Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, David defeated the Philistines, subduing them, and took Gath and its villages from the Philistines' hand. Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.
2 He also defeated Moab, and the Moabites became subject to David and brought him tribute. Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu.
3 David defeated Hadadezer king of Zobah, up to Hamath, going to extend his power to the Euphrates River. Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati.
4 David captured from him 1,000 chariots, 7,000 horsemen, and 20,000 foot soldiers. He hamstrung all the chariot horses, keeping enough for one hundred chariots. Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.
5 When Aram of Damascus came to help Hadadezer king of Zobah, David struck down 22,000 Arameans. Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
6 David placed garrisons in Aram-Damascus; the Arameans became his servants, paying tribute. And our Father gave David victory wherever he went. N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.
7 David took the gold shields carried by Hadadezer's officers and brought them to Jerusalem. Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi.
8 From Tibhath and Cun, Hadadezer's cities, David took huge amounts of bronze; with it Solomon made the bronze Sea, the pillars, and bronze vessels. Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala.
9 When Tou king of Hamath heard David had defeated Hadadezer king of Zobah's whole army, Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba
10 he sent his son Hadoram to King David to greet and bless him for fighting and defeating Hadadezer, who had often warred with Tou. Hadoram brought gold, silver, and bronze articles of every kind. n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.
11 King David dedicated these to our Father, with the silver and gold he had taken from all the nations: Edom, Moab, the Ammonites, the Philistines, and Amalek. Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki.
12 Abishai son of Zeruiah struck down 18,000 Edomites in the Valley of Salt. Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
13 David placed garrisons in Edom; all Edomites became his subjects, and our Father gave him victory wherever he went. Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.
14 So David reigned over all Israel, administering justice and righteousness for all his people. Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.
15 Joab son of Zeruiah commanded the army; Jehoshaphat son of Ahilud was recorder; Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye; Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;
16 Zadok son of Ahitub and Ahimelech son of Abiathar were priests; Shavsha was secretary; Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali muwandiisi;
17 Benaiah son of Jehoiada led the Cherethites and Pelethites; David's sons served as top officials beside the king. Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi; ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]