Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now Jehoshaphat had great riches and honor, and he allied himself with Ahab by marriage. Yekosafaati yali mugagga nnyo era nga wa kitiibwa kinene nnyo, ate nga mukoddomi wa Akabu.
2 Some years later he went down to Ahab in Samaria, where Ahab slaughtered many sheep and oxen for him and for the people who were with him, urging him to attack Ramoth-gilead. Bwe waayitawo emyaka, n’aserengeta okugenda okulaba ku Akabu e Samaliya. Akabu n’amuteekerateekera ekijjulo eky’amaanyi n’amuttira endiga nnyingi n’ente nnyingi, ye n’abantu be yagenda nabo, era n’amusendasenda okulumba Lamosugireyaadi.
3 Ahab king of Israel asked Jehoshaphat king of Judah, "Will you go with me to Ramoth-gilead?" He answered, "I am as you are, my people as yours; we join you in the war." Akabu kabaka wa Isirayiri n’abuuza Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Onoogenda nange okulumba Lamosugireyaadi?” Yekosafaati n’addamu nti, “Ky’oli kye ndi, era n’abantu bo be bantu bange, tujja kukwegattako mu lutalo.”
4 But Jehoshaphat said to the king of Israel, "First seek the word of our Father." Naye Yekosafaati n’alabula kabaka wa Isirayiri nti, “Sooka weebuuze ku Mukama.”
5 So the king of Israel gathered the prophets, 400 men, and asked them, "Will we go to Ramoth-gilead for battle, or hold back?" They said, "Go up, for God will hand it over to the king." Awo kabaka wa Isirayiri n’akuŋŋaanya bannabbi bonna awamu; baali abasajja ebikumi bina, n’ababuuza nti, “Tugende tulumbe Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo?” Ne bamuddamu nti, “Tugende, kubanga Mukama anaakigabula mu mukono gwa kabaka.”
6 But Jehoshaphat said, "Is there not still a prophet of our Father here whom we can consult?" Naye Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewaliwo wano nnabbi wa Mukama gwe tuyinza okwebuuzaako?”
7 Israel's king told Jehoshaphat, "One man remains through whom we can ask our Father, but I hate him—he never prophesies good about me, only bad. He is Micaiah son of Imlah." Jehoshaphat replied, "The king shouldn't say that." Awo kabaka wa Isirayiri n’addamu Yekosafaati nti, “Waliyo omusajja omulala gwe tuyinza okwebuuzaako ku Mukama, ye Mikaaya mutabani wa Imula, naye namukyawa kubanga tandagulako birungi, wabula ebibi ebyereere.” Yekosafaati n’ayogera nti, “Kabaka teyandiyogedde bw’atyo.”
8 Then the king of Israel summoned an officer and said, "Bring Micaiah son of Imlah quickly." Kabaka wa Isirayiri n’alyoka alagira omu ku bakungu be nti, “Kima Mikaaya mutabani wa Imula ku bwangu.”
9 The king of Israel and Jehoshaphat king of Judah sat each on his throne, dressed in robes, on the threshing floor at the entrance of Samaria's gate, with all the prophets prophesying before them. Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu gguuliro ku mulyango gwa wankaaki w’e Samaliya, nga bambadde ebyambalo byabwe, nga ne bannabbi bonna balagulira mu maaso gaabwe.
10 Zedekiah son of Chenaanah made iron horns and said, "God says: 'With these you will gore the Arameans until they are destroyed.'" Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeeweesereza amayembe ag’ekyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abasuuli balitomerwa na gano okutuusa lwe balimalibwawo.’ ”
11 All the prophets prophesied the same, saying: "Go up to Ramoth-gilead and win; our Father will hand it to the king." Era ne bannabbi abalala bonna baalagulanga kye kimu nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi onoowangula kubanga Mukama anaakiwaayo mu mukono gwa kabaka.”
12 The messenger sent to summon Micaiah told him, "The prophets' words all favor the king. Let yours match theirs—speak favorably." Awo omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya, n’amugamba nti, “Laba, ebigambo ebya bannabbi bali abalala byogera kyekimu, kale naawe ba bumu nabo.”
13 But Micaiah said, "As surely as our Father lives, I will say only what my Father says." Naye Mikaaya n’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu Katonda ky’anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.”
14 When he came, the king said, "Micaiah, will we go to battle at Ramoth-gilead, or will I hold back?" He said, "Go up and win; they'll be handed to you." Awo bwe yatuuka ewa kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, oba tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Mugende mukirumbe, munaakiwangula, kubanga banaaweebwayo mu mukono gwo.”
15 But the king said to him, "How many times must I make you swear to tell me only the truth in the name of our Father?" Naye kabaka n’amugamba nti, “Nnaakulayizanga emirundi emeka, obutannimbanga wabula okuntegeezanga amazima mu linnya lya Mukama?”
16 Micaiah said, "I saw all Israel scattered on the mountains, like sheep without a shepherd. And our Father said, 'They have no master; let each return home in peace.'" Awo Mikaaya n’addamu nti, “Nalaba Isirayiri yenna, nga basaasaanye ku nsozi ng’endiga ezitalina musumba, Mukama n’ayogera nti, ‘Abantu bano tebalina abakulembera, buli omu addeyo ewaabwe mirembe.’ ”
17 Israel's king said to Jehoshaphat, "Didn't I tell you he'd prophesy nothing good about me, only evil?" Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Sakugambye nti talina kirungi ky’andagulako, okuggyako ebibi?”
