehoshaphat leading, returned there with joy, for our Father gave them joy over their enemies. Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe.
28 They entered Jerusalem with harps, lyres, and trumpets, and went to the house of our Father. Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere.
29 Fear of our Father fell on all the surrounding kingdoms when they heard our Father fought Israel's enemies. Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri.
30 So Jehoshaphat's kingdom was at peace, for his Father gave him rest on every side. Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.
31 Jehoshaphat reigned over Judah, crowned at thirty-five, twenty-five years in Jerusalem; his mother, Azubah daughter of Shilhi. Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki.
32 He walked in his father Asa's ways, never turning aside, doing right in our Father's eyes. N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama.
33 Yet the high places stayed; the people still had not set their hearts on their ancestors' God. Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
34 Jehoshaphat's other acts, first to last, are in Jehu son of Hanani's records, found in the Book of Kings of Israel. Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.
35 Later Jehoshaphat king of Judah allied with Ahaziah king of Israel, who did evil. Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi.
36 He joined with him to build a fleet of trading ships to go to Tarshish, built at Ezion-geber. N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba.
37 Eliezer son of Dodavahu of Mareshah prophesied against Jehoshaphat: "For allying with Ahaziah, our Father broke your work apart." The ships wrecked and couldn't sail to Tarshish. Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]