Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jehoshaphat king of Judah returned safely to his house in Jerusalem. Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi.
2 Jehu son of Hanani the seer met King Jehoshaphat and asked, "Should you help the wicked and love those who hate our Father? For this, wrath from our Father is on you. Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako.
3 Still, good is found in you: you cleared the Asherah poles from the land and set your heart to seek our Father." Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
4 Jehoshaphat lived in Jerusalem, then went out again among the people, from Beersheba to Ephraim's hill country, turning them back to our Father, God of their ancestors. Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
5 He appointed judges in the land, in all the fortified cities of Judah, city by city. N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe.
6 He told the judges, "See what you do—you judge not for people but for our Father, and he is with you in every case you decide. N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.
7 Now let fear of our Father be on you. Watch and act, for with our Father there is no injustice, no favoritism, no bribery." Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”
8 Also in Jerusalem, Jehoshaphat appointed some Levites, priests, and heads of Israel's ancestral families to render the judgment of our Father and to settle disputes; they returned to Jerusalem. Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu.
9 He commanded them: "Act this way, in fear of our Father, faithfully and wholeheartedly. N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu.
10 Whenever your brothers in their cities bring you a dispute—over bloodshed, or over law and commandment, statutes and rulings—warn them, so they don't incur guilt before our Father, bringing wrath on you and your brothers. Do this, and you will not incur guilt. Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.
11 Now, Amariah the chief priest oversees you in every matter of our Father; Zebadiah son of Ishmael, leader of Judah's tribe, in every matter of the king. The Levites serve as officials before you. Be strong and act—may our Father be with those who do good." “Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]