Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Timothy 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Here is a trustworthy saying: whoever aspires to be an overseer desires a noble work. Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi.
2 So an overseer must be blameless: faithful to his wife, level-headed, disciplined, orderly, hospitable, able to teach. Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza.
3 Not a drunkard, not violent but gentle, not quarrelsome, and not a lover of money. Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi.
4 He must manage his own household well, keeping his children submissive with all dignity, Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa.
5 for if someone doesn't know how to manage his own household, how will he care for our Father's church? Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?
6 He must not be a new convert, or he may be puffed up and fall under the same condemnation as the devil. Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa.
7 He must also have a good reputation with outsiders, so he doesn't fall into disgrace and the devil's trap. Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
8 Deacons too must be dignified, not two-faced, not given to much wine, not greedy for shameful gain. Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu,
9 They must hold to the mystery of the faith with a clear conscience. nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu.
10 They too must first be tested; then, if they prove blameless, let them serve as deacons. Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
11 The women likewise must be worthy of respect, not slanderers, but clear-minded and faithful in everything. N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.
12 A deacon must be faithful to his wife and must manage his children and his household well. Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge.
13 Deacons who serve well earn themselves a good standing and great confidence in faith in Christ Jesus. Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.
14 I am writing these instructions to you, though I hope to come to you soon. Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu;
15 But if I'm delayed, you will know how one ought to behave in our Father's household, the church of the living Father, pillar and foundation of the truth. kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima.
16 Undeniably, the mystery of devotion to God is great: he appeared in flesh, was proved right by the Holy Spirit, seen by angels, proclaimed among nations, believed in throughout the world, taken up in glory. Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti: “Yalabisibwa mu mubiri, n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde, n’alabibwa bamalayika, n’alangibwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]