Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Timothy 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 First of all, then, I urge that petitions, prayers, intercessions, and thanksgivings be offered for all people, Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna.
2 for kings and all in authority, so we may live peaceful, quiet lives in full godliness and dignity. Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
3 This is good and pleasing to our Father, our Savior, Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,
4 who wants all people to be saved and to come to know the truth. ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.
5 For there is one Father, and one mediator between the Father and humanity, the man Christ Jesus, Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,
6 who gave himself as a ransom for all—the testimony given at the proper time. eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.
7 For this I was made a preacher and apostle—I'm telling the truth, not lying—a teacher of the nations in faith and truth. Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
8 I want the men in every place to pray, lifting up holy hands without anger or argument. Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
9 Likewise, women should dress properly, with modesty and self-control, not in braided hair, gold, pearls, or costly clothing, Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo.
10 but with good works, as is right for women who profess reverence for our Father. Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11 A woman should learn quietly, in full submission. Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese.
12 I don't allow a woman to teach or have authority over a man; instead, she should stay quiet. Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga.
13 For Adam was formed first, then Eve. Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa.
14 And Adam was not deceived, but the woman was deceived and became a transgressor. Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi.
15 But she will be saved through childbearing, if they remain in faith, love, holiness, with self-control. Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]