18 Micaiah said, "Then hear the word of our Father: I saw our Father seated on his throne, all heaven's armies standing at his right and left. Mikaaya n’ayongerako na bino nti, “Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka n’eggye lyonna ery’omu ggulu nga liyimiridde okumwetooloola ku mukono gwe ogwa kkono.
19 And our Father said, 'Who will entice Ahab king of Israel to go up and fall at Ramoth-gilead?' One said this, another that. Awo Mukama n’abuuza nti, ‘Ani anasendasenda Akabu kabaka wa Isirayiri okulumba Lamosugireyaadi n’oluvannyuma afiire eyo?’ “Omu ku bo n’ateesa kino, n’omulala kiri.
20 A spirit came forward, stood before our Father, and said, 'I will entice him.' And our Father asked him, 'How?' Ku nkomerero, omwoyo ogumu ne gusembera, ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nzija kumusendasenda.’ “Mukama n’agubuuza nti, ‘Ekyo onookikola otya?’
21 He said, 'I will go out and be a lying spirit in the mouth of all his prophets.' Then our Father said, 'You will lure him and also prevail. Go out and do so.' “Ne guddamu nti, ‘Nzija kugenda, mbeere omwoyo omulimba mu kamwa ka buli nnabbi we.’ “Mukama n’agugamba nti, ‘Ggwe onoosobola okumusendasenda, era genda okole bw’otyo.’
22 So now, our Father has put a lying spirit in the mouth of these prophets of yours, and our Father has declared disaster against you." “Kale nno Mukama atadde omwoyo ogw’obulimba mu kamwa ka bannabbi bo, era Mukama akwogeddeko kabi keereere.”
23 Then Zedekiah son of Chenaanah came up, struck Micaiah on the cheek, and said, "Which way did the Spirit of God go from me to speak to you?" Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n’asembera okumpi ne Mikaaya we yali n’amukuba oluyi mu maaso, n’amubuuza nti, “Omwoyo wa Mukama yampiseeko wa okwogera naawe?”
24 Micaiah said, "You'll see it that day when you go into an inner room to hide." Mikaaya n’amuddamu nti, “Laba, ekyo olikimanya ku lunaku lw’oligenda okwekweka mu kisenge eky’omunda.”
25 The king of Israel said, "Take Micaiah back to Amon the city governor and to Joash the king's son, Awo kabaka wa Isirayiri n’alagira nti, “Mukwate Mikaaya mumuzzeeyo ewa Amoni ew’omukulu w’ekibuga n’ewa Yowaasi omulangira,
26 and say, 'The king says: Put this man in prison on meager rations of bread and water until I return safely.'" mwogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, Omuntu ono mumuteeke mu kkomera, temumuwa kintu kyonna wabula omugaati omutono n’amazzi amatono, okutuusa lwe ndikomawo mirembe.’ ”
27 Micaiah said, "If you ever return safely, our Father has not spoken through me." Then he said, "Listen, all you people!" Awo Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo mirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze,” ate n’ayongerako na kino nti, “Mmwe mwenna, mwekuume ebigambo byange.”
28 So the king of Israel and Jehoshaphat king of Judah went up to Ramoth-gilead. Awo kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
29 The king of Israel said to Jehoshaphat, "I will disguise myself and go into battle, but you wear your robes." So the king of Israel disguised himself, and they went into battle. Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nze nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde ng’omuntu omulala, naye ggwe yambala ebyambalo byo.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula ng’omuntu omulala, ne bagenda mu lutalo.
30 The king of Aram had ordered his chariot captains, "Fight no one, small or great, but only the king of Israel." Naye kabaka w’e Busuuli yali alagidde abaduumizi ab’amagaali ge nti, “Temulwanagananga na muntu yenna, oba wa kitiibwa oba si wa kitiibwa, okuggyako kabaka wa Isirayiri.”
31 When the chariot captains saw Jehoshaphat, they said, "That is Israel's king," and turned to fight him. But Jehoshaphat cried out, and our Father helped him, drawing them away from him. Awo abaduumizi ab’amagaali bwe balaba Yekosafaati, ne boogera nti, “Oyo ye kabaka wa Isirayiri.” Ne bakyuka ne bamulumba, naye Yekosafaati n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka, Mukama n’amubeera, era Katonda n’abaziyiza, n’okubaggyawo n’abaggyawo.
32 When the chariot captains saw he was not Israel's king, they stopped chasing him. Abaduumizi ab’amagaali bwe baakizuula nti si ye kabaka wa Isirayiri, ne balekeraawo okumugoba.
33 A man drew his bow at random and struck the king of Israel between the joints of his armor. He told his chariot driver, "Turn around and get me out of the fighting; I'm wounded." Naye omu ku basajja n’amala ganaanuula omutego gwe, n’alasa kabaka wa Isirayiri mu kifo ekimu ebyambalo bye eby’olutalo we byegattira. Kabaka n’agamba omugoba w’eggaali lye nti, “Kyusa onzigye mu lutalo kubanga nfumitiddwa.”
34 The battle raged that day. Israel's king was held up in his chariot facing the Arameans until evening, then died at sunset. Olutalo ne lukanya olunaku lwonna, kyokka kabaka wa Isirayiri ne yeewaliriza okusigala mu gaali lye ng’atunuulidde Abasuuli okutuusa akawungeezi, era enjuba bwe yali ng’egwa n’afa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]