Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Timothy 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul, an apostle of Christ Jesus by command of our Father, our Savior, and of Christ Jesus our hope, Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira,
2 to Timothy, my true child in the faith: grace, mercy, peace from our Father and Christ Jesus our Lord. nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
3 As I urged you when leaving for Macedonia, stay in Ephesus to instruct some people not to teach different doctrine, Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala.
4 nor devote themselves to myths and endless genealogies, which breed speculations instead of our Father's stewardship through faith. Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza.
5 The goal of this command is love from a pure heart, good conscience, and sincere faith. Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa.
6 Some have wandered away from these and turned aside to meaningless talk, Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso.
7 wanting to be teachers of the law, without understanding either what they say or what they insist on so confidently. Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa.
8 Now we know that the law is good, as long as it is used lawfully, Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu.
9 knowing this: the law isn't laid down for the righteous but for the lawless and rebellious, the wicked and sinful, the unholy and irreverent, for those who strike their fathers and mothers, for murderers, Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala,
10 sexual sinners, men who sleep with men, slave traders, liars, perjurers, and whatever else opposes sound teaching, n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,
11 in keeping with the glorious gospel of our blessed Father, with which I have been entrusted. ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.
12 I thank Christ Jesus our Lord, who strengthened me, since he considered me faithful, appointing me to his service. Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe.
13 I once insulted God, persecuted others, and was violent—yet I was shown mercy, since I acted ignorantly, lacking faith. Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza.
14 Our Lord's grace overflowed for me, with faith and love in Christ Jesus. Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.
15 A trustworthy saying worthy of full acceptance: Christ Jesus came into the world to save sinners—I am the worst of them. Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.
16 But I was shown mercy for this: in me, the worst of sinners, Christ Jesus could display his complete patience, as a pattern for those who would believe in him for eternal life. Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.
17 To the King of the ages, immortal, invisible, the only God, be honor and glory forever and ever. Amen. Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.
18 Timothy, my child, I entrust you with this charge, matching the prophecies once spoken over you, so that by them you may fight the good fight, Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira,
19 holding on to faith and a good conscience. By rejecting these, some have shipwrecked their faith, ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe.
20 including Hymenaeus and Alexander, whom I handed to Satan to be taught not to insult God. Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]