Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Chronicles 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After David settled in his house, he told Nathan the prophet, "Look, I live in a cedar house, but the ark of our Father's covenant sits under tent curtains." Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”
2 Nathan replied to David, "Do all that is in your heart, for our Father is with you." Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.”
3 But that night the word of our Father came to Nathan: Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,
4 Go tell David my servant: "This is what your Father says: You are not the one to build me a house to live in." “Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga.
5 I haven't lived in a house from the day I brought Israel up to now—I've moved tent to tent, dwelling to dwelling. Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala.
6 Wherever I moved with all Israel, did I ever speak a word to any of Israel's judges, whom I commanded to shepherd my people, asking, 'Why haven't you built me a cedar house?' Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’
7 So tell my servant David: "This is what the Father of heaven's armies says: I took you from the pasture, from following the flock, to be ruler over my people Israel. “Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri.
8 I've been with you everywhere you went, and cut off all your enemies before you. Now I'll make your name like the name of earth's greatest ones. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi.
9 I will appoint a place for my people Israel and plant them there, to live in their own home, never disturbed again. Wicked people will no longer wear them down as before, Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye,
10 since I appointed judges over my people Israel, I will subdue all your enemies. I tell you: your Father will build you a house. era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna. “ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba:
11 When your days end and you go to be with your ancestors, I will raise your offspring after you, one of your sons, and I will establish his kingdom. Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe.
12 He is the one who will build me a house, and I will establish his throne forever. Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna.
13 I will be his Father; he will be my son. I won't remove my covenant love from him as I removed it from the one before you. Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka.
14 I will set him over my house and my kingdom forever; his throne will stand firm forever." Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ”
15 Nathan reported to David all these words and this entire vision. Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.
16 Then King David went in, sat before our Father, and said, "Who am I, my Father, and what is my house, that you have brought me this far? Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti, “Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano?
17 And as if this were a small thing in your eyes, my Father—you have spoken of your servant's house reaching into the distant future, and you have looked on me as the greatest of men, my Father. Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.
18 What more can David say to you for honoring your servant? For you know your servant. “Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
19 My Father, for your servant's sake and by your own heart, you have done all these great things, revealing all these great promises. Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.
20 My Father, none is like you, no Father besides you, as all we've heard with our ears. “Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe.
21 Who is like your people Israel, the one nation on earth our Father went to redeem as a people for himself, making yourself a name by great and awesome deeds, driving out nations before your people, whom you redeemed from Egypt? Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri?
22 You made your people Israel your very own forever, and you, my Father, became their Father. Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.
23 Now, my Father, let the word you spoke about your servant and his house stand forever; do as you have spoken. “Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna.
24 Let it stand, and your name grow great forever, so it's said, 'The Father of heaven's armies is our Father over Israel.' Let your servant David's house be established before you. Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
25 For you, my Father, revealed to your servant that you will build him a house—so your servant found courage to pray before you. “Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza.
26 Now, my Father, you are our Father; you promised your servant this good thing. Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo.
27 Now you have chosen to bless your servant's house, so it may continue before you forever; for you, my Father, have blessed it, and it is blessed forever." Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]