Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Timothy 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Holy Spirit clearly says: in later times some will abandon the faith, giving attention to deceiving spirits and teachings of demons, Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni,
2 through the hypocrisy of liars whose own consciences have been seared as with a branding iron. nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde.
3 They forbid marriage and demand abstaining from foods our Father made to be received with thanks by believers who know the truth. Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
4 For everything our Father made is good; nothing is to be rejected when received with thanks, Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza,
5 for it is made holy by the word of our Father and by prayer. kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.
6 Point these things out to the brothers and sisters, and you'll be a good servant of Christ Jesus, nourished on the words of the faith and the good teaching you've followed. Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera.
7 Have nothing to do with irreverent, silly myths. Instead, train yourself to be godly. Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda.
8 Physical training helps a little, but devotion to God helps in every way—promising life now and the life to come. Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja.
9 This is a trustworthy saying that deserves full acceptance. Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala.
10 For this we labor and strive, because we have hoped in the living Father, Savior of all people, especially believers. Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
11 Command and teach these things. Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga.
12 Let no one despise you for your youth, but be an example to believers in speech, conduct, love, faith, and purity. Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
13 Until I come, devote yourself to the public reading of Scripture, to preaching, and to teaching. Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja.
14 Don't neglect the gift in you, given through prophecy, with the elders' hands laid on you. Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.
15 Practice these things and give yourself fully to them, so that everyone may see your progress. Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi.
16 Watch yourself and your teaching closely. Continue in this, for doing so will save both you and your hearers. Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]