Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 His son Jehoshaphat became king in his place and strengthened himself against Israel. Yekosafaati mutabani wa Asa n’asikira Asa bw’atyo n’afuuka kabaka, n’okwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri.
2 He stationed troops in all Judah's fortified cities and garrisons in the land of Judah and in the cities of Ephraim that his father Asa had captured. N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye.
3 Our Father was with Jehoshaphat, for he walked his father David's earlier ways, not seeking the Baals. Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali,
4 Instead, he sought the Father his father served, obeyed his commandments, and not the practices of Israel. naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri.
5 So our Father secured the kingdom in his hand; all Judah brought gifts to Jehoshaphat, and he had great wealth and honor. Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene.
6 His heart was devoted to our Father's ways; he removed the high places and Asherah poles from Judah. Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.
7 In his reign's third year he sent his officials Ben-hail, Obadiah, Zechariah, Nethanel, and Micaiah to teach in Judah's cities, Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda.
8 and the Levites with them: Shemaiah, Nethaniah, Zebadiah, Asahel, Shemiramoth, Jehonathan, Adonijah, Tobijah, Tob-adonijah; and with them the priests Elishama, Jehoram. Ne wabaawo n’Abaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu.
9 They taught throughout Judah, carrying the Book of our Father's Instruction, going to all Judah's cities, teaching the people. Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu.
10 The dread of our Father fell on all the kingdoms around Judah, so they made no war on Jehoshaphat. Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati.
11 Some Philistines brought Jehoshaphat gifts and silver tribute; the Arabs brought flocks: 7,700 rams, 7,700 male goats. Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu.
12 Jehoshaphat grew more and more powerful, and he built fortresses and storage cities in Judah. Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, n’azimba ebigo n’ebibuga eby’amaterekero mu Yuda,
13 He had large supplies in the cities of Judah, and mighty warriors in Jerusalem. n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira.
14 Their enrollment by ancestral house: from Judah, commanders of thousands—Adnah the commander, with him 300,000 mighty warriors; Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000),
15 next to him was Jehohanan the commander, and with him 280,000; n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000);
16 next Amasiah son of Zichri, who volunteered for our Father, with him 200,000 mighty warriors. n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000).
17 From Benjamin: Eliada, a mighty warrior, and with him 200,000 armed with bow and shield; Okuva mu Benyamini: Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000),
18 next to him Jehozabad, and with him 180,000 equipped for war. n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000).
19 These men served the king, besides those he stationed in the fortified cities throughout Judah. Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]